Kololo
Kololo | |
---|---|
Eggwanga | Uganda |
Ekitundu | Buganda |
Disitulikiti | Kampala |
Divisoni / Egombolola | Kampala Central |
Elevation | 1,311 m (4,301 ft) |
Saawa | EAT (UTC+3) |
Kololo kamu ku busozi obusangibwa mu kibuga kya Uganda ekikulu Kampala . Erinnya lino era liyitibwa n'ekitundu omwazimbibwa amayumba agasulwamu omusulwa abakungu nabagagga b'omukampala. [1]
Endagiriro
[kyusa | edit source]Kololo eri kumpi n’amasekkati ga Kampala, era esalagana n'ebitundu okuli Naguru mu buvanjuba, Bukoto mu mambuka, Mulago , Makerere , Nakasero, ne Kibuli. Kololo esangibwa mu masekatti ga Kampala mu ggombolola eyitibwa Kampala Central Division . Ensengeka za Kololo ku maapu ziri 0°19'46.0"N, 32°35'41.0"E (Obusimba:0.329445; Obukiika:32.594725). [2] Akasozi kano Kololo kagulumivu ddala era nga kawerako fuuti 4,302 okuva ku museetwe okutuuka ku ntikko yako. [3]
Ebikwata ku kololo
[kyusa | edit source]Erinnya Kololo lyatandika okuyitibwa akasozi kano mu kyasa ekye 19 era Kigambibwa nti kino kyava ku Omu ku baami abasibuka eyo Acholi mu mambuka ga Uganda. Omwami ono yali ayitibwa Awich era ye nga ali wamu ne Omukama Kabalega owa Bunyoro baawakanya nnyo obufuzi bwamatwale Abangereza bwebali bafugiramu Uganda. Ekikolwa kye tekyasanyusa Bangeza era bwatyo Awich yakwatibwa n’aleetebwa mu Kampala n’asibibwa waggulu ku lusozi Kololo. Olw'okuba nga mu budde obwo Kololo kyali kibira oba kisiko, kigambibwa nti Awich yatya era nakaaba nga bwalaajana mu lulimi olu Luo Olwogerebwa mu Acholi nti “An atye kany kololo”, ekivuunulwa nti “Ndi wano nzekka.” Awich yali yeemulugunya olw’okuba yali alekeddwa yekka mu kibira ate nga ali mu nsi etali yabwe. Okulajana kuno kwekwavamu okutandika okuyita ekitundu kino kololo paka ne leero [4]
Okuviira ddala eyo mu myaka gya 1950, nga Uganda tennafuna Mefuga, Kololo ebadde kifo ekimanyiddwa okusenza abakngu n'abagagga. Kololo era esangibwayo ebitebe byamawanga amalala binji wamu n'amaka gabakungu abakola ku bitebe byamawanga amalala mu Uganda. [5]
Mu myaka gya 2000, wooteeri, bbanka, amalwaliro, n’ebitongole ebirala nabyo byatandika okweyunira olusozi luno okusobola okutuusa obuweereza ku batuuze naddala abakungu abawangalira ku lusozi luno basobole okuwona ensindikagano nakayogaano mu kibuga wakati akaali katandise okwefuga olusozi Nakasero .
Oluvannyuma lw'ebifo eby’obusuubuzi nga amabaala, n'ebirabo by'emmere okutandika okusenga ku lusozi Kololo akasiriikiro akabanga ku lusozi kololo kaatandika mpola okugenda nga kakendeera olwabadigize okusula nga badigida n'okuleekaanya endongo. Kino era kyayongera n'okuleeta akalippagano k'ebidduka mu kifo kino [6] Emisango minji gizze giwaabwa mu kooti ezenjawulo nga banna Kololo bawaabira bannanyini bifo ebisanyukirwamu olwokubaleekanyiza nga ebidongo ekintu ekibamalako eddembe ly'okuwummula . [7] Ogumu ku misango gino gwatwalibwa mu kooti omukyala Winnie Byanyima.[8] [9]
Ebimu ku bifo ebisangibwa e Kololo
[kyusa | edit source]- Ekizimbe ki Acacia Mall
- 7 Hills International School[10]
- Essomero Arya Sumaj School
- Casino Simba-Kifo awazannyirwa zzaala ow'ekikungu
- ekibangirizi ki Centenary Park
- Wooteeri ya Africana
- Eddwaaliro lya Dr. Stockley Hospital
- Essomero East Kololo Primary School
- Ekitebe kya Algeria mu Uganda
- Ekitebe kya People's Republic of China
- Embassy kyeggwanga lya Congo
- Ekitebe kya Misiri
- Ekitebe kya Girimaani
- Ekitebe kya Sweden
- Ekitebe kya Norway
- Ekitebe kya Libya
- Ekitebe kya North Korea
- Ekitebe kya Russia
- Ekitebe kya Rwanda
- Ekitebe kya Saudi Arabia
- Ekitebe kya South Afrika
- Ekitebe kyeggwanga lya Kenya
- Poliisi ya Jinja Road
- Limbo eyitibwa Kampala Christian Cemetery
- Ekisaawe kya Golf ekya Kampala
- Eddwaliro li Kampala hospital
- Akasaawe kennyonyi e Kololo
- Essomero lya Kitante Hill Secondary School
- Essomero li Kololo High
- Essomero li Kololo SSS
- Eddwaliro li Kololo Hospital
- Ekibiina kya bannakyewa abalwanyisa Nalubiri (Sickle Cell) .
- Essomero li Lincoln International School
- Eddwaaliro lya Medipal International Hospital [11]
- Amayumba agasulwamu aga Speke Appartments
- Uganda Management Insititute
- Ekifo awakuumirwa ebyedda ki Uganda National Museum
- Essomero erisomesa olulimi Olufaransa.
Ebifaananyi
[kyusa | edit source]Laba ne
[kyusa | edit source]Ebiwandiiko ebijuliziddwa
[kyusa | edit source]- ↑ "Archive copy". Archived from the original on 2024-09-17. Retrieved 2024-09-17.
{{cite web}}
: CS1 maint: archived copy as title (link) - ↑ Template:Google mapshttps://www.google.com/maps/place/Kololo,+Kampala,+Uganda/@0.3291091,32.5788316,14z/data=!3m1!4b1!4m5!3m4!1s0x177dbba2a2d9eead:0x698c319a2299b891!8m2!3d0.327297!4d32.5949199
- ↑ "Archive copy". Archived from the original on 2023-10-21. Retrieved 2024-09-17.
{{cite web}}
: CS1 maint: archived copy as title (link) - ↑ http://www.monitor.co.ug/artsculture/Reviews/Kololo-Hill-got-its-name-from-an-Acholi-chief/691232-1725100-67ie3m/index.html
- ↑ https://archive.today/20140618023653/http://www.newvision.co.ug/D/8/217/662250
- ↑ https://www.theeastafrican.co.ke/oped/comment/History-of-Uganda-Kololo-Hill/434750-5025066-x82y4e/index.html
- ↑ https://www.monitor.co.ug/News/National/Bars-keep-us-awake-all-night--Kololo-residents-tell-court/688334-4993510-125bhdl/index.html
- ↑ https://chimpreports.com/winnie-byanyima-sues-7-kololo-bars-over-noise-pollution/
- ↑ https://softpower.ug/7-bars-in-kololo-sued-by-winnie-byanyima-over-noise/
- ↑ 7 Hills International School (2017). "About 7 Hills International School". Kololo, Kampala: 7 Hills International School. Retrieved 7 April 2019.
- ↑ https://www.independent.co.ug/health-ministry-cant-control-covid-charges-in-private-hospitals/