Stella Namoe Nyomera

Bisangiddwa ku Wikipedia

Stella Namoe Nyomera, amanyiddwa nga Namoe Stella Nyomera yazaalibwa nga 26 Ogwomunaana 1973 mukyala munabyabufuzi era mukugu mumbeera z'abantu. Ali mu kibiina ekya National Resistance Movement ng'omubaka omukyala akiikirira disitulikiti eye Napak mu palamenti ya Uganda ey'omulundi ogw'ekkumi, ekifo ky'abaddemu okuva mu 2006.

Okusoma n'ebyafaayo[kyusa | edit source]

Stella Namoe Nyomera yakola ebigezo bye eby'okuva mu pulayimale mu 1987 okuva mu Kasimeri Primary School. Mu 1991, yamaliriza Uganda Certificate of Education mu Kangole Girls S.S.S era n'aweebwa Uganda Advanced Certificate of education mu ssomero lye limu mu 1994. Mu 1998, yaweebwa ekifo era n'afuna dipulooma mu Project Planning and Management okuva mu Imsat Demtac School of Management, Soroti. Yafuna diguli esooka mu Arts in democracy and development okuva mu Uganda Martyrs University mu 2012.

Ebyafaayo by'omulimu[kyusa | edit source]

Ebyafaayo by'omirimu gwe biragiddwa wammanga:

Obulamu bwe n'obubaka obulala[kyusa | edit source]

Stella mufumbo era akola n'omulimu omulala mu Palamenti ya Uganda ng'akakiiko akakola ku mateeka, enkizo n'okukangavvula. Stella ali mu kibiina ky'abakyala Abakatuliki n'ekitongole ky'ebyenjigiriza ky'abaminsani. Namoe Stella Nyomera yeenyigira mu lukiiko lw'abakiise olw'amateeka, enkizo n'okukangavvula abaalaga okweraliikirira olw'obutaba na bifaananyi bya CCTV ku bikwata ku ebyo ebyaliwo wakati wa munnabyabufuzi wa Mityana Municipality Francis Zaake n'omumyuka w'omukulu w'essomero lya Makerere University Profesa Barnabas Nawangwe. Mu lukuŋŋaana olwo, yagamba nti okuteeka kamera mu bifo by'enkuŋŋaana kye kintu Palamenti kyandikoze amangu ddala nga bwe kisoboka, olw'omuwendo gw'abantu abangi abajja mu nnyumba ne bakozesa ebifo by'olukuŋŋaana eby'enjawulo, ng'ekitongole ky'olukale. Yayongeddeko nti kya bulabe obutabeera na kamera ezo mu bisenge by'akakiiko kubanga kino kireetawo obulabe ku bukuumi bw'abakiise n'abakozi ba palamenti kubanga abantu bangi nnyo bakyalira palamenti buli lunaku.

Ayogerwako ng'abali mu kakaiika aka Uganda Women Parliamentary Association (UWOPA) Round Table Committees on Mental Health.

Stella yeenyigira mu Napak Women demand for responses from MPs on Land ng'abakyala abakungu mu disitulikiti y'e Napak baalagira ababaka baabwe okufulumya obulungi n'okutandika ekifo kyabwe ku tteeka ly'okukyusa ssemateeka 2017 erinoonya okuwa ekitundu 26 mu ssemateeka okuteekawo okugulibwa kw'ettaka okw'obuwaze eri pulojekiti za gavumenti.

Yali mu kibinja kya KCCA mu kukolera awamu, n'abakulembeze ba disitulikiti ya Napak n'abalala, abaali baagala abaana b'oku nguudo baddayo ewaabwe ne baddayo okubeera ne bazadde baabwe e Napak.

Enjawukana endala[kyusa | edit source]

Yayogerwako ng'omu ku bakazi 50 ab'olukiiko lwa Uganda abaayogeranga emirundi egitawera etaano (abaavu) mu myaka ebiri, okusinziira ku kunoonyereza kwa Daily Monitor okw'olukiise lwa palamenti Hansard okukebera ebyo byonna ebyava mu lukiiko lwa palamenti mu kukubaganya ebirowoozo. Okunoonyereza kuno kwateekebwa ku lukungaana olwasooka n'olwokubiri olw'olukiiko olw'omwenda, olwatandika mu Ogwokutaano 2011 okutuuka mu Ogwokutaano 2013.

Stella yayogerwako ng'omu ku babaka b'olukiiko lw'eggwanga, mukyala w'omukulu era minisita w'ensonga z'e Karamoja, Janet Museveni yanyiiga olw'okukubaganya ebirowoozo n'e Sabaminisita Amama Mbabazi, olw'okuyita emabega we okwogera ku bizibu by'ekitundu ky'eggwanga ekisinga obwavu.

Laba era[kyusa | edit source]

Ebyawandiikibwa[kyusa | edit source]

Enkolagana ez'ebweru[kyusa | edit source]