Jump to content

Olive Kobusingye

Bisangiddwa ku Wikipedia

 

Olive Chifefe Kobusingye Munnayuganda eyeebuuzibwako mu nsonga z'okulongoosa abantu abali mu mbeera enzibu ennyo era alongoosa abantu abeetaaga obwangu era nga akola okunoonyereza ku buvune obufunibwa abafunye obubenje era nga abisomerera. Akola nga omukulu mu banoonyereza ku Ssomero ly'ebyobulamu Yunivaasite y'eMakerere ne ku ttendekero lya Institute for Social and Health Sciences erisangibwa mu Yunivaasite ya South Africa. Y'akulira Puloogekiti ekola ku nsonga eziri ku mbeera ezikosa obwongo, ebisago, n'obulemu mu Ssettendekero wa Makerere University esomesa eby'obulamu era nga atikkira abamaze okusoma.[1]

Obuto bwe n'okusoma kwe

[kyusa | edit source]

Kobusingye yazaalibwa mu Uganda mu mwaka gwa 1960s. Yasoma amasomo gonna agasooka wamu ne siniya. Mu 1982, yaweebwa ekifo mu Makerere University mu ssomero ly'ebyeddagala. Yatikkirwa ne Diguli mu By'eddagala era ne Diguli mu Kulongoosa abantu mu 1987. Yeeyongereyo neemisomo gye mu ssomero lya London School of Hygiene and Tropical Medicine, era nga eno yatikkirwa ne Diguli Eyookubiri mu bya Saayansi mu 1991.[2]

Nga wayiseewo emyaka ebiri, yaddamu naafuna Diguli endala Eyookubiri mu ssomo Ly'ebyeddagala nga yatwala By'akulongoosa abantu nga yagisomera ku Yunivaasite ya Makerere mu Somero Ly'ebyobulamu. Eno yagigattako Diguli Ey'okubiri mu By'obulamu Bw'abantu nga wano yatwala ssomo likwata ku Kunoonyereza ku ndwadde nga eno yagifunira mu Yunivaasite yoomu America eya State University of New York at Albany mu 1995.[2]

Omulimu gwe

[kyusa | edit source]

Olive Kobusingye Mukulu mu kutandikawo eekifo ekijjanjaba ebantu abalina ebiwundu ekisangibwa ku Somero Ly'ebyobulamu mu Kampala, Uganda. Alina obumanyirivu mu kukola n'okuteekawo enkola eyamba abalina obuvune mu nkola eamba ba mufuna mpola. Ye muwandisi eyatandika mu nkola Y'okwewala Obuvune mu bitundu bya Africa ebiriraanye eddungu Sahara. yeeyatandikawo okuwandiisa abalwadde abalina obuzibu mu bwongo obuva ku birowoozo mu Africa. Ye Ssentebe w'ekitongole kya International Network for Clinical Epidemiology (INCLEN) Africa Injury Research Cluster, nga kino kikola ku kunoonyereza ku ddagala era kuliko awanga ana aga Africa.[1][2][3]

Bwe yali tannaba kuyingira mu ssomero Ly'ebyobulamu erya Makerere University, Olive yali akola nga Nga omuwi waamagezi ku nsonga ezikwata ku kutulugunyizibwa, ebiwundu, n'obulemu mu Kitongole Ky'obulamu Mu nsi yonna nga yali akolera ku ofiisi zabwe ez'ekitundu kya Africa (AFRO), nga yali asinziira mu Brazzaville, mu ggwanga lya Republic of the Congo. Gyebwali buvuddeko awo yali akola nga Omusomesa omutendeke mu ttabi ly'amasomo gookulungoosa mu Makerere University era nga akola nga omulongoosa ow'obwangu asookerwako era nga mulongoosa w'abalwadde abali mu mbeera enzibu ennyo ku Dwaliro ekkulu ey'eMulago, nga lino ly'erisinga obunene mu ggwanga.[1]

Obunoonyereza bwe

[kyusa | edit source]

Bwebwatuukira mu Mmwezi Gw'okuna ogwa 2019, Kobusingye yali ayogeddwako emirundi 17,489.[4] Mukugu nnyo mu kukola nookuteeka mu nkola ebiyamba okutaasa ku biwundu mu mbeera z'abantu ba mufuna mpolaera nookukola mu nteekakateeka ezeetaba mu kwewala ebiwundu ebyo ebiva ku bidduka.[5]

Kobusingye muwandiisi Mu Ebikulu ebisatu mu Kwewala Ebirwadde ebiyitibwa (DCP3), era nga yatereezamu mu muko ogwali guli ku kwewala ebiwundu wamu n'obulamu mu bantu ne mu bintu[6] era naawandiika emitwe mu kitabo kya "Universal Health Coverage and Intersectoral Action for Health"[7] ne mu "Key Messages from Disease Control Priorities, Ekitabo eky'okusatu."[8]

Kobusingye yeeyakola ekiwandiiko kya Kampala Trauma Score (KTS) mu 2000, nga kino kyagendererwamu okukozesebwa mu bitundu ebirimu ebikozesebwa nga bitono, n'ebyenfuna nga bitono. Yasooka kuwandiisa obuzibu mu bwongo nga yasinziira ku biwandiko ebyali mu malwaliro era kino kyakola kinene mu kufuna ebiviirako, obungi, obubonero, okufa okukirimu, wamu neebiva mu biwundu bino mu Ddwaliro ly'eMulago.[9] KTS eno yeekebejjeddwa era nekolwamui n'ennongoosereza abanoonyereza abalala nga bano bagyamu M-KTS (modified-Kampala Trauma Score), nga eno eggyamu ebitundu ebikola mu kussa wamu neebibalo ebibirimu.[10]

Obufumbo bwe

[kyusa | edit source]

Kobusingye alina abaana babiri.[1] Muto weeyali omulembeze w'ekibiina ekivuganya gavumenti Dr. Colonel (Eyawummula) Warren Kiiza Besigye Kifefe, era nga ono yeesimbawo ku kifo ky'omukulembeze w'eggwanga emirundi ena era nga yeeyali omukulembeze w'ekibiina ky'ebyobufuzi ekya Forum for Democratic Change.[11][12]

Ebirala ebimwogerwako

[kyusa | edit source]

Okunoonyereza kwe essira asinga kulissa ku kukebera ku nsonga biwundu, okulongoosa abantu abali obubi ennyo, enkola ez'okufa ku bantu abalina obuvune ku bwongo nookubafaako, okupima obuzibu bw'embeera y'ebiwundu, okukakasa nti amakubo malungi okukozesa,n'okubbira. Aweerezza ku Kakiiko Akakulu aka Bbanka yensi yonna akakola ku bulungi bw'enguudo She has served on the Core Advisory Group of the.[1] Ye Ssentebe W'akakiiko akanoonyereza ku buvune obuva ku nguudo.[13]

Laba na bino

[kyusa | edit source]

Ebijuliziddwa

[kyusa | edit source]
  1. 1.0 1.1 1.2 1.3 1.4 https://web.archive.org/web/20190518175922/https://thl.fi/en/web/injury-prevention/safety-2016/programme/plenary-sessions/plenary-speakers/dr.-olive-kobusingye
  2. 2.0 2.1 2.2 https://injuryprevention.bmj.com/content/7/2/160
  3. "Archive copy". Archived from the original on 2024-03-28. Retrieved 2024-03-28.{{cite web}}: CS1 maint: archived copy as title (link)
  4. https://www.researchgate.net/profile/Olive_Kobusingye
  5. https://doi.org/10.1136%2Fip.7.2.160
  6. "Archive copy". Archived from the original on 2024-03-28. Retrieved 2024-03-28.{{cite web}}: CS1 maint: archived copy as title (link)
  7. "Archive copy". Archived from the original on 2024-03-28. Retrieved 2024-03-28.{{cite web}}: CS1 maint: archived copy as title (link)
  8. "Archive copy". Archived from the original on 2024-03-28. Retrieved 2024-03-28.{{cite web}}: CS1 maint: archived copy as title (link)
  9. https://doi.org/10.1097%2F00005373-200003000-00022
  10. https://pubmed.ncbi.nlm.nih.gov/26256783
  11. https://en.wikipedia.org/wiki/Daily_Monitor
  12. https://www.newsweek.com/kizza-besigye-uganda-elections-treason-461104
  13. "Archive copy". Archived from the original on 2020-02-19. Retrieved 2024-03-28.{{cite web}}: CS1 maint: archived copy as title (link)

Ebibanja ebirala

[kyusa | edit source]