Abel Dhaira
Abel Dhaira (9 Ogw'omwenda 1987 – 27 Ogw'okusatu 2016) yali munna Uganda omuzannyi w'omupiira eyazannya nekumutendera ogwensi yonna mu mupiira ogw'ensimbi. Dhaira era yazannyira ttiimu y'egwanga emirundi 13 [1]
Kiraabu zeyazannyira
[kyusa | edit source]Dhaira yazannya omupiira mu kiraabu ezenjawulo mu mawanga ag'enjawulo omuli Uganda, Congo wamu ne Iceland. Ku kiraabu zino kuliko Express, URA, [2] oluvannyuma yasala ensalo nava mu Uganda ne yegatta ku AS Vita mu gwanga lya Democratic Republic of Congo mu gwekumi n'ebiri omwaka 2009 ku doola za Amerika 22,000 [3] ) ono era yaliko ne ku lukalu lwa Bulaaya e Iceland mu kiraabu ya ÍBV.[4] [5] Ono okwegatta ku kiraabu eno yava mu kiraabu ya Simba SC e Tanzania ku nkomerero y'omwaka 2013. [6]
Omukululo ku tiimu y'eggwanga
[kyusa | edit source]Dhaira yazannya omuzannyo gwe ogwasooka ku tiimu y'eggwanga Uganda mu mwaka 2009. [7] Ono nga azannyira tiimu y'eggwanga yawangula ebikopo bya CECAFA bisatu mu 2009, 2011 ne 2012. Mu mpaka za CECAFA Cup ez'omwaka 2012 yafuna obuvune obwamutwaza mu ddwaliro oluvannyuma lwokutomeregana n'omuzannyi wa tiimu Y'eggwanga lya Kenya Ramah Salim Uganda omupiira guno yaguwangula ggoolo 1:0.[8]
Enfa ye
[kyusa | edit source]Mu 2015, Dhaira yakwatibwa kookolo w’olubuto era n’alongoosebwa mu Uganda mu gwekumi n'ebiri mu mwaka gwe gumu ono yaddayo e Iceland ku ntandikwa ya 2016 okwongera okufuna obujanjabi.Wabula kookolo yali asaasaanidde mu mubiri gwe gwonna era nga 27 March 2016, yafa obulwadde buno mu ddwaaliro lya The National University Hospital of Iceland, ku myaka 28. [9]
Obuwanguzi bwe
[kyusa | edit source]Uganda
- Ekikopo kya CECAFA : 2009, 2011, 2012
Ebijuliziddwa
[kyusa | edit source]- ↑ https://www.transfermarkt.com/abel-dhaira/leistungsdaten/spieler/179439
- ↑ Dhaira opts for URA FC - NewVision
- ↑ Uganda: URA to Pocket Sh42 Million for Dhaira - AllAfrica
- ↑ https://www.national-football-teams.com/player/27911/Abbey_Dhaira.html
- ↑ https://int.soccerway.com/players/abel-dhaira/187708/
- ↑ Dhaira Clarifies His Word Over Simba Exit - Red Pepper
- ↑ https://www.national-football-teams.com/player/27911/Abbey_Dhaira.html
- ↑ https://kawowo.com/2012/11/25/abel-dhaira-ruled-out-of-cecafa/
- ↑ https://kawowo.com/2016/03/08/doctors-confirm-uganda-cranes-goalie-dhaira-has-abdominal-cancer/