Sarah Kagingo

Bisangiddwa ku Wikipedia

  Sarah Kagingo (yazaalibwa 1978) munayugandanga mukyala musuubuzi, omukugu mu by'empuliziganya era munnabyabufuzi. Mu kiseera kino akola ng'omuwandiisi w'amawulire omukulu mu Palamenti ya Uganda. Yavunaanyizibwa ku nkola y'emirimu mu kitongole ekya SoftPower Digital Communication Ltd.

Obutoowe n'obuyigirize[kyusa | edit source]

Kagingo yazaalibwa mu 1978 mu kyalo ekya Kajara, mu Disitulikiti eye Ntungamo, yasomera ku Trinity College Nabingo mu UCE ne Mt St Mary's College Namagunga mu UACE. Yafuna Bachelor of Library and Information Science okuva mu Makerere University.

Emirimu gye[kyusa | edit source]

Mu 1997, Kagingo yalondebwa ng'omukulembeze w'abayizi ab'oku yunivaasite e Makerere University 1997–1998 nafuuka ow'okubiri okuvuganya ku kifo kino n'akiwangula bukya Makerere University etandikibwawo mu 1922. Aweereza mu bitongole eby'enjawulo ng'omuyambi wmu kunoonyereza n'oluvannyuma n'akolako ng'omwogezi w'ekiitongole ekya Divintiy Union Limited ekibiina eky'obwannakyeewa,era ng'akulira okunoonyereza ku Akiba International. Mu 2013, Kagingo yalondebwa nga omuyambi omukulu owa Pulezidenti ku by'empuliziganya (2011-2014.).[1] Yeyali avunaanyizibwa ku byempuliziganya mu kitongole ekya(2015-2017). Y'avunaanyizibwa ku nkola ey'emirimu mu kitongole ekya SoftPower Digital Communication Ltd era nga y'akulira amawulire agafulumizibwa SoftPower News ekitongole ky'amawulire ekikolera ku miikutu egy'emitimbagano ekisangibwa mu Kampala. Nga 3 Ogw'omunaana 2021, Kagingo yalondebwa ng'omuwandiisi omukulu owa sipiika owa Palamenti ya Uganda.[2]

Eby'obufuzi[kyusa | edit source]

Mu 2012 ne 2017, yavuganya ku kifo ky'o mubaka owa EALA ttikiti ya NRM naye yawangulwa.

Ebirala bye balowoozaako[kyusa | edit source]

Yaliko Pulezidenti w'ekitongole ekigatta aboogereara ebitongole ekya Uganda's Public Relations Body (2018[[2018]20]. Kagingo aweereza ng'omu ku b'olukiiko olwa PSFU, era yaliko mmeba ku lukiko olugatta abakulira emikutu gy'eby'empuliziganya olwa National Association of Broadcasters

Ebijuliziddwa[kyusa | edit source]

  1. Cite error: Invalid <ref> tag; no text was provided for refs named auto1
  2. Cite error: Invalid <ref> tag; no text was provided for refs named auto4