Jump to content

William Byaruhanga

Bisangiddwa ku Wikipedia

 

William Byaruhanga Munnamateeka Omunnayuganda era musuubuzi. Yakola nga Ssaabawolereza wa Uganda mu kabineeti ya Uganda . Yalondebwa ku kifo ekyo nga 6 Ogwomukaaga 2016, ng’adda mu bigere bya Fred Ruhindi, eyasulibwa okuva mu kabineeti. [1] Ye kennyini yasikizibwa Kiryowa Kiwanuka mu Gwomukaaga 5, mu 2021.

Obuvo n’obuyigirize

[kyusa | kolera mu edit source]

William Byaruhanga yatikkirwa okuva ku Makerere University, ne Diguli mu By'amateeka. Oluvannyuma yagenda kutendekero gyebabangulira banamateeka, n'atikirwa ne Dipulooma mu by'okwenyigira mu mateeka. Yatwalibwa mu kibiina ekigata banamateeka mu Uganda mu 1988. [2]

Nga tanalonddebwa mukifo ky'alimu kati, Byaruhanga yaliko eyali akulira kampuni ekungaanya banamateeka ng'eyitibwa Kasirye, Byaruhanga and Company Advocates, kampuni ya banamateeka ey’obwannannyini mu Kampala. [3] Nga 6 Ogwomukaaga mu 2016, yalondebwa okuba Ssaabawolereza wa Uganda. [4]

Obuvunaanyizibwa obulala

[kyusa | kolera mu edit source]

William Byaruhanga aweereza ku lukiiko olufuzi olwa kampuni ya Centum Investments, okuva mu Gwekumi mu 2016. [5]

Ebijuliziddwaamu

[kyusa | kolera mu edit source]
  1. Uganda State House (6 June 2016). "Museveni's new cabinet list at 6 June 2016" (PDF). Archived from the original (PDF) on 7 October 2016. Retrieved 7 June 2016.
  2. UCC (7 June 2016). "Uganda Communications Commission: Board Members". Uganda Communications Commission (UCC). Archived from the original on 12 May 2016. Retrieved 7 June 2016.
  3. KBCA (7 June 2016). "Principal Partner William Byaruhanga". Kasirye, Byaruhanga and Company Advocates (KBCA). Retrieved 7 June 2016.
  4. Uganda State House (6 June 2016). "Uganda's New Cabinet As at 6 June 2016". Retrieved 7 June 2016 via Scribd.
  5. Juma, Victor (12 October 2016). "Kaberuka among new faces on Centum board". Retrieved 12 October 2016.