Alex Onzima

Bisangiddwa ku Wikipedia

Alex Aadroa Onzima munnayuganda era munnabyabuduzi. Ye yali minisita omubeezi mu woofiisi w'omumyuka wa pulezidenti mu kabineeti ya Uganda. Yalondebwa ku kifo kino mu mwaka nga 6 Ogwomukaaga 2016.[1] Gwe yali tannalondebwa mu kifo ekyo mu mwaka okuva nga 27 Ogwokutaano 2011 okutuuka nga 6 Ogwomukaaga 2016, yaweerezaako nga minisita wa gavumenti ezeebitundu.[2] Yadda mu bigere bya Perez Ahabwe. Onzima era yaliko omubaka wa paalamenti akiikirira essaza ly'e Maracha, mu Maracha distulikiti mu paalamenti ya Uganda eyoomwenda okuva mu mwaka (2011 okutuuka mu 2016).[3]

Obuvo n'okusoma[kyusa | edit source]

Onzima yazaalibwa mu disitulikiti y'e Maracha , mu kitundu kya West Nile , mu bukiikakkono bwa Uganda nga 26 Ogwomukaaga 1952. Yasomera mu masomero g'omu kitundu ekyo okutuuka lwe yagenda ku ssettendekero ya Makerere University, gye yasomera ebintu ebyekuusa ku by'obulamu bw'amannyo okuva mu mwaka gwa 2002 okutuusa lwe yatikkirwa mu mwaka gwa 2005 ng'akoze diguli ya ssaayansi (Bachelor of Science).[4]

Ebyafaayo bye mu kukola[kyusa | edit source]

Onzima akiikiridde essaza ly'e Maracha mu paalamenti ya Uganda okuva mu mwaka gwa 1996. Okuva mu mwaka gwa 1996 okutuuka mu mwaka gwa 2004, yali mu paalamenti mu kiseera nga tewaliiwo nfuga ya bibiina bingi. Mu mwaka gwa 2004, ekibiina ky'ebyobufuzi ekya Forum for Democratic Change (FDC) bwe kyatondebwawo, yakyegattako. Mu 2010, yava mu kibiina kya FDC mu butongole era ne yeegatta ku kibiina ekiri mu buyinza ekya National Resistance Movement.[5][6] Wabula, mu kulonda kw'ababaka ba paalamenti okw'omwaka gwa 2011, waliwo ebyawandiikibwa mu mawulire nti yali ayagala kwesimbawo ku bwannamunigina.[7] Mu kulonda kwa baminisita okwakolebwa oluvannyuma lw'okulonda kwa 2011 okwa bonna,[8] Onzima yalondebwa nga minisita omubeezi owa gavumenti ez'ebitundu. Olukalala lwa baminisita lwafulumizibwa nga 6 Ogwomukaaga 2016, yalondebwa nga minisita omubeezi mu woofiisi y'omumyuka wa Pulezidenti.[9]

Laba ne[kyusa | edit source]

  • Kabineeti ya Uganda
  • Paalamenti ya Uganda
  • West Nile sub-region
  • Olukalala lw'ebibiina by'ebyobufuzi mu Uganda

References[kyusa | edit source]

  1. https://web.archive.org/web/20161007121926/http://www.monitor.co.ug/blob/view/-/3235304/data/1345443/-/3o16hn/-/Museveni%27s+cabinet.pdf
  2. https://web.archive.org/web/20141211124001/http://www.newvision.co.ug/D/8/12/755941
  3. "Archive copy". Archived from the original on 2016-03-04. Retrieved 2022-12-12.{{cite web}}: CS1 maint: archived copy as title (link)
  4. "Archive copy". Archived from the original on 2016-03-04. Retrieved 2022-12-12.{{cite web}}: CS1 maint: archived copy as title (link)
  5. "Archive copy". Archived from the original on 2016-03-04. Retrieved 2022-12-12.{{cite web}}: CS1 maint: archived copy as title (link)
  6. https://web.archive.org/web/20150217171604/http://www.newvision.co.ug/PA/8/13/724177
  7. https://web.archive.org/web/20150217174809/http://www.newvision.co.ug/D/8/21/730810
  8. http://ugandaradionetwork.com/a/story.php?s=34087
  9. https://www.scribd.com/doc/314964607/New-Cabinet