Jump to content

Stella Nansikombi Makubuya

Bisangiddwa ku Wikipedia

Stella Nansikombi Mukasa Makubuya (née Stella Nansikombi), (11 Ogwekkuminogumu1967-5 Ogwomwenda 2018), yali munnamateeka w'eddembe ly'obuntu mu Uganda, era omulwanirizi w'eddembe ly'abakyala eyaweereza nga akulira ebitundu by'omukitundu ekya Africa at the International Center for Research on Women (ICRW).

Obulamu bwe obwasooka n'okusoma

[kyusa | edit source]

Yazaalibwa Dorcus Naluzze Mukasa ne Peter Mukasa, nga November 11, 1967, mu bitundu kya Buganda mu Uganda. Yasomera mu Gayaza Junior School n'oluvannyuma mu Gayaza High School,gye yafuna dipulooma mu High School.

Yaweebwa ekifo mu Makerere University Law School, gye yamaliriza ne diguli esooka mu bya mateeka. Yagenda mu maaso n'afuna dipulooma mu by'amateeka, okuva mu Law Development Centre, mu Kampala, ekibuga ekikulu ekya Uganda. Oluvannyuma yaweebwa ekifo mu Uganda Bar, ng'omulamuzi. Oluvannyuma, yafuna diguli ey'okubiri mu mateeka, okuva mu University of Warwick, mu Bungereza.

Emirimu gye

[kyusa | edit source]

Stella Makubuya yaweereza ng'omulamuzi mu minisitule y'eggwanga ey'ekikula ky'abantu, abakozi n'enkulaakulana. Oluvannyuma yakolako nga akulira, avunaanyizibwa ku ntambuza y'emirimu era eyebuzibwako mu Nordic Consulting Group Uganda.

Yaweereza ng'omuwi w'amagezi eri gavumenti ezitali zimu, ebitongole by'obwannakyewa wamu n'ebitongole ebikola ku nkulaakulana, omuli Nnabagereka Development Foundation. Era yaweerezaako ng'omukulembeze n'omumyuka w'omukuumi ku kakiiko akakulembera aka Akina Mama wa Afrika, International Federation of Women Lawyers (FIDA), ActionAid Uganda ne Open Society Initiative for East Africa (OSIEA).

Stella Makubuya yafumbirwa Apollo Makubuya, munnamateeka munne era Ssentebe wa Equity Bank Uganda Limited. Bombi bazadde b'abaana basatu (a) Athena Mulungi Nakku (b) Angela Kitiibwa Nakimuli ne (c) Andrea Kwagalakwe Nabakka.

Obulwadde n'okufa

[kyusa | edit source]

Nga 5 Ssebutemba 2018, Stella Makubuya yafa mu ssaza lya Virginia, mu United States, gyeyafuna ng'abwafuna obujjanjabi bwa kkansa, eyali owa kawago.

Laba era

[kyusa | edit source]

Ebyawandiikibwa

[kyusa | edit source]

Enkolagana ez'ebweru

[kyusa | edit source]