Mugisha Muhanga Margaret

Bisangiddwa ku Wikipedia

Mugisha Muhanga Margaret era amanyikiddwa nga Muhanga Magaret, mukyala munnabyabufuzi mu Uganda. Omukyala ono ye Minisita w'ebyobulamu ebitandikirwako nga yalondebwa Yoweri Kaguta Museveni mu mwaka gwa 2021, omukyala ono Munnalotale, Munnamawulire, yeebuuzibwako mu by'enkulaakulana ate era nga musuubuzi.[1] Margaret yaliko omubaka wa disitulikiti y'e Kabarole mu ppaaliyamenti eyoomunaana ate era yaliko omubaka w'essaza ly'e Burahya mu ppaaliyamenti ya Uganda ey'omulundi ogw'ekkumi. Oluvannyuma yaddamu okwegatta ku lukiiko lw'eggwanga olukulu ng'omubaka wa disitulikiti ya Kabarole ey'Amambuka mu kibuga Fort Portal. Wano yali akiikirira ekitundu kino mu Ppaaliyamenti ya Uganda ey'omulundi ogw'ekkumi n'ogumu nga ali ku kkaadi y'ekibiina ky'ebyobufuzi ekiyitibwa National Resistance Movement.

Obulamu bwe[kyusa | edit source]

Mugisha Muhanga Margaret yazaalibwa Constance Muhangazima Adyeri. Mukyala mufumbo era nga omwami we ye Michael Mugisa, eyaliko ssentebe wa Disitulikiti y'e Kabarole era akulira ekitongole ky'ebibira mu ggwanga nga alina abaana bangi b'alabirira era nga bangi ku bbo bamulekwa. Omwami wa Muhanga yasikira Damiano Akankwasa mu National Forestry Authority, oluvannyuma lwa Akankwasa okusingisibwa omusango gw'okukozesa obubi yafeesi n'aleetawo okufiirizibwa obuwumbi bwa ssente za Uganda bubiri mu obukadde lunaana.

Ye mwannyina wa Andrew Mwenda omukulu, munnamawulire ate nga Munnayuganda. Omukyala ono era mwannyina wa Munnamagye Maj. Gen Kayanja Muhanga ne Maj. Henry Baguma, Omukulembeze ow'ebyafaayo mu kitongole ki Internal Security Organisation (ISO). Mu biseera bye eby'eddembe Muhanga anyumirwa nnyo okufumba n'okulongoosa ennyumba ye.

Okusoma kwe[kyusa | edit source]

Yasomera ku Nyakasura School.

Emirimu gye[kyusa | edit source]

Yaweebwa omulimu mu New Vision ku ntandikwa y'emyaka gya 1990, nga y'asaka aga ppaaliyamenti. Margaret yatandikawo ekibiina kya bannamawulire abagasakira mu ppaaliyamenti ya Uganda nga wano yali wamu ne Henry Ochieng eyali ssentebe w'ekibiina kino ate nga Margaret ye mumyuka we. Y'akulira Diamond Empowerment Limited ne Fort Fun City Fort Portal. Yaweerezaako ng'omukozi mu yaafeesi y'omukulembeze w'eggwanga.

Yaliko omubaka wa ppaalamenti omukyala akiikirira disitulikiti y'e Kabarole wakati wa 2006–2011 era oluvannyuma yafuuka omubaka w'essaza lya Burahya erisangibwa mu disitulikiti y'e Kabarole. Yakiikirira ekitundu kino mu Ppaaliyamenti ey'omulundi ogw'ekkumi. Yayingira ebyobufuzi olw'okwagala okuyamba abantu, kyokka talina bwagazi mu byabufuzi.

Okukuubagana[kyusa | edit source]

Mu mwaka gwa 2021, yategeeza eyaliko omukubiriza wa ppalamenti, Rebecca Kadaga nti yali asobola okudda e Busoga n'alima ebikajjo. Kino kyaliwo oluvannyuma lwa Kadaga obutassa kitiibwa mu kusalawo kw'ekibiina kya National Resistance Movement (NRM) okw'okusimbawo omugenzi Jacob Oulanyah ku ky'obukubiriza bwa ppaalamenti wadde nga yakola endagaano mu mwaka gwa 2016 Oulanyah mwe yasalirawo obutamuvuganya

Abadde yeekobaana okunyagako UBC ettaka lyayo.

Yali omu ku baakulemberamu okwekalakaasa okw'obuwanguzi mu Ppaalamenti era n'akunga bannamawulire bonna okuva mu kkampuni ez'enjawulo mu mwaka gwa 1999 era bannamawulire ne basalawo obutaddayo okumala wiiki emu kubanga baali baagala yaafeesi ate nga ppaalamenti tegibawa.

Laba ne bino[kyusa | edit source]

Emiyungiro gy'obubaka egy'ebweru[kyusa | edit source]

Ebijuliziddwamu[kyusa | edit source]

  1. Uganda, Flash (2022-03-12). "Margaret Muhanga: Biography, Age, Family and Husband". Flash Uganda Media (in English). Retrieved 2022-03-22.{{cite web}}: CS1 maint: unrecognized language (link)