Alice Kaboyo

Bisangiddwa ku Wikipedia

Alice Kaboyo munnabyabufuzi mu Uganda. Ye minisita w'eggwanga mu yafeesi ya Ssaabaminisita ku nsonga za Luweero Triangle n'ekitundu kya Rwenzori. Yaliko omuyambi mu maka g'obwa ppulezidenti.[1]

Ebyafaayo[kyusa | edit source]

Alice Kaboyo Kizibwe w'omukyala w'omukulembeze w'eggwanga era minisita w'ebyenjigiriza n'ebyemizannyo, Janet Museveni.

Olugendo lwe mu byobufuzi[kyusa | edit source]

Mu kukyala kwe e Kiruhura, Kaboyo yakkaatiriza obukulu bw'ebyobusuubuzi mu kukendeeza obwavu, okutumbula omwenkanonkano, n'okuzzaamu abakyala amaanyi mu bye bakola.

Obukuubagano[kyusa | edit source]

Kaboyo nga tannaba kufuuka minisita, okulondebwa kwe kwagaanibwa nga kino kyava ku nsonga z'obutaba mwesimbu n'obuli bw'enguzi. Newankubadde gwali gutyo, erinnya lye lyakomezebwawo mu Lukiiko lw'eggwanga olukulu okukakasibwa, Olukiiko olulonda lwakubirizibwa Omumyuka w'omwogezi w'Olukiiko lw'eggwanga Olukulu Anita Among era eyagaana okulondebwa kwa Alice nga entabwe eva ku kubeera nti Kkooti erwanyisa obuli bw'enguzi yali yamuvunaanako mu mwaka gwa 2012. Yavunaanibwa omusango gw'okukozesa obubi yaafeesi ye bwe yeenyigira mu mivuyo gy'obuli bw'enguzi mu buvujjirizi okuva mu kitongole ki Global Alliance for Vaccines and Immunization (GAVI).[2] Yavunaanibwa nga ali wamu n'abantu abalala basatu okuli, eyaliko minisita w'ebyobulamu,, Jim Muhwezi, wamu n'abamyuka be, Mike Mukula ne Alex Kamugisa.[2]

Ebijulizo[kyusa | edit source]

  1. Cite error: Invalid <ref> tag; no text was provided for refs named allafrica
  2. 2.0 2.1 Cite error: Invalid <ref> tag; no text was provided for refs named independent