Jump to content

Uganda Cranes

Bisangiddwa ku Wikipedia
(Oleetedwa wano okuva ku Ttiimu ya Uganda Yeggwanga ey'omupiira)
Ekifaanyi kya Maapu ya Uganda ne bendera. Ekinyonyi ekiri mu makati ye Ngaali evaako erinnya lya ttiimu eppaatiike

Ttiimu y'eggwanga ey'omupiira eya Uganda ekiikirira Uganda mu mupiira ogw'ebigere era eddukanyizibwa ekibiina ekifuga omupiira mu ggwanga ekya Federation of Uganda Football Associations (FUFA) Erinnya lyayo eppaatike ye 'The Cranes' nga kiva ku ngaali nga kino kyekinyonyi ekikulu eky'eggwanga Uganda ekirabikira ne mu bbendera ya Uganda[1].[2]

some of the Uganda National team players.
Okuva ku Kkono okudda ku ddyo ye Allan Okello, Usama Arafat, Muhammad Shaban, Kenneth Ssemakula ne Patrick Kakande, abamu ku bazannyi ba ttiimu yeggwanga Uganda ey'omupiira

Ebyafaayo

[kyusa | edit source]

Tiimu ya Uganda ey'omupiira yasooka okuzannya omupiira gwayo ogusooka nga 1 Ogwokutaano 1926 era nga yazannya n'eggwanga ery'okumuliraano erya Kenya. Omuzannyo guno gwagweera mu maliri ga ggoolo 1-1. Kyokka yadde ebyo biri bityo waliiwo ttiimu y'eggwanga Uganda eyaliwo mu mwaka 1922 yadde nga teyali mpadiise mu butongole. [3] Tiimu y'egwwanga era yasooka okwetaba mu mpaka za Africa Cup of Nations (Ekikopo ekiwakanirwa amawanga ku lukalu lw'omuddugavu Africa) mu mwaka 1962 era nga empaka zino zaayindira mu ggwanga lya Ethiopia . Empaka zino zaali za mulundi gwakusatu era nga zeetabwaamu amawanga ana (4) gokka era nga zaali zakusirisizaawo (knock out) Uganda yawangulwa United Arab Republic (Egypt / Misiri) ggoolo 2-1 era newangulwa ne Tunisia (3-0) mu muzannyo gw'okulonda akwata ekifo eky'okusatu.[4]

Uganda yaddamu okukiika mu mpaka za Afrika mu 1974, era nga yali mu kibinja kimu ne Misiri , Zambia, ne Ivory Coast . Uganda yawandukira ku mutendera ogwo oluvannyuma lw'okukubwa Misiri, Zambia yadde yafuna akabonero oluvanyuma lwokugwa amaliri ne Ivory Coast.[5]

Mu mpaka za Afrika eza 1976 Uganda yaddamu okukiika era yateekebwa mu kibinja omuli Ethiopia, Misiri ne Guinea era newanduka nga tewangudde mupiira gwonna nga eteebye goolo bbiri zokka omugatte.[6]

Oluvannyuma lw'okwetaba mu mpaka za Afrika emirundi esatu nga tesenvula, Tiimu ya Uganda eyeetaba mu mpaka z'ezimu mu mwaka 1978 yayolesa omutindo ogwamanyi netuuka ne ku mupiira ogwakamalirizo era guno gwemulundi gwekyasembye okutuuka ewala mu mpaka zino okutuusa leero[7]. [8]Okutuuka wano tiimu ya Uganda yamala kukulembera kibinja 'B' nga muno yalimu ne Congo (yajiwangula ggoolo 3–1) ggoolo za Uganda zateebwa abazannyi okuli Phillip Omondi, Edward Ssemwanga ne Godfrey Kisitu. Uganda mu ngeri yemu yamegga Morocco (ggoolo 3–0) era nga zino zaatebwa Godfrey Kisitu, Phillip Omondi, ne Moses Nsereko. Mu kibinja kino Uganda yameggebwa Tunisia ggoolo 3-1 era bwetyo neesuumuusibwa okugenda ku luzannya oluddirira olwakamalirizo[9]. Ku luddirira olwakamalirizo Uganda yamegga Nigeria (2-1) ggoolo za Abbey Nasur ne Phillip Omondi bwetyo neeyolekera oluzannya olwakamaliririzo (fayinolo) gyeyazannya n'abategesi aba Ghana era nga omuzannyo gwagenda okuwunzikibwa nga Ghana ebala ggoolo2 ate nga Uganda eri ku 0.[10]

Kyatwalira tiimu ya Uganda emyaka 39 okuddamu okukiika mu mpaka za Afirika ez'omupiira ogw'ebigere era nga okudda mu mpaka zino mu mwaka 2017 kyava ku ggoolo ya Faruk Miya gyeyateeba mu z'okusunsulamu nga Uganda ezzannya Comoros mu ddakiika eya 36[11]. Tiimu ya Uganda bweyaddayo mu AFCON wa 2017 eyali mu ggwanga lya Gabon teyasobola kuva mu kibinja 'D' oluvannyuma lw'okumeggebwa Ghana ne Misiri nga emizannyo gyombi Uganda ewangulwa goolo 1-0.Uganda era yalemagana ne Mali ggoolo 1-1 bwetyo netasobola kweyongera ku mutendera guddako.[12]

Uganda era yaddamu okwetaba mu mpaka z'ekikopo kya Afrika mu mwaka 2019 era nga mu kusunsula yali mu kibinja ne Tanzania, Cape Verde ne Lesotho . Era mu mpaka ezategekebwa e Misiri Uganda esobola kwenyumiriza mu buwanguzi bwe yafuna ku Democratic Republic of Congo obwa ggoolo 2-0 kuba buno bwebwali obuwanguzi bwayo obusooka mu mpaka zino oluvanyuma lw'emyaka 41. Mu ngeri yemu amaliri ne Zimbabwe aga goolo 1–1 gaayamba Uganda okukugaanya obubonero 4 obwasobozesa tiimu okweyongerayo ku mutendera ogwa tiimu ekkumi n'omukaaga wadde nga baali bakubiddwa abategesi aba Misiri (2-0). Ku luzannya olwaddako Uganda yammegebwa Senegal (1-0 ) bwetyo n'ewanduka mu mpaka zino.

Abatendesi ba ttiimu ya Uganda

[kyusa | edit source]
  • Alan Rogers (1965–1966)
  • Robert Kiberu (19??–1969)
  • Burkhard Pape (1969–1972)
  • David Otti (1973–1974)
  • Otto Westerhoff (1974–1975)
  • Peter Okee (1976–1981)
  • Jaberi Bidandi Ssali (1982)
  • Peter Okee (1983)
  • George Mukasa (1984–1985)
  • Barnabas Mwesiga (1986–1988)
  • Robert Kiberu (1988–1989)
  • Polly Ouma (1989–1995)
  • Timothy Ayieko (1995–1996)
  • Asuman Lubowa (1996–1999)
  • Paul Hasule (1999)
  • Harrison Okagbue (1999–2001)
  • Paul Hasule (2001–2003)
  • Pedro Pasculli (2003)
  • Leo Adraa (2003–2004)
  • Mike Mutebi (2004)
  • Mohammed Abbas (2004–2006)
  • Csaba László (2006–2008)
  • Bobby Williamson (2008–2013)
  • Milutin Sredojević (2013–2017)
  • Fred Kajoba and Moses Basena (2017)
  • Sébastien Desabre (2017–2019)
  • Abdallah Mubiru (2019)
  • Johnny McKinstry (2019–2021)
  • Abdallah Mubiru (2021)
  • Milutin Sredojević (2021–2023)[13]
  • Morley Beyekwaso (2023)
  • Paul Put (2023-Okutuusa leero)

Ebiwandiko ebijuliziddwa

[kyusa | edit source]
  1. https://paris.mofa.go.ug/uganda/national-symbols
  2. https://www.monitor.co.ug/uganda/lifestyle/travel/unpacking-the-crane-after-which-uganda-cranes-is-named-1833224
  3. https://www.fufa.co.ug/national-teams/uganda-cranes/history/
  4. https://www.cafonline.com/caf-africa-cup-of-nations/news/ethiopia-s-unforgotten-1962-glory/
  5. https://www.flashscore.com/football/africa/africa-cup-of-nations-1974/#/SCftwoNr/table/overall
  6. https://www.flashfootball.com/africa/africa-cup-of-nations-1976/#/vNf1r7aL/table/overall
  7. https://www.fufa.co.ug/national-teams/uganda-cranes/history/#:~:text=The%201978%20edition%20remains%20their,2%2D0%20to%20hosts%20Ghana.&text=In%201956%2C%20Uganda%20Cranes%20were,loss%20on%20wearing%20soccer%20boots.
  8. https://www.monitor.co.ug/uganda/magazines/score/saluting-cranes-heroes-of-78-nations-cup-final-1644580
  9. https://www.newvision.co.ug/news/1510675/uganda-past-afcon-appearances
  10. https://www.flashfootball.com/africa/africa-cup-of-nations-1978/#/4hIETlpF/table/overall
  11. https://www.newvision.co.ug/new_vision/news/1434481/breaking-news-uganda-qualifies-afcon-2017
  12. https://www.newvision.co.ug/news/1444544/afcon-live-buildup-egypt-uganda
  13. https://www.fufa.co.ug/national-teams/uganda-cranes/history/