Nimisha Madhvani

Bisangiddwa ku Wikipedia

 

Nimisha Jayant Madhvani MuMunnayuganda akiikirira egwanga lye mu nsi z'ebweru, aweereza nga Ambassador wa Uganda eri United Kingdom. Emabegako yali Ambassador wa Uganda eri Nordic countries yali akwasaganya Denmark, Finland, Iceland, Norway ne Sweden.

Nga ebyo tebinabaawo, yaweereza nga Ambassador wa Uganda eri United Arab Emirates, ne International Renewable Energy Agency (IRENA).[1]

Nga ebyo tebinabaawo, yali ambassador wa Uganda eri France, Spain, Portugal ne UNESCO, esangibwa mu Paris.[2]

Ebyemabega n'emisomo[kyusa | edit source]

Yazaalibwa mu Uganda mu 1959 eri Meena Madhvani ne Jayant Madhvani, bombi abatuuze b'omu Uganda ab'ensibuku y'omu India.[3] Jayant ye yali omwaana omubeeryeberye mu batabani ba Mulji Prabhudas Madhvani (1894–1958) abattaano, nanyini makolero amanene, omutandisi w'emirimu eyatandikiwo ekitongole kya Madhvani Group of Companies mu 1930.[4] Nimisha yakulira mu estate ya famire mu Kakira, eri mu kuteebereza kwa saawa emu n'ekitundu nga ovuga okuda mu buvanjuba bw'ekibuga ekikulu, Kampala. Dictator Idi Amin bwe yagobba ba Asians mu Ugandan mu 1972, yagenda nabeera mu United Kingdom ne famire ye, nga alina emyaaka 13 ejy'obukulu.[3]

Emirimu gy'okukiikirira egwanga mu nsi z'ebweeru[kyusa | edit source]

Ekibiina kya National Resistance Movement bwe kya wamba obuyinza mu myaaka jya 1980, famire ya Madhvani yaddayo mu Uganda neddamu okufuna eby'obugaga bwaayo.[3] Mu myaaka gya 1990 Nimisha yegatta ku Uganda foreign service, nebaasooka okumusindika mu Washington, D.C., nga omuwandiisi asooka eyo eri embassy ya Uganda. Mu 2007, yakyuusibwa okudda mu High Commission ya Uganda mu India, esangibwa mu New Delhi, nga ow'okubiri-mu-buyinza.[5] Oluvanyuma lw'omwaaka gumu, yalondebwa nga High Commissioner, naweereza mu buyinza obwo okuva mu Gwokuna 2008.[6] Bwe yali eyo, yali yekwasaganya ku Bangladesh, Bhutan, Indonesia, Malaysia, Myanmar, Singapore, Sri Lanka ne Thailand.[3]

Mu summer ya 2014 Nimisha yakyuusibwa nadda mu embassy ya Uganda mu Paris, France, nga Ambassador, aweereza mu busobozi obwo okutuusa 2017. Bwe yali eyo, yaweereza nga ambassador w'ensi ye eri Portugal, Spain, BIE, OECD ne UNESCO.[7] Mu Gusooka 2017 yasindikibwa mu Abu Dhabi nga ambassador wa Uganda naye oluvanyuma yayitibwa olw'okuteekawo embeera y'obutakwaatagana wakati wa Gavumenti ya UAE ne Uganda.[8] Richard Nduhura yamuddira mu bigere mu Paris, eyali omukyiisi wa Uganda ow'olukale eri ekittebe kya United Nations ekikulu mu [./New_York_Cityhttps://en.wikipedia.org/wiki/New_York_City New York City].[7] Mu Gwekkuminoogumu 2018, yasindikibwa Embassy ya Uganda Copenhagen, emanyikidwa mu Nordic countries, nada mu bigere bya Ambassador Kibedi Zaake Wanume, eyasindikibwa mu Abu Dhabi, mu United Arab Emirates. Mu 2020 badamu ne bamuyita e Kampala oluvanyuma lw'akatambi akaafuluma aka Nimisha Madhvani ne banne aba embassy nga bateesa okubba n'okugabana ensimbi eziteekebwa ebali okuyamba Bannayuganda abakoseddwa ekilwadde ekyaali mu nsi yonna ekya .

Ebijuliziddwa[kyusa | edit source]

  1. https://chimpreports.com/nimisha-madhvani-appointed-ugandas-representative-to-irena/
  2. "Archive copy". Archived from the original on 2018-11-29. Retrieved 2024-04-30.{{cite web}}: CS1 maint: archived copy as title (link)
  3. 3.0 3.1 3.2 3.3 http://www.hindustantimes.com/india/uganda-makes-a-point-with-indian-origin-envoy/story-QNithxLsl8zyilFwrSeKQJ.html
  4. https://www.newvision.co.ug/new_vision/news/1184391/india-penniless-madhvani-fortune-uganda
  5. https://timesofindia.indiatimes.com/world/Minister-sells-Uganda-to-Gujaratis/articleshow/2016162.cms
  6. "Archive copy". Archived from the original on 2018-11-29. Retrieved 2024-04-30.{{cite web}}: CS1 maint: archived copy as title (link)
  7. 7.0 7.1 https://www.newvision.co.ug/new_vision/news/1452186/retire-uganda-unesco-boss
  8. https://observer.ug/news/headlines/57685-uae-kampala-row-deepens-as-arab-country-demands-apology

Ebijuliziddwa wa bweru wa wikipediya[kyusa | edit source]