Sylvia Rwabogo
Sylvia Rwabwogo Munnayuganda munna mawulire era munna byabufuzi,eyaweereza nga Akiikirira Abakyala ku Disituliliti y'eKabarole, mu paalamenti ya Uganda eyekkumi (2016–2021).[1]
Obuvo bwe n'okusoma kwe
[kyusa | edit source]Yazaalibwa mu Disitulikiti y'eKabarole District nga 12 Ogw'okutaanao mu 1976. Yasomerako ku masomero g'omuyuganda okutuusa lweyamaliriza siniya ey'okuna mu 1994. Yeetongerayo naafuna Satifikeeti mu Project Planning and Management ku Makerere University, mu 1998. Yeeyongerayo naafuna Satifeeti mu ssomo lya computer science, gyeyafuna mu 2000, era nayo yagifunira mu Makerere University. Mu 2002, yatikkirwa ne Dipulooma ya Diploma mu By'amawulire n'ebyempuliziganya, nga yalikolera mu Uganda Management Institute, mu Kampala. Era alina Diguli gye yakolera ku Mountains of the Moon University, e Fort Portal, Mu kitundu Ky'obuvanjuba bwa Uganda.[1]
Emirimu gye nga tannayingira by'abufuzi
[kyusa | edit source]Rwabogo yatandika okukola mu 1997,nga ofiisa akola ku nsonga z'okukulaakulanya bantu mu bitundu omuli abakyala nabaana. Oluvannyuma yakola nga omutendesi w'abantu mu bitundu mu Kitongole ky'obwa nakyewa ekiyitibwa Africa Media Alliance, nga kyakola okutuusa mu 2000. Okumala omwaka gumu, yakola omuyizi ali mu kugezesebwa mu by'okusaka amawulire mu lupapula lwaNew Vision .[1]
Mu myaka kkumu neesatu egyaddako okutuusa mul 2015, yakola mu bifo ebiwerako ku leediyo ezenjawulo, omwali (a) Voice of Toro (b) Better FM ne (c) Hits FM.[1]
Mu by'obufuzi
[kyusa | edit source]Okutandikira mu 2006, okutuusa emyaka kkumi, Sylvia Rwabogo yali akola nda mmemba ku kakiiko akaali kaddukanya Disitulikiti y'eKabalore, omwali ekifo kya Ssaabawandiisi w'eKabalore okumala emyaka musanvu, naddako okukola nga Kkansala ku Disitulikiti okumala emyaka etaano oluvannyuma nga Omumyuka W'omwogezi ku Disitulikiti okumala emyaka etaano nga olumu emirimu gyasibagananga mu budde.
Mu 2016, yawangula akalulu ku Ky'akiikiriira Abakyala e Kabalore mu kibiina ky'abalonzi wansi wa bendera yaNational Resistance Movement.[2][3]
Mu kuteesa okwali mu paalamenti mu 2017 ku ky'okujjawo ekkomo ku myaka mu Ssemateeka wa Uganda, Rwabogo ye yali omukulu mu kuwakanya kino.[4]
okusoomoozebwa
[kyusa | edit source]Okutandika n'Ogw'ekkuminoogumu gwa 2017, Sylvia Rwabogo yatandika okufuna amasimu n'obubaka obwali butakwatagana okuva ew'omuntu gweyali tamanyi nga mu kusooka MP yalowooza y'omu ku baakakiiko k'abalonzi.[5] Wabula oluvannyuma, amasimu gaafuuka ag'omukwano era ennamba y'omuntu ono naagiggalawo naye omuntu ono yawalawo naakozesa obubaka obuwandiike mu ssimu.[6]
Obubaka buno bwebwasukka, Mukyala Rwabogo ono atalina musajja yawaaba ku Ppoliisi, nebatega akatego nebakwata omuntu ono. Eyakwatibwa ky'amanyika nti yali muvubuka wa myaka 25-year-omuyizi mu kkolegi era naateekebwako omusango gw'okuweereza obubaka obunyiiza. Yasingisibwa omusango era nebamusiba okumala emyaka ebiri.[7]
Obuvunaanyizibwa obulala
[kyusa | edit source]Sylvia Rwabogo mmemba ku kakiiko ka Siriimu n'endwadde endala . Ensangi zino ali ku kakiiko k'ebyobulimi.[1]
Laba na bino
[kyusa | edit source]Ebijuliziddwa
[kyusa | edit source]- ↑ 1.0 1.1 1.2 1.3 1.4 "Archive copy". Archived from the original on 2018-07-09. Retrieved 2023-03-31.
{{cite web}}
: CS1 maint: archived copy as title (link) - ↑ http://www.monitor.co.ug/SpecialReports/Kabarole-expects-a-two-horse-race-between-Businge-a/688342-2537998-r3xfkl/index.html
- ↑ "Archive copy". Archived from the original on 2018-06-12. Retrieved 2023-03-31.
{{cite web}}
: CS1 maint: archived copy as title (link) - ↑ "Archive copy". Archived from the original on 2019-05-03. Retrieved 2023-03-31.
{{cite web}}
: CS1 maint: archived copy as title (link) - ↑ https://www.nation.co.ke/news/Love-struck-student--jailed-for-stalking-MP-Sylvia-Rwabwogo/1056-4651994-aiwj2m/index.html
- ↑ http://www.monitor.co.ug/News/National/Student-prison-female-MP-YMCA-Rwabwoogo-police/688334-4648412-c0dql2z/index.html
- ↑ http://www.monitor.co.ug/News/National/I-didn-t-want-end-like-late-Nebanda--says-MP-Rwabwogo/688334-4652720-of2g94/index.html