Nile Breweries Limited
Kkampuni ya Nile Breweries Limited ( NBL ) y'esinga okukola bbiya mu Uganda . [1] [2]
Ekifo wesangibwa
[kyusa | edit source]Ekitebe kya NBL n’ebbibiro ly’omwenge eddene biri mu kibuga Njeru mu Disitulikiti y’e Buikwe,kiro mita 6 (4 mi) obukiikakkono bw’obuvanjuba bw’ekitundu ky’ebyobusuubuzi ekiri wakati mu Jinja, Uganda . [3] Kino kiweza kiro mita 77 (48 mi), ku luguudo, ebuvanjuba bwa Kampala, ekibuga ekikulu era ekisinga obunene mu Uganda. [4] Endagiriro z'ekitebe kya kkampuni eno ziri 0°26'19.0"Mambuka, 33°10'47.0"Buvanjuba (Bukiika ddyo:0.438620; Bukiika kkono:33.179720). [5]
Okulambika
[kyusa | edit source]NBL yalina omugabo ogubalirirwamu ebitundu 52 ku buli 100 ku katale ka bbiya mu Uganda mu mwaka gwa 2013. [6] Okuva olwo kino kyakula ne kituuka ku bitundu 57 ku buli 100.
Eagle Lager yatongozebwa okutumbula enkozesa ya omuwemba ogulimibwa mu ggwanga okukola bbiya za lager n’okukendeeza okwesigama ku bikozesebwa ebiyingizibwa mu ggwanga. Kati mu bikozesebwa mu kugaziya kkampuni eno mulimu Eagle Extra, Eagle Poa ne Eagle Dark. [2]
Ebyafaayo
[kyusa | edit source]NBL yatandika mu 1951 ng’ebbibiro limu e Jinja. Ebbibiro lino lyafuulibwa lya ggwanga lyonna mu 1972 Pulezidenti Idi Amin . Mu 1997, South African Breweries yagula emigabo 40 ku buli 100 mu bbibiro lino, ne lisitula kino okutuuka ku bwannannyini mu bujjuvu mu Gwomusanvu 2001. [2] [2] Kati kampuni eno kitundu kya famire ya ABInBev kyenyumirizaamu oluvannyuma lw’okumaliriza obulungi okugatta bizinensi ne SABMiller plc mu 2016.
Ebikwekweto by’emirimu
[kyusa | edit source]Mu gwekkumi 2013, NBL yaggulawo ebbibiro eppya e Mbarara, nga liri kiro mita 250(155 mi), mu bukiikaddyo bw’amaserengeta ga Kampala. Ekyuma kino ekyazimbibwa ku bukadde bwa ddoola za Amerika 90.6 (obuwumbi nga UGX:235), kyali kisuubirwa okufulumya kuleeti bya bbiya obukadde butaano n’ekitundu buli mwaka. Ekyuma ekipya ekikola omwenge kikozesa omuwemba, kasooli, ne ssayiri, nga zino zisinga kulimibwa balimi mu kitundu kino. Ebintu ebikolebwa mu bbibiro lino bitundibwa mu ggwanga ne bitwalibwako ne mu South Sudan ne Democratic Republic of the Congo . [7]
Ekkolero lya maltings nga liriko ekitundu kya ttani 120 lyazimbibwa mu kifo awakolebwa omwenge e Jinja mu 2011 okuwagira enteekateeka y’okulima ssayiri mu kitundu n’okugabira ebbibiro lino. [2] eyeenyigira mu kuzimba kuno yali Excel Construction Limited, [8] eyatandikibwawo mu 1992 nga kkampuni ey’awamu wakati wa Madhvani Group ne Gomba Construction Company Ltd. [9]
Ebika by’ebintu
[kyusa | edit source]Mu mwaka gwa 2013, Nile Breweries yalina ebika bya bbiya kkumi ebikolebwa mu ggwanga (Nile Special, Nile Gold, Club Pilsner, Castle Lite, Castle Milk Stout, Eagle Lager, Eagle Extra, Eagle Dark, Eagle Poa ne Chairman’s ESB), ekika kya bbiya kimu kyakolebwa nga ekyekinannsi mu Africa( Chibuku), lager bbiri eziyingizibwa mu ggwanga ( Castle Lager ne Grolsch ) . [2]
Mu 2014, akabonero ka Nile Special akamanyiddwa ennyo kaali katwalibwa e Kenya . [10]
Ebijuliziddwa
[kyusa | edit source]- ↑ "Archive copy". Archived from the original on 2016-04-03. Retrieved 2024-09-27.
{{cite web}}
: CS1 maint: archived copy as title (link) - ↑ 2.0 2.1 2.2 2.3 2.4 2.5 http://www.newvision.co.ug/new_vision/news/1329932/nile-breweries-limited-expands-foot-print-western-uganda
- ↑ http://distancecalculator.globefeed.com/Uganda_Distance_Result.asp?fromplace=Jinja%20Town%20Hall%2C%20Jinja%2C%20Eastern%20Region%2C%20Uganda&toplace=Nile%20breweries%2C%20Jinja%2C%20Uganda%2C&dt1=ChIJPc_jM6J7fhcRlrjcoRvO69g&dt2=ChIJO3wSJvh7fhcRhIxsXEHawTU
- ↑ http://distancecalculator.globefeed.com/Uganda_Distance_Result.asp?fromplace=Uganda%20Post%20Office%2C%20Kampala%20Road%2C%20Kampala%2C%20Central%20Region%2C%20Uganda&toplace=Nile%20breweries%2C%20Jinja%2C%20Uganda%2C&dt1=ChIJQ6vCjIC8fRcRO0xjOZ4-3Qc&dt2=ChIJO3wSJvh7fhcRhIxsXEHawTU
- ↑ https://www.google.com/maps/place/0%C2%B026'19.0%22N+33%C2%B010'47.0%22E/@0.4390818,33.17696,637m/data=!3m1!1e3!4m2!3m1!1s0x0:0x0
- ↑ https://web.archive.org/web/20130825194631/https://www.theeastafrican.co.ke/news/Uganda-beer-firms-fight-to-dominate-market--/-/2558/1664022/-/m0racoz/-/index.html
- ↑ http://www.monitor.co.ug/News/National/Museveni-opens-new-Shs230b-beer-plant/-/688334/1964292/-/125xc5w/-/index.html
- ↑ http://www.excelconstruction.org/projects/construction-malting-plant-nile-breweries-limited
- ↑ http://www.excelconstruction.org/about-us
- ↑ http://www.businessdailyafrica.com/Corporate-News/Uganda-s-Nile-Special-imports-stoke-beer-war/-/539550/2300616/-/294vgm/-/index.html