Agather Atuhaire
| Ekikula | mukyala |
|---|---|
| Ensi y’obutuuze | Yuganda |
| Gy'azaalwa | Sheema |
| Ennimi z'amanyi | Lungereza, Luganda, Lunyakitala |
| Omulimu | human rights defender, lawyer, journalist |
| Gyeyasomera | Ssettendekero wa Makerere |
| Awaadi z'afunye | European Union Human Rights Defenders Award, International Women of Courage Award |
Agather Atuhaire (yazaalibwa c.1988) Munnayuganda nga munnamateeka, omulwanirizi w'eddembe ly'obuntu era munnamawulire ow'obwanakyewa. Yayayatuukiriza enguzi n'efuggabbi ebyamuleeta okumanyibwa Ambassador wa EU ne US Secretary of State.
Obuto bwe n'okusoma
[kyusa | kolera mu edit source]Atuhaire yazaalibwa mu Disitulikiti Ye Sheema nga mu 1988. Yamaliriza Siniya ng'afunye sikaala ku ssomero lya Alliance School Mbarara. Obutaba na sente ky'ategeeza nti teyalina busobozi kutuukiriza kirooto kye eky'okusoma amateeka olwo n'asomamu eby'amawulire ku Yunivasite y'e Makerere.[1]
Emirimu gye
[kyusa | kolera mu edit source]Mu Gwomukaaga 2022 ba DefendDefenders bamufuula omulwanirizi w'eddembe ly'obuntu ow'omwezi.[1]

Mu mwaka gwa 2023 yaweebwa engule y'omulwanirizi w'eddembe ly'obuntu ow'omwaka gwa 2022 okuva eri Ambassador wa EU mu Uganda, Jan Sadek. Saduk yali agoberedde emirimu gye ku ttendekero ly'amateeka li Law Development Center eyo gy'eyazuulira nti abayizi baagwanga ebigezo nga tewaliyo gy'owaaba oba okunoonyereza. Abadde n'obukuubagano ne bannabyabufuzi nga Anita Among ne Mathias Mpuuga n'ekitongole kya kazambi.[2] Atuhaire yategeeza nti Among n'omumyuka we bombi baali baguze emmotoka ez'ebeeyi nga bakoseza sente za Gavumenti.[3] Emmotoka zaali tezeetagisa kubanga bombi baali balina emmotoka z'okwejalabya. Okusaba okugula emmotoka zino bwe kwalema, baatekawo abantu abalala abawulize mu bifo ebyo. Okwatuukiriza kw'obuli bwenguzi buno okw'akolebwa Atuhaire kw'amuletera okuyitibwa annyonyere. Yatiisibwatiisibwa abaali bamuloopye lwe bakizuula nti yali tasobola kusibibwa kubanga buli kye yali akoze kyali mu mateeka.[1]
Mu Gwokusatu 2024 yali mu Washington eyo gy'eyasiimibwa nga International Woman of Courage ekitongole kya US State. ng'akikulembeddwamu U.S. Secretary of State Antony Blinken ne mukyala wa Pulezidenti Jill Biden yafuna engule eno nga 4 Ogwokusatu 2024.[4] Nga emikolo gya IWOC giwedde, abawanguzi b'engule bayitibwa okw'etaba mu pulogulaamu ya State department eya International Visitor Leadership Program eyo gy'ebesisinkanira n'abo abaagala emirimu gy'abwe.[5]
Laba ne
[kyusa | kolera mu edit source]Ebijuliziddwa
[kyusa | kolera mu edit source]- 1 2 3 "Human Rights Defender of the month: Agather Atuhaire - DefendDefenders". 2022-06-30. Retrieved 2024-03-10.
- ↑ "Agather Atuhaire bags EU's Human Rights Defender's Award". The Independent Uganda. 2023-05-04. Retrieved 2024-03-10.
- ↑ "Journalist Agather Atuhaire Is EU Human Rights Defenders Award Winner - The Pearl Times". 2023-05-05. Retrieved 2024-03-10.
- ↑ https://allafrica.com/stories/202403060048.html
- ↑ "2024 International Women of Courage Award Recipients Announced". United States Department of State. Retrieved 2024-03-11.