Jump to content

Shaban Opolot

Bisangiddwa ku Wikipedia

 Shaban Opolot (1924 – 6 ogwokussatu 2005) yali muserikale wa magye ga Uganda. Yaweereza ng’omuduumizi w’amagye ga Uganda okuva mu 1964 okutuuka mu 1966.

Obulamu bw'obuto

[kyusa | edit source]

Shaban Opolot yazaalibwa mu 1924[1] e Namusi Nakaloke mu Uganda. Yali asobola okwogera ennimi eziwera, nga mw’otwalidde n’Oluganda[2]. Yali Musiraamu era nga asibukka mu Teso[3] .

Omulimu gw’amagye

[kyusa | edit source]

Mu 1945 Opolot yeewandiisa mu ggye lya King's African Rifles e Mbale . Yasindikiddwa mu Infantry Training Centre e Jinja okutendekebwa. Bwe yaggwa, yasindikibwa mu kibinja kya 7th Battalion e Nairobi . Mu unit saw service mu Mauritius. Mu 1949, Opolot yakuzibwa n’aweebwa eddaala lya warrant officer. Nga wayise emyaka esatu yagenda e Bungereza okwongera okutendekebwa mu by’amagye. [4] Mu ggwomunaana 1961, yaweebwa omulimu gw’okubeera Lieutenant.[5]

Oluvanyuma lw’okwegugunga mu 1964, Opolot yalondebwa okuba omuduumizi w’amagye ga Uganda[6] era akulira abajaasi. Opolot yali awagira Mutesa II owa Buganda eyaliko nga Pulezidenti wa Uganda mu kiseera ekyo. Mu gwoluberyrberye ne ne mugwokubiri 1966, Opolot yalagira amagye okutambula okuwagira Mutesa mu kaseera kakazigizigi e Mengo ekayawula Pulezidenti ne Ssaabaminisita Milton Obote [7]. Ebiragiro by’omuduumizi ono byasuulibwa mugulukka kuba amagye gasinga kwesigwa eyari omumyuka we Idi Amin, eyali muna mukaggo ne Obote.[8]

Nga 23 ogwokubiri 1966, Obote yasuumusa Opolot namuwa obwa Chief of Defense Staff, mu butuufu n’amuggya mu buyinza bw’amagye. [9]Oluvannyuma yasibibwa gavumenti ya Obote. [10] Omulimu gwe ogw’amagye we gwaggweera, yali asitudde n’afuuka brigadier . [11]

Obulamu obw’oluvannyuma

[kyusa | edit source]

Obote yagibwa ku bukulembeze mu kyaatuumibwa Ugandan coup d'état". Pulezidenti wa Uganda omuggya, Idi Amin yayimbula Opolot okuva mu kkomera. [12] Okuva mu 1973 okutuuka mu 1975 Opolot yaweereza nga High Commissioner wa Uganda mu Ghana. Bwe yakomawo mu Uganda, yawummula n’agenda mu buvanjuba bw’eggwanga. Opolot yafa nga 6 March 2005 ku myaka 86 oluvannyuma lw'okulwanagana ne kookolo w'enseke [13]okumala ebbanga mu Disitulikiti y'e Mbale[14] . Yaziikiddwa enkeera ku kyalo Kireka mu ggomolola ye Nakaloke mu Disitulikiti y’e Mbale. [15]

Ebijuliziddwa.

[kyusa | edit source]
  1. https://books.google.com/books?id=dNkhAQAAIAAJ
  2. https://www.newvision.co.ug/news/1300412/shaban-opolot-rejected-plans-attack-lubiri-1966
  3. Template:Sfn
  4. https://www.newvision.co.ug/news/1300412/shaban-opolot-rejected-plans-attack-lubiri-1966
  5. Template:Sfn
  6. https://www.newvision.co.ug/news/1300412/shaban-opolot-rejected-plans-attack-lubiri-1966
  7. Template:Sfn
  8. Template:Sfn
  9. Template:Sfn
  10. https://www.monitor.co.ug/uganda/news/national/the-killings-that-turned-amin-into-a-tyrant-1820170
  11. https://www.monitor.co.ug/uganda/news/national/the-killings-that-turned-amin-into-a-tyrant-1820170
  12. https://www.monitor.co.ug/uganda/news/national/the-killings-that-turned-amin-into-a-tyrant-1820170
  13. https://www.newvision.co.ug/news/1300412/shaban-opolot-rejected-plans-attack-lubiri-1966
  14. https://allafrica.com/stories/200503070393.html
  15. https://books.google.com/books?id=dNkhAQAAIAAJ