Jump to content

Andrew Kayiira

Bisangiddwa ku Wikipedia

  Andrew Lutaakome Kayiira (30 Yazaalibwa mu Gwoluberyebery 1945 – n'afa nga 9 Ogwokusatu 1987) Ye yali akulira ekibinja ky'abalwanyi aba Uganda Freedom Movement (UFM), akyatandikibwa okulwanyisa Gavumenti ya Milton Obote n'eya Tito Okello wakati wa 1980 ne 1986. Kayiira ne UFM baalabwanga ng'abalabe ba NRA oluvannyuma eyafuuka National Resistance Movement (NRM) abaali bakulemberwa Yoweri Museveni, nga nayo yali mu lutalo olw'omu nsiko olwagenderera okuvuunika Gavumenti ya Obote n'eya Okello. NRM bwe yajja mu buyinza mu 1986, Kayiira yalondebwa Museveni okubeera Minisita w'amasannyalaze. Kyokka oluvannyuma Kayiira yakwatibwa n'avunaanyizibwa emisango gy'okulya mu nsi ye olukwe kyokka obujulizi bwe bwabula kkooti n'emuyimbula. Kayiira yatemulwa bamukwatammundu abataamanyika nga 9 Ogwokusatu 1987.[1][2]

Okusoma kwe n'emirimu gye yasooka okukola

[kyusa | edit source]

Kayiira yasomera mu Namilyango College gye yava okuweebwa ekifo mu ttendekero lya Kubala mu Makerere University kyokka yasalawo okukolera Gavumenti mu kitongole ky'amakomera mwe yaweereza okutuuka ku ddaala lya assistant superintendent. Oluvannyuma yafuna sikaala n'agenda okusoma mu Bwakabaka bwa Bungereza (United Kingdom) gye yafuna Dipuloma mu Criminal Justice. Oluvannyuma yagenda mu Amerika n'asomera muUniversity of Southern Illinois, gye yafunira Diguli ya Bachelor of Science degree in criminal justice n'eyookubiri eya Master of Arts kwossa eyookusatu eya PhD in criminal justice gye yasomera mu University at Albany School of Criminal Justice.[3]


Olw'embeera y'obwannakyemalira eyaliwo ku mulembe gwa Idi Amin, Kayiira yakakibwa okuva mu Uganda n'awaŋŋangukira e mu Amerika. Yatuuka ku ddaala lya assistant professorship of criminal justice ku University of New Haven mu ssaza lya Connecticut. Ng'asinziira eyo, yasisinkana Bannayuganda abaali babeera mu Amerika. Yali nkola ye nti buli lwe yatuukanga mu kibuga nga talinaamu gw'amanyi, yasookanga kugenda ku masimu gaayo n'akeberamu amannya agawulirwa nga ga Bannayuganda n'abakubira n'akwatagana nabo.

Akakiiko akafuzi kaateekebwawo mu 1978, nga ssentebe waako ye ye yali ssaabawolererza wa Gavumenti, Godfrey Binaayiisa. Oluvannyuma ekibinja kino ekyali kisinziira e Boston omwali: Henry Bwambale, Kalu Kalumiya, Olara Otunnu, Justine Sabiti, Mubiru Musoke, ne Aloysius Lugira, kyalaba nga kyali kisaanidde UFU okufuna obukulembeze obuggya. Kayiira yasembebwa okuvuganya ne Binaisa era mu ttabamiruka waabwe eyali New York, Kayiira yalondebwa n'afuuka ssentebe wa UFU.[3]

Ekibinja kya Uganda National Liberation Front kyali kibinja kya byabufuzi ekyakolebwa Bannayuganda abaali babeera ebweru nga bawakanya enfuga ya Gavumenti ya Idi Amin. Kyakolanga n'ekya Uganda National Liberation Army (UNLA) n'ekigendererwa okuggya Uganda mu mukono gya Amin. Bano baalwana n'eggey lya Tanzania mu lutalo olw'okuvuunika Gavumenti ya Amin.

Ebijuliziddwa

[kyusa | edit source]
  1. "Archive copy". Archived from the original on 2011-12-28. Retrieved 2022-12-04.{{cite web}}: CS1 maint: archived copy as title (link)
  2. "Archive copy". Archived from the original on 2012-04-26. Retrieved 2022-12-04.{{cite web}}: CS1 maint: archived copy as title (link)
  3. 3.0 3.1 "Archive copy". Archived from the original on 2014-02-22. Retrieved 2022-12-04.{{cite web}}: CS1 maint: archived copy as title (link)
[kyusa | edit source]