Taban Sharifah Aate

Bisangiddwa ku Wikipedia

Taban Sharifa Aate munayuganda munabyabufuzi era omubaka wa Palamenti . Akiikirira abantu ba disitulikiti y'e Koboko ng'omubaka omukyala Mu palamenti ya Uganda ey'ekkumi n'emu . Awandiika mu kibiina kya National Resistance Movement Party (NRM) ekibiina ekikubirizibwa Yoweri Kaguta Museveni, pulezidenti wa Uganda.

Gyenvudde n'Okusoma[kyusa | edit source]

Aate muzzukulu w’eyali pulezidenti wa Uganda Idi Amin Dada era muwala wa Taban Amin eyali atandise okujeemera gavumenti oluvannyuma lwa kitaawe Amin okugobwa mu buyinza kyokka oluvannyuma gavumenti ya Museveni n’emuddiramu.

Wadde nga mu kusooka waliwo omusaayi obutakwatagana wakati wa famile ya Amin n'eya Museveni, Aate yasobola okusomera ku sikaala y'amaka g'obwa pulezidenti eyamuweebwa pulezidenti Museveni era amutunuulira mu kifaananyi ekya taata.

Aate kati mmemba w’ekibiina kya National Resistance Movement kwe yavuganyizaako tikiti eyamutuusa mu Palamenti. Yawangula n’obululu 44,616 ate Ariye Eunice Owinyi n’afuna obululu 4,937.

Muganda we Taban Idi Amin yaliko omubaka w'essaza Kibanda mu disitulikiti eye Kiryandongo ku tikiti ya NRM.

Emirimu[kyusa | edit source]

Mu palamenti ya Uganda, Aate aweereza ku kakiiko akavunaanyizibwa ku by’enjigiriza n’eby'emizannyo.

Ebijuliziddwa[kyusa | edit source]