Jump to content

Sarah Kyolaba

Bisangiddwa ku Wikipedia

Sarah Kyolaba Tatu Namutebi Amin (1955-11 Ogwomukaaga 2015 yali amanyidwanga "Suicide Sarah", yali munayuganda omuzinyi mukyala wa nnakyemalira Idi Amin ow'okutaano era eyasembayo kubaali abalamu. Yasisinkana Amin ng'alina emyaka 19 egy'obukulu era ne bafumbiriganwa mu 1975. Abafumbo bombi bazaala abaana basatu naye Kyolaba yaleka Amin oluvannyuma lw'okugenda mu buwaŋŋanguse mu 1979. Yagenda e Bungereza gye yatandikawo wooteeri n'oluvannyuma n'atandikawo saluuni y'enviiri. Yafa kkansa mu 2015.

Obulamu bwe obwasooka

[kyusa | edit source]

Sarah Kyolaba yazaalibwa mu Mulago Hospital, Kampala, Uganda, mu 1955 eri Haji Kamadi ne Aisha Nsubuga.

Idi Amin

[kyusa | edit source]

Kyolaba yasisinkana Idi Amin ng'alina emyaka 19nera yali muzinyi ku mikolo mu kibiina ekyayitibwa Revolutionary Suicide Mechanised Regiment Band ekyali eky'egye ly'eggwanga. Kino kyabaako okukazibwako erinnya "Suicide Sarah". Abafumbo baafumbiriganwa mu Kampala mu 1975 mu mukolo Yasser Arafat mwe yali omuyambi w'omugole omusajja.[1] Omukolo gw'embaga kigambibwa gwamalawo sente ezenkana pawundi 2. Kyolaba kigambibwa nti ye mukyala wa Amin gwe yali asinga okwagala.[2]

Kyolaba yali lubuto era ng'ali mu mukwano ne kitaawe w'omwana we e Masaka bwe yasisinkana Amin. Nga 25 Ogwekumineebiri 1974 yazaala, era Amin ng'asinzira ku ttivi, yalangirira nti omwana azaalidwa wuwe era kitaawenomutuufu yabuzibwawo.

Kyolaba yagenda ne Amin bwe yawalirizibwa okuva mu Uganda mu 1979, nga yasookera Libya n'oluvannyuma n'agenda mu Saudi Arabia, gyebatebenkerera mu Jeddah. Kyolaba yayawukana ku Amin mu 1982. Yagenda e Germany ne Faisal Wangita, mutabani wa Amin, n'aleka abaana be abalala basatu. Bwe yali mu Germany yasaba obubudamo era n'akolanga omwolesi w'obugoye obw'omunda nga tanadda London.

Obulamu mu London

[kyusa | edit source]

Kyolaba yatandikawo ekirabo ky'emmere ekya Krishna's mu Upton Road, West Ham, London okuva mu 1997 okutuusa mu 1998. Ekirabo ky'emmere kyagabanga ebika by'emmere n'enva eby'enjawulo okwali embuzi, omuchomo n'ekigere (ennyama y'ente ey'ekigere nga ssupu muzito). Kyaggalwaawo okumala akabanga mu Ogwekumuni n'ogumu 1997 oluvannyuma lw'ab'eby'obutonde n'eby'obulamu mu kitundu okusanga ebiyenje n'emmese mu kiyungu. Kyolaba yeewala okusibibwa mu kkomera ng'akkiriza omusango mu kkooti ya Snaresbrook Crown Court, gye yafuna ebbanga lya myaka ebiri,omusango gwagalwaawo nga yalina okusasula engasi ya £1,000.[3][4]

Oluvannyuma lw'okufa kwa Amin mu Jeddah mu 2003, Kyolaba yamuyita "omuzira ow'amazima mu Afirika" era "taata ow'ebyewuunyo", n'agattako nti, "Yali muntu wa bulijjo, so ssi kisodde ekyaali kitiika.[1] Yali muntu mukyamufu, omusanyufu enyo era nga wa kisa".[1] Mu kiseera weyafiira, yali addukanya saluuni ye eri mu Tottenham, mu mambuka ga London era ng'abeera okumpi ne Palmers Green.

Kyolaba yafa kkansa nga 11 Ogwomukaaga 2015 mu Royal Free Hospital e London.

Ebyawandiikibwa

[kyusa | edit source]
  1. 1.0 1.1 1.2 Cite error: Invalid <ref> tag; no text was provided for refs named Guardian
  2. Cite error: Invalid <ref> tag; no text was provided for refs named Independent
  3. Cite error: Invalid <ref> tag; no text was provided for refs named M&G
  4. Cite error: Invalid <ref> tag; no text was provided for refs named RedPepper