Saala Khenyo
Sarah Kanyike munayuganda omunabyabufuzi, wo yalondebwa ku kya Minisita omubeezi ow'abakadde n'abaliko obulemu nga 24 Ogwomusanvu 2020. Nga tanafuuka kyaali,yeyali omumyuka wa Lord Mayor w'ekibuga kya Kampala, Uganda, ekibuga ekikulu era ekisinga obunene mu ggwanga. Yalondebwa mu kifo ekyo nga 16 June 2016. Bwe yali aweereza ng'omumyuka wa Lord Mayor, mu kiseera ekyo yeyali akiikirira Makindye East mu Kampala Capital City Authority Council.
Ebyafaayo n'okusoma
[kyusa | edit source]Kanyike yasomera ku Kibuli Secondary School, nga tanegatta ku Yunivaasite eye Makerere, gye yattikirwa diguli esooka mu busomesa. Musiraamu era ayambala nyambala za busiraamu.
Obumanyirivu mu mirimu
[kyusa | edit source]Mu kiseera ky'eby'obufuzi ekya 2011 okutuuka mu 2016, Sarah Kanyike yaweereza ng'omuyambi wa Lord Mayor Erias Lukwago. Era yakiikirira Makindye East mu KCCA Council okuva mu 2011 okutuuka mu 2016. Mu biseera ebyaayita, yaweereza ng'omukiise wa Makindye East ng'ate John Ssebaana Kizito ye yali meeya, wakati wa 1998 ne 2006. Omulundi gumu gwe yavuganyako ku kifo ky'omubaka wa Palamenti owa Makindye East.
Mu Gwomukaaga 2020, Pulezidenti Yoweri Museveni yalonda Sarah Kanyike ng'akulira ekikula ky'abantu mu KCCA. Erias Lukwago, Kampala Lord Mayor yamuwa ennaku ssatu okusalawo; oba okutwala ekifo ky'eggwanga oba okusigala ng'omumyuka wa Lord Mayor. Kanyike yasalawo okulekulira ng'omumyuka wa Lord Mayor olwo Lukwago kwekulonda Doreen Nyanjura okumuddira mu bigere.
Nga 24 Jjulaayi 2020, pulezidenti yaddamu n'alagira nti Kanyike alondeddwa mu lukiiko lw'abaminisita mu kifo ng'ow'abakadde n'abaliko obulemu ekitaalina muntu yenna. Ensonda ezeesigika nazo zalaga nti okufuulibwa Senkulu w'ekitongole kyonna mu Kampala Capital City Authority oteekwa okubeera ng'olina diguli ey'okubiri atenga Kanyike yalina diguli esooka yokka. Okulondebwa kwe kwekeneenyezebwa nekusunsulibwa Palamenti ya Uganda.
Laba era
[kyusa | edit source]Ebyawandiikibwa
[kyusa | edit source]Enkolagana ez'ebweru
[kyusa | edit source]- Sarah K crowd yalondebwa okuba Minisita nga 24 Ogwomusanvu 2020.