Jump to content

Susan Nsibirwa

Bisangiddwa ku Wikipedia

Susan Nsibirwa, munayuganda akola obwa kitunzi era omukungu w'ebitongole era aweereza nga akulira ekitongole ekya Nation Media Group, okuva nga 19 Ogw'ekkumin'ebiri 2023. Yadda mu bigere bya Tonny Glencross, eyali aweereza mu kifo ekyo okuva mu 2019.

Obulamu bwe n’Okusoma[kyusa | edit source]

Nsibirwa yazaalibwa Kampala mu Uganda, John ne Mukyala Allen Nsibirwa. Muzzukulu w’eyali Katikkiro wa Buganda Martin Lurther Nsibirwa. Yasomera mu Ssenga Clare Kindergarten Namirembe, Kitante Primary School ya PLE, Nabisunsa Girls Secondary School ya O-level ne Gayaza High School ya A-level . Oluvannyuma yafuna ekifo mu yunivasite y’e Makerere, mu Kampala, ekibuga ekikulu ekya Uganda, gye yatikkirwa diguli esooka mu by'amawulire mu 1987. Diguli ey'okubiri ya nzirukanya y'emirimu gye yafuna okuva mu University of Nicosia, mu Cyprus .

Emirimu[kyusa | edit source]

Nsibirwa yafuna omulimu gwe ogwasooka mu kitebe kya Bufalansa mu Kampala nga Press Attaché okuva mu August 1992 okutuuka mu December 1994. Oluvannyuma yeegatta ku Scanad Uganda ng’akulira emikutu gy’amawulire okuva mu January 1995 okutuuka mu December wa 1997 nga tannagenda mu Saatchi ne Saatchi, gye yakolera nga Regional Account Manager okuva mu January 1999 okutuuka mu March 2002. Oluvannyuma lw'ekyo, yakwata omulimu gw'obwakitunzi/ Brand Manager mu MTN Uganda okuva mu 2002 okutuuka mu 2005.

Nsibirwa yaweereza ng’akulira eby’amaguzi n’okutunda mu kkampuni ya Commercial Microfinance Limited okuva mu July 2005 okutuuka mu October 2006. Nsibirwa yakyuka n’adda mu kitongole kya bbanka n’akwata ekifo ky’akulira eby’ekitunzi mu bbanka ya DFCU okuva mu November 2006 okutuuka mu May 2010. Oluvannyuma yaweereza nga Managing Partner mu Weaver Options okuva mu July 2010 okutuuka mu March 2011.

Yaweereza ng’akulira eby’obwakitunzi n’empuliziganya mu kkampuni ya Vision Group okuva mu Ogw'okubiri 2011 okutuuka mu February 2019. Ekikulu, yakwata omulimu nga Ssentebe w’ekibiina ekigatta bannannyini mikutu gy’amawulire ekya Uganda Media Owners Association (UMOA) okuva mu November 2016 okutuuka mu December 2018. Nsibirwa yafuuka Managing Partner mu Urge Uganda okuva mu Ogw'okusatu 2019 okutuuka mu Ogw'omukaaga 2022. Emabegako, yaliko mu kifo kya akulira enzirukanya y'emirimu mu kkampuni ya Ayiva Consulting Solutions okuva mu June 2022 nga tannakwata kifo ky'obwa akulira entambuza y'emirimu owa Nation Media Group Uganda nga December 22, 2023.

Ebirala ebitunuulirwa[kyusa | edit source]

Mu kiseera kino Nsibirwa akola nga mmemba ku lukiiko olufuzi mu bibiina eby’enjawulo omuli Uganda Marketers Society okuva mu 2020, The Innovation Village okuva mu Ogw'ekkumi 2023, African Center for Media Excellence okuva mu Ogw'okusatu 2021 (Sentebe w'olukiiko), Monitor Publications Ltd okuva mu Ogw'okutaano 2022, ne Greenhill Academy Ltd okuva mu Ogw'omukaga 2021.

Ebijuliziddwa[kyusa | edit source]

Ebiyungo eby’ebweru[kyusa | edit source]