Jump to content

Uganda Business Facilitation Centre

Bisangiddwa ku Wikipedia
Uganda Business Facilitation Centre is located in Kampala

 [1]

Uganda Business Facilitation Centre (UBFC) kizimbe kya ofiisi za gavumenti mu kibuga ekya Uganda ekikulu Kampala.[1] Ekifo kino kigendereddwamu okubeeramu ofiisi z’ebitongole ebikulu ebikwata ku bizinensi, omuli (a) Uganda Registration Services Bureau, (b) Uganda Investment Authority ne (c) Capital Markets Authority . Ekigendererwa ky’okusuza ebitongole bino n’ebirala ebya gavumenti wansi w’akasolya akamu kwe kwongera ku bulung’amu bwabyo n’okutumbula enkola y’obuweereza eri abasuubuzi. Mu nkomerero, ebikolwa bino bisuubirwa okutumbula ensengeka ya Uganda mu bwangu bw’okukola bizinensi.[2]

Ekifo kino kisangibwa ku 1 Baskerville Avenue, mu kitundu kye Kololo, mu Kampala Central Division, mu kibuga ekikulu ekya Uganda Kampala, nga 4 kilometres (2 mi), ku luguudo oluli mu bukiika kkono obw’obuvanjuba bw’ekibuga wakati.[3] Ensengeka z'ebitundu by'amasekkati: 0°19'44.0"N, 32°36'04.0"E (Latitude:0.328889; Longitude:32.601111).[4]

UBFC kifo kya gavumenti, nga okuzimbibwa kwakyo kyassibwamu ensimbi za gavumenti ya Uganda, okuva mu Banka y’ensi yonna okusuza ebitongole bya gavumenti ebivunaanyizibwa ku kuwandiisa n’okuwa layisinsi za bizinensi, mu kaweefube w’okwanguyiza okuwandiisa n’okutandikawo bizinensi, okuva mu wiiki ssatu eziriwo kati essaawa nnya ezisuubirwa.[1][2]

Ekifo kino kigenda kubeeramu ebitongole bya gavumenti ebikulu ebiwagira okuwandiisa bizinensi n’okuwa layisinsi. Ng’oggyeeko ebitongole ebisatu ebikulembera, ebitongole bino ebirala byakulabirira ofiisi mu kifo kino, omuli bino wammanga: (a) Uganda National Social Security Fund, (b) Uganda Export Promotion Board (c) Kampala Capital City Authority ne (e) Minisitule ya Gavumenti ez'ebiundu ( Uganda Ministry of Local Government.[1][2] Ebirala mulimu (f)Ekitongole ekivunanyizibwa ku musolo mu Uganda (Uganda Revenue Authority), (g) Ekitongole ekivunaanyizibwa ku kuwandiisa abantu mu Uganda (National Identification and Registration Authority) ne (h) Minisitule y'ettaka, amayumba n'enkulaakulana y'ebibuga (Uganda Ministry of Lands, Housing and Urban Development).[5]

Okuzimba

[kyusa | edit source]

Okuzimba kwatandika mu Gwoluberyeberye 2018 era nga kusuubirwa okumala emyezi 18. Ekitongole kya China National Aero Technology International Engineering Corporation kye kikulembeddemu okukola kontulakiti. Mu February (ogwokubiri) 2021, olunaku lw'okumaliriza lwaloopebwa nga May (ogwokutaano) 2021. [6]

Ekitongole kya Uganda Registration Services Bureau kye kitongole kya gavumenti ekyasooka okusenguka ne kigenda mu kizimbe ekyali kyakaggwa okuzimbibwa, okutandika nga 20 September (ogwomwenda) 2022. Ekitongole kya Uganda Investment Authority ne Capital Markets Authority bisuubirwa okuddirira nga bisengula ofiisi zabyo enkulu okuziteeka ku kizimbe kino ku nkomerero ya 2022. Ebitongole bya gavumenti ebisigaddewo nabyo byakuggulawo ofiisi z’amatabi ezikolela mu kifo kino.[7]

Laba ne

[kyusa | edit source]

Ebiwandiiko ebikozesebwa

[kyusa | edit source]
  1. 1.0 1.1 1.2 "Archive copy". Archived from the original on 2018-11-03. Retrieved 2022-12-05.{{cite web}}: CS1 maint: archived copy as title (link)
  2. 2.0 2.1 2.2 http://www.monitor.co.ug/Business/Business-centre-save-govt-Shs3-4-billion-rent/688322-4287910-sedy7v/index.html
  3. https://www.google.com/maps/dir/Central+Bank+of+Uganda,+37%2F45,+Plot+17%2F19+Kampala+Road,+Kampala/Site+for+Uganda+Business+Facilitation+Center+(UBFC),+Kampala/@0.3270673,32.5621373,13.25z/data=!4m14!4m13!1m5!1m1!1s0x177dbc80f7f01c39:0x6b9adae1ecae2406!2m2!1d32.5803607!2d0.3137857!1m5!1m1!1s0x177dbb46fd18e60f:0xbac6389deb4ed0a!2m2!1d32.6012625!2d0.3289177!3e0
  4. https://www.google.com/maps/place/0%C2%B019'44.0%22N+32%C2%B036'04.0%22E/@0.3288889,32.6011111,196m/data=!3m2!1e3!4b1!4m5!3m4!1s0x0:0x0!8m2!3d0.3288889!4d32.6011111
  5. http://ursb.go.ug/ursb-contracts-chinese-firm-citac-build-one-stop-centre/
  6. https://www.monitor.co.ug/uganda/business/finance/ursb-wants-fast-completion-of-business-centre-to-save-shs1b-on-rent--3294944
  7. https://www.pmldaily.com/news/2022/09/massive-ursb-relocates-to-new-own-magnificent-home-in-kololo.html

Ebijuliziddwamu eby’ebweru wa wikipediya

[kyusa | edit source]