Jump to content

Sembuya Nalumu Mary

Bisangiddwa ku Wikipedia

Mary Nalumu Mukasa Sembuya (yazaalibwa nga 2 Ogusooka 1943 - yafa nga 8 Gwamukaaga 1979) yali musawo mutendeke (Senior Nurse).

Yazaalibwa mu bizinga by'e Koome mu ddisitulikiti ya Mukono, Yuganda nga 2/01/1943. Omugenzi Mary Sembuya yali muwala w'omugenzi Ernest (Erinesiti) Mukasa ne mukyalawe 'omugenzi Norah Mukasa, era yali muzzukulu w'omugenzi Muwambi e Koome. Era yabatizibwa nga musanvu ogusooka 1943 (07/01/43) e Koome, Mukono.

Mu 1959, yamaliriza Junior secondary 3. Ne yeeyongerayo n'asoma eby'okuzaalisa (Midwifery) ku ddwaliro lya Mmengo (Mengo Hospital) okuva mu 1960 okutuuka lwe yatikkirwa mu 1962.

Omugenzi Nalumu Sembuya yali mukyala w'omugenzi Sembuya Christopher Columbus . Baagatibwa nga 12 ogwekkumineebiri 1964 (12/12/1964) ku Lutikko e Nnamirembe (St. Paul's Cathedral, Namirembe) mu Ssaza ly'e Kyaddondo, Buganda.. Era baazaala abaana bataano okuli Rachel Nankya Lubega, Francis Sembuya, Jackie Nansubuga, Dokita Ronald Kizito, ne Rebecca Nalumu Nnawoova Wamono. Omugenzi Nalumu Sembuya yali muzukulu w'Omugenzi Muwambi ow'e Koome.

Omugenzi Nalumu Sembuya yali mukulisitaayo.

Mu myaka gy'enkaaga, okuva mu 1962, Omugenzi Nalumu Mukasa Sembuya yakolanga ku ddwaliro lya Mmengo (Mengo Hospital) okumala emmyaka egyasoba mu munaana. Oluvannyuma yasenguka n'adda mu kibuga Lubaga mu ddivizoni ya Lubaga. Mu myaka gy'ensanvu baddamu ne basenguka ne badda mu maka gaabwe e Kololo era oluvannyuma n'atandika okukola mu ddwaliro ly'e Mulago (Mulago National Referral Hospital).

Omugenzi Nalumu Sembuya yattibwa ababbi ababayingirira mu maka gaabwe e Kololo ekiro kya 7 omwezi ogwoomukaaga 1979 (7/06/1979). Ababbi abo baali bannamagye b'ensi ya Tanzania.

Omugenzi Mary Nalumu Sembuya agalamidde Kikwayi mu ddisitulikiti ya Buikwe. Yazikibwa mu kiggya kya Ssezaalawe, Omugenzi Yafeesi Magulu.

Alice Nnabubi ye yasikira omugenzi Nalumu Sembuya.