Jump to content

Morley Beyekwaso

Bisangiddwa ku Wikipedia

 

Morley Byekwaso munnayuganda eyali omuzannyi w’omupiira era nga kati mutendesi w'omuzannyo gw'omupiira .

Ebiseera bye ng'omuzanyi

[kyusa | edit source]

Byekwaso yatandikiriza okwenyigira mu muzanyo gw'omupiira mu myaka gya 1990 era nga wano yali omu kubalenzi abato ababeera ku kisaawe okuyambako okuweereza omupiira singa guba guvudde ku kisaawe awazannyirwa mu lungereza abayitibwa ba 'ball boy' ku kiraabu ya KCC FC mu budde buno eyitibwa KCCA FC .Yadde nga ono teyali muzannyi mu budde obwo, yeetabanga buteerevu mu kutendekebwa kwa tiimu era oluvannyuma KCC FC yamuwa endagaano entongole atandike okugizannyira omupiira. Mu budde obwo Byekwaso yali aweza emyaka 15 egy'obukulu. [1] [2]

Mike Mutebi eyali omumyuuka w'omutendesi mu mwaka 1995 yamuwa omukisa okuzannya era naye nagukozesa okwenywereza mu nsengeka eya 3-4- 3 KCC gyeyali ezannya obudde obwo. Byekwaso bwatyo yafuuka omu ku bazannyi abatambulirwako ensonga era namanyika nnyo olw'okugulu kwe okwa konno n'engeri gyeyali asomamu obulungi omuzannyo namaaso ge Ono era yalina namanyi nga kimwanguyira okujjako abazibizi ba kiraabu endala era nemukugaba omupiira nga mumanyi nnyo. [1] Morley Byekwaso okutwaliza awamu yali muzannyi wanjawulo era asobola okukwasaganya obuvunaanyizibwa obwenjawulo ku kisaawe. Kino kyava ku kuba nti yali asobola bulunji okuzannyisa amagulu gombi era nga asobola n'okuzannya ku luuyi olwa kkono ne ddyo mu kuyamba ko abateebi, kwossa n'okuzannya nga omuwuwuttanyi oba mu makatti g'ekisaawe. [3]

Nga aweza emyaka 18 gyokka Byekwaso yazannya omupiira gwe ogwasooka ku ttiimu ya Uganda enkulu eya Cranes era nga guno baguzannya ne ttiimu y'eggwanga lya Ethiopia mu mizannyo gy'okusunsulamu abalizannya abaneetaba mu kikopo ekiwakanirwa amawanga ku lukalu lwa Afrika ekya AFCON era nga omupiira guno gwagweera mu maliri ga ggoolo 1-1. Mu mwaka 2002 Byekwasa yeegatta ku SC Villa era nagizannyira omupiira okumala emyaka ebiri. Nga ali ne kiraabu ya Villa yawangula engule za liigi ya Uganda bbiri kwossa n'ekikopo ekiwakanirwa kiraabu empanguzi mu masekati n'obuvanjuba bwa Afirika ekya Cecafa Club Championship kimu. Mu mwaka 2005, Byekwaso yagenda mu ggwanga lya Rwanda okuzannya omupiira ogwensimbi era eno yeegatta ku Atraco FC gye yamala sizoni ssatu. Okugenda kwe mu ggwanga lya Rwansa kwamuviirako obutaddamu kuzannyira tiimu ya Uganda eya Cranes. Mu mwaka 2008, yakomawo mu Uganda era neyegatta ku Express FC . [4]

Byekwaso yali mu ttiimu eyeetaba mu mizannyo egyenjawulo egizannyibwa ku lukalu lwa Afirika egiyitibwa All-Africa games mu 1999. Oluvannyuma lw’okunyuka okuzannya omupiira mu mwaka 2008, Byekwaso yatandika okuweereza ng'omutendesi. [5] [6]

Byekwaso nga Omutendesi

[kyusa | edit source]

Obutendesi bwe yatandikira mu Liverpool United era nekimuyamba okufuna obumanyirivu Oluvannyuma yeegatta ku kiraabu gyeyali yasooka okuzannyira eya KCCA FC nga omu kubayambi b'omutendesi era nga wano yali wansi w'omutendesi Matia Lule wamu ne Baker Mbowa. Oluvannyuma yafuuka omutendesi ow'ekiseera ku kiraabu eno. Byekwaso bweyava ku KCCA yegatta ku kiraabu ya Victoria University ng’omuyambi w'omutendesi ate oluvannyuma nafuukira ddala omutendesi omujjuvu. [7]

Byekwaso era yatendekako kiraabu ya Simba SC mu Uganda wakati wa 2015-2016. Oluvannyuma Yakomawo mu KCCA FC ng’omuyambi w'omutendesi Mike Mutebi era ono bwagobwa mu mwaka 2021 Byekwaso yafuuka omutendesi owekiseera era oluvannyuma nafuuka omutendesi omujjuvu. [8] [9] [10] [11] Omulimu gw'okutendeka KCCA yagusuulawo mu Gwokuna omwaka 2023 [12] [13] [14] Byekwaso era yaliko omutendesi owekiseera ku ttiimu y'eggwanga Uganda ey'omuzannyo gw'omupiira. [15] [16] [17] [18]

Mu mwaka 2019, Byekwaso nga omutendesi yasobozesa ttiimu ya Uganda eyabazannyi abatasussa myaka 20 okutuuka ku fayinolo ky'Amawanga ga Afirika. [19] Mu budde buno Byekwaso yemutendesi omukulu owa SC Villa. [20] [21] [22]

Ebiwandiiko ebikozeseddwa

[kyusa | edit source]
  1. 1.0 1.1 https://observer.ug/sports/70603-byekwaso-s-career-has-come-full-circle
  2. https://observer.ug/index.php/sports/82040-will-byekwaso-be-villa-s-substantive-coach
  3. https://www.monitor.co.ug/uganda/sports/soccer/byekwaso-ssozi-and-mawa-two-footed-jacks-of-all-trades-3282608
  4. https://www.monitor.co.ug/uganda/magazines/score/from-back-to-front-seat-byekwaso-raises-his-stock--3313612
  5. https://www.independent.co.ug/uganda-hippos-face-south-sudan-in-zonal-qualifiers-for-afcon-u-20/
  6. https://www.newvision.co.ug/category/sports/can-morley-byekwaso-fit-in-mike-mutebis-shoes-121555
  7. https://kawowo.com/2016/07/01/morley-byekwaso-is-new-kcca-f-c-assistant-manager/
  8. https://www.kccafc.co.ug/morley-byekwaso-is-new-kcca-fc-manager/
  9. https://kawowo.com/2019/02/07/byekwaso-expects-tough-upl-second-round/
  10. https://kawowo.com/2021/07/14/byekwaso-assumes-full-managerial-role-at-kcca-football-club/
  11. https://www.pulsesports.ug/football/story/kccas-byekwaso-wants-players-to-take-part-of-the-blame-for-poor-results-2023041011134171840
  12. https://sportsnation.co.ug/2023/04/16/kcca-fc-morley-byekwaso-resigns-after-uganda-cup-exit/
  13. https://www.newvision.co.ug/category/news/why-kcca-coach-morley-byekwaso-resigned-158335
  14. https://kawowo.com/2023/04/16/why-byekwaso-left-his-role-as-kcca-head-coach/
  15. https://thetouchlinesports.com/morley-byekwaso-names-final-ugandan-squad-for-the-cecafa-u18s-championship/
  16. https://www.fufa.co.ug/coach-byekwaso-names-final-squad-for-mali-zambia-friendly-games/
  17. https://nexusmedia.ug/byekwaso-unveils-final-team-ahead-of-friendly-match-between-uganda-mali-zambia/
  18. https://www.dispatch.ug/2023/10/04/byekwaso-takes-over-as-interim-head-coach-for-uganda-cranes/
  19. https://www.matookerepublic.com/20210306/afcon-u20-final-we-are-only-be-fighting-to-become-champions-uganda-hippos-coach-byekwaso-confident-the-boys-will-outsmart-ghana/
  20. https://www.newvision.co.ug/category/sports/sc-villa-were-so-poor-against-cbe-says-morley-NV_194193
  21. https://www.newvision.co.ug/category/sports/should-sc-villas-morley-byekwaso-go-or-stay-NV_198331
  22. https://kawowo.com/2024/08/17/sc-villa-tactician-byekwaso-unfazed-about-ball-passing-philosophy-by-ethiopias-cbe/