Quiin Abenakyo

Bisangiddwa ku Wikipedia

Quiin Abenakyo (yazaalibwa 11 Ogwokubiri 1996) ye munayuganda omwolesi w'emisono era eyawangula empaka za nnalulung wa Uganda mu 2018. Yakiikirira Uganda mu mpaka eza nnalulungi ow'ensi yonna eza Miss World 2018 mu China , Abenakyo yawaweebwa enguleeya nnalulungi asinga mu Africa eza Miss World Africa 2018. Mu mpaka za Miss World 2018, Abenakyo yawangula empaka bweyawangulira mu kifo ekya bannalulungi abali basigaddeko 5. Ye munayuganda eyasooka okusbbera mu kifo kino ekya waggulu.muntu wa Uganda asoose okuteeka ekifo kino ku ntikko mu mpaka zino eza buli mwaka.

Ebyafaayo n'okusoma[kyusa | edit source]

Abenakyo yazaalibwa mu Disitulikiti eye Mayuge, mu Ogwokubiri 1996, eri Charles Sembera, Omusoga, okuva mu Disitulikiti eye Mayuge ne Alice Kyamulesire, Omutooro, okuva mu disitulikiti eye Kabarole. Yasomera ku St. Josephī's Girls Nsambya era n'afuna diguli mu bya busuubuzi, okuva mu Makerere University Business School.

Empaka za Miss Uganda 2018[kyusa | edit source]

Mu mpaka za Miss Uganda 2018, Abenakyo yawangula abavuganyi abalala 21 okusobola okuwangula engule. Empaka zategekebwa mu Kampala Sheraton Hotel. Omusazi w'empaka omulamuzi omukulu yali ku mukolo ogwo yali Zari Hassan, era nga akolanga omuyima w'ekempaka zino eza Miss Uganda beauty pageant. Yawangula emmotoka ey'ekika ekya Toyota Wish.[1] Mu ngeri y'emu, Abenakyo n'abawanguzi abalala okwali, Patience Martha Ahebwa ne Trya Margach baaweebwa sikaala mu Uganda Aviation School omuli okutendekebwa kw'abakozi abakolera mu nnyonyi.[1][2]

Empaka za World 2018[kyusa | edit source]

Abenakyo yakiikirira Uganda mu mpaka za Miss World 2018, ezategekebwa mu Sanya, China, mu Ogwekkuminebiri 2018, era nga zino z'empaka z'ensi yonna ezisinga obunene. Mu mpaka zino, yagattibwa ne Miss Argentina Victoria Soto. Abenakyo yayogera ku kuyamba omwana omuwala mu pulojekiti ye gyeyayuta "Fighting Teenage Pregnancies". Abalamuzi bonna abasatu baamulonda, ne bamusindika mu 30 abalina okuvuganya okwa waggulu, omuzannyi wa Uganda eyasooka okulinnya waggulu ennyo, era mu byafaayo by'empaka eza Miss World beauty pageant. Yafuna ekifo ekisooka mu bitaano, ekifo ekisingayo obunene mu mpaka z'omu Uganda ezaasinga okuwangula mu Miss World. Yafuna engule ya Miss World Africa. Minisita w'eby'obulambuzi mu Uganda yagamba nti gavumenti yakufuula Quiin Abenakyo omubaka w'ebyeby'obulambuzi mu ggwanga okuva lw'okumanyikibwa enis yonna ng'amaliririza okutuuka ku kifo ekya 5 mu Miss World 2018 oluvannyuma, Vanessa Ponce owa Mexico (Miss World 2018) ne Nicolene Pichapa Limsnukan owa Thailand, eyafuna ekifo ekyokubiri ne Kadijah Robinson owa Jamaica ne Maria Vasilevich owa Belarus, yafuna ekifo mu Top 5.

Laba era[kyusa | edit source]

Ebyawandiikibwa[kyusa | edit source]

  1. 1.0 1.1 Cite error: Invalid <ref> tag; no text was provided for refs named 1R
  2. Cite error: Invalid <ref> tag; no text was provided for refs named 2R

Enkolagana ez'ebweru[kyusa | edit source]

Template:Miss World 2018 delegates