Jump to content

Minisitule y’ebyobulambuzi, ebisolo by’omu nsiko n’eby’edda (Uganda)

Bisangiddwa ku Wikipedia

 

Minisitule ya Uganda ey’ebyobulambuzi, ebisolo by’omu nsiko n’eby’edda ye minisitule ku mutendera gwa kabineti evunaanyizibwa ku kutumbula eby’obulambuzi, okukuuma n’okulabirira ebisolo by’omu nsiko, n’okukuuma, okulongoosa n’okukuuma ebifo n’ebijjukizo eby’ebyafaayo eby’obutonde n’ebijukizo eby’eggwanga. [1]

Ekifo wesangibwa

[kyusa | edit source]

Ekitebe kya minisitule eno kiri ku mwaliiro ogwokubiri, Rwenzori Towers ku 6 Nakasero Road, mu masekatti ka Kampala, ekibuga ekikulu era ekisinga obunene mu Uganda. [1] Endagiriro z'ekitebe kino ziri 0°19'02.0"mumambuka, 32°34'47.0"mu buvanjuba (obukiika ddyo:0.317223; obukiika kkono:32.579723). [2]

Enzirukanya y’emirimu

[kyusa | edit source]

Mu by’okuddukanya emirimu, minisitule eno egabanyizibwamu ebitongole bino wammanga:

  • Ekitongole ky’enkulaakulana y’ebyobulambuzi - ekivunaanyizibwa ku kukwasaganya obuvunaanyizibwa bw’obulambuzi bwa minisitule. Mu bino mulimu okukung’aanya, okutereka, okwekenneenya, n’okubunyisa by’obulambuzi. Ekitongole kino kikwatagana n’ekitongole ky’ebyobulambuzi ekya Uganda Tourism Board n’ekitongole ekitendeka abatendesi ba wooteeri n’obulambuzi mu kukola emirimu gyabwe. [3]
  • Ekitongole ky'okukuuma ebisolo by'omu nsiko - ekivunaanyizibwa ku "kukola, okulondoola n'okwekenneenya okussa mu nkola enkola, enteekateeka z'eggwanga, amateeka, ebiragiro, n'obukodyo ku kukuuma n'okutumbula eby'obugagga by'ebisolo by'omu nsiko, n'okuwa gavumenti amagezi agasaanidde era mu budde". [4]
  • Ekitongole ky'ebifo ebiterekerwamu ebyedda n'ebijukizo - ekyaweebwa omulimu gw’okutumbula, okukuuma n’okwanjulira eby’obutonde n’ebyobuwangwa bya Uganda nga bakung’aanya, okukuuma, okusoma n’okubunyisa amawulire. [5]

Obukulembeze

[kyusa | edit source]

Omukulembeze w’ebyobufuzi mu minisitule eno ye Minisita Omukulu Tom R. Butime . [6] Minisita w’eggwanga ow’ebyobulambuzi ye Omukulu Martin Mugarra Bahinduka okuva nga 24 Ogwomukaaga 2021. [7]

Olukalala lwa baminisita

[kyusa | edit source]

Minisita w’ebyobulambuzi, ebisolo by’omu nsiko n’eby’edda

[kyusa | edit source]
  • Tom Butime (6 Ogwomukaaga 2016 - paka leero)
  • Maria Mutagamba (15 Omwezi gwomunaana 2012 - 6 Ogwomukaaga 2016)
  • Ephraim Kamuntu (27 Ogwokuttano 2011 - 15 Ogwomunnana 2012)
  • Serapio Rukundo (1 Ogwomukaaga 2006 - 27 Owokutaano 2011)

Minisita w’ebyobusuubuzi, amakolero, eby’obulambuzi n’ebisolo by’omu nsiko

[kyusa | edit source]
  • Daudi Migereko (12 Ogwoluberyeberye 2005 - 1 Ogwomukaaga 2006)

Obukulembeze

[kyusa | edit source]

Ebijuliziddwa

[kyusa | edit source]
  1. 1.0 1.1 https://web.archive.org/web/20161102071255/http://tourism.go.ug/
  2. https://www.google.com/maps/place/0%C2%B019'02.0%22N+32%C2%B034'47.0%22E/@0.3178058,32.5761762,742m/data=!3m1!1e3!4m5!3m4!1s0x0:0x0!8m2!3d0.317223!4d32.579723
  3. http://tourism.go.ug/index.php?option=com_content&view=article&id=31&Itemid=266
  4. http://tourism.go.ug/index.php?option=com_content&view=article&id=30&Itemid=267
  5. http://tourism.go.ug/index.php?option=com_content&view=article&id=32&Itemid=268
  6. https://wolfganghthome.wordpress.com/2016/06/06/ugandas-president-museveni-names-prof-ephraim-kamuntu-as-new-tourism-minister
  7. https://www.independent.co.ug/ex-officio-ministers-take-oath-in-parliament/