Template:Featured Article of the day/FAOD-06

Bisangiddwa ku Wikipedia

Specioza Naigaga Wandira Kazibwe, munnayuganda omusawo omutendeke mu byokulongoosa ate era munnabyabufuzi. Omukyala ono era ayitibwa Nnaalongo olw'ensonga nti yazaala abaana abawala nga balongo. Yaliko omumyuka w'omukulembeze w'eggwanga Uganda okuva mu mwaka gwa 1994 okutuuka mu 2003.

Ye mukyala ku lukalu lwa Africa eyasooka okukoonola ekifo ky'obumyuka bw'omukulembeze w'eggwanga mu ggwanga eririna obwetwaze. Mu Gwomunaana, 2013, ssaabawandiisi w'ekitongole kya United Nations, Ban Ki-Moon yalonda Specioza okukulembera kaweefube w'okulwanyisa endwadde ya mukeenenya ku lukalu lwa Africa.