Thereza Piloya
Thereza Piloya-Were (amanyikidwa nga Thereza Piloya ne Terry Piloya) Munnayuganda omusawo w'abaana asinga okukola ennyo ku ndwadde za endocrinology ne HIV/AIDS. Musoma omukulu ku Yunivasitte ye Makerere mu Dipaatimenti y'abaana n'ebyobulamu bwa baana of Paediatrics and Child Health.
Ebimukwatako
[kyusa | edit source]Thereza Piloya yasomesezebwa ku Yunivasitte ye Makerere, eyo jye yafunila diguli ye muby'obusawo n'Essomakirongoosabirwadde, nga tanafuna diguli ye ey'obukugu mu madagala mu batto mu mwaka gwa 2010.[1] Yatandika okukola mu Dipaatimenti y'abaana mu Yunivasitte ye Makerere ey'abaana n'obulamu bwa baana, eyo jyeyakolela nga omusomesa era nga paediatric endocrinologist, era akulembedde Dipaatimenti za Paediatric Endocrinology & Diabetes Unit ne Pulogulaamu ya undergraduate.[2] Yaliko omusomesa ayamabako mu dipaatimenti nga tanalinyisibwa ku ddala ly'omusomesa omukulu okumala ekiseera nga 2021 awedeko.[2][1] Yali omu ku bakozi bomu ddwaliro lye Mulago National Specialised Hospital's Paediatric Endocrinology Clinic lwe baalitandikawo mu mwaka gwa 2013.[3]
Nga omusomi, yakuguka mu ndwadde za endocrinology mu baana ne mu kawuka ka mukenenya mu baana (HIV/AIDS).[1] Yakolako ngaa John E. Fogarty International Center Global Health Fellow, ne puloojekitti ye ey'ebyokunoonyereza ku nkwatagana eri wakati w'ekilwadde ekileetebwa nga vitamiini D mutono nnyo mumubiri n'ekileadde kya mukenenya mu baana abato; abasomesa be baali Sarah Cusick, Richard Idro, ne Sabrina Kitaka.[4] Mu bintu bye byeyafuna mulimu okudabiliz, omwaali n'okugaba emisomo ku by'obujanjabi.[3] Mu Gwomunaana 2021, Piloya yagamba Nile Post ku namba eye'yongedde mubaana abavubuka ekyajja mu kusibilwa ewaka(lockdown) eky'aletebwa ekilwadde kyaCOVID-19 pandemic mu Uganda era n'alagila obujanjabi okuteekebwawo ku lw'abaana abavuvuka.[5]
Mmemba wa Uganda National Academy of Sciences.
Ebijuliziddwa
[kyusa | edit source]- ↑ 1.0 1.1 1.2 https://www2.worldhealthsummit.org/fileadmin/user_upload/5_Regional_Meetings/2021_Kampala/WHS_Abstract_Book_Uganda.pdf Cite error: Invalid
<ref>
tag; name "worldhealthsummit" defined multiple times with different content - ↑ 2.0 2.1 https://som.mak.ac.ug/our_team/thereza-piloya-were-mmed/
- ↑ 3.0 3.1 https://unas.org.ug/unas-fellows/
- ↑ https://fogartyfellows.org/thereza-piloya/
- ↑ https://nilepost.co.ug/2021/08/20/when-your-four-year-old-daughter-gets-her-first-periods