Template:Featured Article of the day/FAOD-02

Bisangiddwa ku Wikipedia

Okukoma okuzaala Ekiseera omukyala bw’aba nga takyalwala oba nga takyagenda mu nsonga ky’ekiseera omukyala w’abeerera nga takyasobola kuzaala baana. Kino kibaawo oluvannyuma lw’omwaka okuggwaako ng’omukyala tagenze mu nsonga. Kino kibaawo wakati wa myaka 45 kwa 55 era nga kibaawo mu bakyala bokka.[1]

Ekiseera eky’okukoma okulwala nga tekinnabaawo, omukyala atandika okulwala nga bw’abuka mu ennaku ezimu. Omuntu anaateera okutuuka mu kiseera ky’obutalwala afuna okumyansa, okwokyerera mu lubuto, era nga kino kisobola okutwala butikittiki 30 okutuka ku dakiika kkumi. Bwekityo omuntu oyo (anaateera okukoma okuzaala) atuuyanirira wamu n’okukankana.