Agnes Akiror
Agnes Akiror Egunyu (yazaalibwa nga 28 ogwomusanvu 1968), amanyikiddwa nga Agnes Akiror, munnabyabufuzi wa Uganda. Ye minisita omubeezi akola ku nsonga z'e Teso ku lukiiko lw'eggwanga. Yalondebwa mu kifo ekyo nga 6 ogwomukaaga 2016. Nga tannatuuka ku ekyo, okuva nga 27 Ogwokutaano 2011 okutuuka nga 6 Ogwomukaaga, yali akola nga minisita omubeezi Ow'ebyobulambuzi. Yadda mu bigere bya Serapio Rukundo, eyaggyibwa ku lukiiko. Mu kukyusa obukulembeze okwakolebwa nga 1 Ogwokusatu 2015, yasigaza ekifo kye kye yalina. Olw'okubeera minisita ku lukiiko lw'eggwanga, ye mmemba wa Paliyamenti eyeebuuzibwako ensonga ezitali zimu.
Ebyafaayo n'obuyigirize
[kyusa | edit source]Akiror yazaalibwa mu disitulikiti y'e Kumi nga 28 ogwomusanvu 1968. Oluvannyuma lw'okusoma pulayimale mu ssomero ly'ekitundu, yagenda ku Ngora High School mu Ngora, gye yamalira mu 1984. Mu siniya eyawaggulu, yagenda ku Mende Kalema Memorial Senior Secondary School erisangibwa mu disitulikiti y'e Wakiso gye yamalirako emisomo gye mu1988. Yasomera ku ttendekero ly'ensi yonna erisomesa eby'obusuubuzi n'amawulire gye yamalira mu 2000 ne Dipulooma mu byembalirira. Yagenda ku Uganda Martyrs University okuva mu 2006 okutuuka mu 2010 gye yatikkirwa ddiguli mu Demokulaasiya n'ebyenkulaakulana. Era alina ebbaluwa mu nkulaakulanya y'abantu gye yafuna okuva mu ttendekero lya Negev e Yisilayiri mu 2008.
Omulimu
[kyusa | edit source]Okuva mu 1988 okutuuka mu 1989 yaweereza nga omumyuka w'omubalirizi w'ebitabo mu kibiina kya Oya Rural Development Association. Okuva mu 2000 okutuuka mu 2005, yali akulira ekitongole ekyawano ekitali kya gavumenti ekya Eyalama. Yakolako nga mmemba wa Paliyamenti akiikirira abakyala b'e disitulikiti y'e Kumi okuva mu kibiina ky'ebyobufuzi ekya Forum for Democratic Change. Wabula mu 2010 yava mu kibiina kya FDC era bwatyo n'afiirwa ekifo kye mu Paliyamenti. Nga 6 Ogwomukaaga yafuulibwa minisita omubeezi akola ku nsonga z'e Teso.
Ebirala eby'okufaako
[kyusa | edit source]Agnes Akiror si mufumbo. Akkiririza mu ddiini ey'Obukatuliki.
Laba nabino
[kyusa | edit source]- Kabinenti ya Uganda
- Paliyamenti ya Uganda
- Gavumenti ya Uganda
- Kumi
- Olukalala lwa bamemba ba Paliyamenti ya Uganda ey'ekkumi