Sarah Walusimbi

Bisangiddwa ku Wikipedia

Sarah Irene Walusimbi munnamateeka wa Uganda era akola ng'omuwandiisi w'ekitongole ekya National Water and Sewerage Corporation (NWSC).

Nga kino tekinnabaawo, wakati wa 15 Ogwomwenda 2015 ne 14 Ogwomwenda 2018, yaweerezaako ng'omumyuka w'omukulembeze w'akakiiko ka akabakulira ekitongole ky'ekittavvu ekya National Social Security Fund of Uganda.

Ebyafaayo n'okusoma[kyusa | edit source]

Muky Walusimbi yasomera ku Makerere University, yunivasite esingayo obukadde mu Uganda, gye yattikirwa eby'amateeka. Yafuna diguli esooka mu byamateeka (LLB). Omwaka ogwaddirira, yafuna dipulooma mu by'amateeka okuva mu Law Development Centre mu Kampala, ekibuga ekikulu ekya Uganda era ekibuga ekisinga obunene. Oluvannyuma, yafuna diguli ey'okubiri mu Business Administration (MBA), okuva mu Eastern and Southern African Management Institute (ESAMI).

Emirimu[kyusa | edit source]

Walusimbi munnamateeka era munnamateeka wa Kkooti Enkulu mu Uganda era mukungu n'obumanyirivu obusukka mu 30. Yasooka kuweerezako ng'omukulu w'ekitongole kya National Water and Sewerage Corporation (NWSC), ekitongole kya gavumenti ekivunaanyizibwa ku kugaba amazzi ag'okunywa n'okukuŋŋaanya, okulongoosa n'okusaasaanya kazambi mu mazzi mu ggwanga .[1]

Okumala emyezi ng'etaano okuva nga 8 Ogwokutaano 2015, oluvannyuma lw'eyali Sentebe okufa okutuusa nga 29 Ogwomusanvu 2015, omukuumi w'olukale lwe yalondebwa okudda mu kifo kye, yaweereza nga Ssentebe wa NSSF, ng'akola ng'omukulembeze mu kifo ky'omukuumi. Yakiikirira ekibiina kya Federation of Uganda Employers ku kakiiko ka NSSF.

Ebirala ebitunuulirwa[kyusa | edit source]

Sarah Walusimbi mmemba wa Uganda Law society, Institute of Corporate Governance ne Women Lawyers Association of Uganda. Era atuula ku kakiiko ak'abakulira ekitongole ekya Housing Finance Bank, bbanka y'eby'obusuubuzi ekitongole ekya NSSF mwekirina emigabo ebitundu 50.

Laba era[kyusa | edit source]

Ebyawandiikibwa[kyusa | edit source]

  1. Cite error: Invalid <ref> tag; no text was provided for refs named Two

Enkolagana ez'ebweru[kyusa | edit source]