Jump to content

Santa Okot

Bisangiddwa ku Wikipedia
Santa Okot

Santa Okot mun'abyabufuzi mun'ayuganda, mulwanirizi w’abakyala era musomesa akola nga Member of Parliament akiikilira Pader District ( Aruu North ) mu Palamenti ya Uganda ey’ekkumi n’emu(2021-2026) nga yegatta ku kibiina kya People’s Progressive Party mu by'obufuzi. Santa ye mubaka mu Palamenti ey'ekkumi n'emu yeka ava mu kibiina kya People's Progressive Party . Era yaliko omubaka wa Palamenti ya Uganda ey'omusanvu mu 2001, ng'omubaka Omukyala owa Pader disitulikiti ng’akiikirira abantu ba Arua wansi w’ekibiina kya National Resistance Movement . [1] Mu 2006, yavuganya ku ky'omubaka bwa Palamenti kyokka n’awangulwa. [1] Amanyiddwa nnyo olw’okunenyanga gavumenti nga'kozesa emikutu gy’emutimbagano okugeza ng’ekkomo ku bisanja bya pulezidenti biggyibwawo okusobola okuvunaana abakulembeze ba gavumenti. [1]

Alina diguli eyookubiri mu by'enjigiriza .

Santa alina obukugu mu busomesa. Mulwanirizi w’abakyala n’abaana. Santa yakolako ng'omutendesi mu mateeka mu African Leadership Institute. Mu kiseera kino ye mumyuka w'omuwandiisi ow'ekibiina kya People's Progressive Party . Era ye Certified Peace Builder era Omuteesa. Mu PPP, Ms Okot ye ssentebe wa liigi y’abakyala ekiikirira ekitundu ky’omumambuka ga Yuganda.

Obuvunaanyizibwa obulala

[kyusa | kolera mu edit source]

Yali muteesa ku nzikiriziganya wakati wa gavumenti ya Yuganda ne LRA, Abayeekera abamanyibwa okuwamba, okukoppa n’okutta obukadde n’obukadde bwa Bannayuganda okuva mu bitundu by'omumambuka ga Uganda.

Ebiyungo eby’ebweru

[kyusa | kolera mu edit source]

Ebijjuliziddwa

[kyusa | kolera mu edit source]
  1. 1 2 3 Cite error: Invalid <ref> tag; no text was provided for refs named :0