Okukola ebyoto

Bisangiddwa ku Wikipedia

Okukola ebyoto[kyusa | edit source]

EBYETAGISA OKUKOLA EBYOTO BINO[kyusa | edit source]

Energy saving stoves save fuel wood, reduce on massive cutting of trees for firewood.
  • Amataffaali – okusinzira ku bunene bw’ekyoto kyeweetaaga.
  • Ettaka lya bulijjo ebitundu 40 ku buli 100, bwe bu kalaayi 2.
  • Enkulukuku ebitundu 50 ku buli 100 , bwe bukalaayi 3 bw’oba ogifunye.
  • Obusa ebitundu 10 ku buli 100 , akakalaayi 1 .

ENKOLA EGOBERERWA[kyusa | edit source]

Ebyo byona obisambira wamu. Ettakka ly’ekiiswa ebitundu 90 ku buli 100 , obukalaayi 5; tabulamu obusa ebitundu 10 ku buli 100 , akakalaayi 1. Nabino bisambirwa wamu. Ebbumba lyoka ebitundu 100 ku buli 100, ekalaayi 6. Bino byebyeyambisibwa okusiba amataffaali n’okubikka ekyoto kino kyonna. N’oluvannyuma nga kikaze siigako olufuufu n’obusa – okukyetoolooza kyonna. ENKOLA Sooka otereeze bulungi ekifo w’ogenda okuzimba ekyoto kino waleme kubaawo kaserengeto konna. Ng’ogenda okukola ekyoto kino ddira ettaka, enkulukuku, n’obusa obigatte wamu, singa oba tosobodde kufuna nkulukuku, gatta ettaka erya bulijjo n’ettaka ly’ekiswa naye ate enkulukuku tekola bulungi nga togasseemu kirala. Olina okufuba okulaba ng’ofuna enkulukuku kubanga y’ekola enkwasi. Ebbumba bw’oba olirina lyo lyemalirira nga togasseemu kirala. Ssamba obudongo bujje bulungi bumalewo ennaku 2 olyoke obukozese. Osobola okukozesa obungi bw’amataffaali gonna g’oba olina , okusinziira ku bungi bw’abantu b’olina mu maka go, kubanga bwe babeera abangi olina okuzimba ekyoto kinene, bwe babeera abatono era olina kuzimba kitono n’amataffaali gaba matono, katugeze singa oba olina abantu nga mukaaga oyinza okweyambisa amataffaali nga 30 naye nga agamu ga bitundu, waliwo awagenda amalamba n’agebitundu. Oyinza okuzimba eky’ebyoto bibiri oba bisatu okusinziira ku bungi oba obutono bw’ebintu by’ofumba, weesalirawo ekikumala. Ekyoto kirina okutunula awava empewo entonotono, tokitunuza wava mpewo nnyingi kubanga omuliro tegutereera wamu. Tetuteekawo kituli kiyisa mukka kubanga ebbugumu tuba tulifiirwa ate nga bwe libeeramu lituyamba okujjiisa amangu ebintu byetufumba n’enku okugenda entono. Bw’oba osala ebyoto, ekisooka kirina okuba ekinene okusinga ebirala kubanga ky’ekifumba emmere engumu ng’ebijanjaalo, n’emmere endala. Ebyoto ebitono by’ebifumba ebintu ebinafunafu nga amazzi, enva ezanguwa n’ebirala. Bwomaliriza okusiba amataffaali kubako akadongo kyonna kibunire oluvannyuma lw’ennaku ssatu maalako olufuufu ng’otaddemu obusa. Oba olufuufu lwokka okukilabirira obulungi; singa wabaawo awavudde akadongo kiddabirize. Ekigendererwa mu kino kukekkereza nku olw’ensonga nti ofumba ebintu bingi omulundi gumu ku nku za mulundi gumu mu kiseera kye kimu. Kikekkereza n’obudde olw’ensonga nti tolwa mu ffumbiro ng’ofumba nga ku ky’amasiga agaffe aga bulijjo ositulako kino ozzako kirala. ` EBIRUNGI EBIRI MU KUKOZESA EKY OTO KINO: Kikekkereza enku, wakiri ebitundu 30 ku buli 100. Kikuuma ebbugumu. Kikeendeeza ku mulimo nga obutaseeseleza buli kiseera. Si kyangu kusengula. Essefuliya teziteruka. Sikyangu mwana kujja siinga oba omutumye okuseesaamu. Tekyonoona mpewo zetoloddewo n’okuddugaza ebikozsebwa mu ffumbiro. Obudde butono bw’omala ng’ofumba.

WEETEGEEREZE BINO[kyusa | edit source]

Omuwendo gw’amataffaali kisinziira ku bunene bwmasigago bweweetaaga. Obugazi bw’amasiga- 75cm, obukiika-75cm, obugulumivu -27 cm kino kisinziira ku bunene bw’amasiga geweetaaga. Omulyango gw’ossaamu enku – 9 inchi Obugazi bw’ebyoto ebisatu (1) 9” = 23 cm , (2) 8” = 20 cm, (3) 7” = 17 cm Obugazi bw’ebyoto businziira ku bunene bw’amasiga go geweetaaga. 

[1]

  1. https://lg.wikipedia.org/wiki/AMASIGA_AG%E2%80%99OMULEMBE_GAMUGASO,_TEGAKOSA_BUTONDE_BWA%E2%80%99_NSI