Ekibiina kyatandikibwawo ekibinja ky'abayimbi munaana nga bakulemberwa Moses Matovu, eyagenda mu maaso n'okukulembera ekibiina mpaka ku kijaguzo eky'emyaka 38. Nga bayimbiran'abawagizi baabwe e Uganda, ekibiina kigeda mu Bulaaya ne America okuyimbira Bannayuganda abali ebweru w'eggwanga. Abadde ayimbira mu kibiina okuva olwo era ye mukulembeze waakyo, Ogwokubiri 2015 we gutuukidde. Abantu omunaana abaatandikawo ekibiina kwaliko:
Mu Gwolubereberye 2015, Afrigo Band yatandika okuzannya mu Club Silk, mu Kampala's Industrial area, buli Lwakutaano akawungeezi. Newankubadde ng'ekibiina kisikiriza abazannyi abato, okujja kwa Afrigo kusuubirwa okusoomoola abantu abakulu abasussa emyaka 40 mu Club Silk. Mu Gwekkuminoogumu 2015, ekibiina kyakuza emyaka 40 gye kimaze nga kiyimba mu Hotel Africana, mu Kampala.