Jump to content

Anna Ebaju Adeke

Bisangiddwa ku Wikipedia
Anna Ebaju Adeke

Anna Ebaju Adeke yazaalibwa 27 Ogwekkuminogumu 1991. Munnayuganda,munnamateeka era munnabyabufuzi .

Mu kiseera kino ye Mubaka mu Paalamenti owa Disitulikiti y’e Soroti mu Paalamenti ey’ekkuminemu (2021–2026).[1] [2] Yaliko omukiise wa Paalamenti mu kifo eky’abavubuka abakyala mu ggwanga mu Paalamenti ey’ekkumi (2016–2021).[3] [4][5]Yaweerezaako ng'omumyuka wa Pulezidenti wa Forum for Democratic Change mu bitundu by’Obuvanjuba.[6]

Obuto bwe n'obuyigirize

[kyusa | kolera mu edit source]

Adeke yasomera ku Our Lady of Good Counsel Gayaza ku Siniya ey'okuna n'oluvannyuma ku St Marys SS Kitende n'agenda mu Siniya ey'omukaaga.[7] Alina diguli mu mateeka okuva mu Ssettendekero wa Makerere ne diguli ey'ennyongereza mu by'amateeka okuva mu Law Development Center.[2] [7] Nga 17 Ogwokutaano 2021, Adeke yatikkirwa diguli ey'okubiri mu mateeka okuva mu Ssettendekero wa Makerere, ku lunaku lwe lumu lwe yalayira ng’omubaka wa Paalamenti ya Uganda ey’ekkuminemu (2021–2026).[8]

Okuva mu 2013 okutuuka mu 2014, Adeke yaweerezaako nga akulira abayizi Ssettendekero wa Makerere, yeesimbawo n’awangula ng'ali mu kibiina ky’eby'obufuzi ekya Forum for Democratic Change. [9] Okuva mu 2015, bwe yamaliriza emisomo gye egy’amateeka, yaweebwa ekifo mu kibiina ky'abannamateeka ekiyitibwa Uganda Bar. Akola nga munamateeka mu M&K Advocates, mu Kampala.[10]

Mu Gwokusatu 2016, Adeke yalondebwa nga omubaka omukyala ow'abawala mu ggwanga mu kulonda kw’eggwanga okwakolebwa mu kibuga Hoima e Bugwanjuba bwa Uganda . Mu kulonda kw’eggwanga, yeesimbawo nga talina kibiina.[3] Ng’omubaka wa Paalamenti, alwanirira okwawulwa kwa minisitule y’ekikula ky’abantu, abakozi, abavubuka n’enkulaakulana y’embeera z’abantu, okutondawo minisitule y’abavubuka ey'etongodde. Era akola kampeyini z’okwongera ku nsimbi eziweebwa enkiiko z’abavubuka ku mitendera egy'enjawulo egy'eggwanga..[3]Yali mmemba ku kakiiko ka Paalamenti akavunaanyizibwa ku by’enfuna by’eggwanga, mu Paalamenti ey’ekkumi.[7]

Mu 2019, Adeke yalondebwa ku bwa Ssentebe w'akakiiko ka Paalamenti akavunanyizibwa ku nsonga z'abavubuka aka Uganda parliamentary Forum on Youth Affairs. Era yaliko minisita w’ekisiikirize avunaanyizibwa ku nsonga z’abavubuka n’abaana, era mmemba w’ekibiina ky'abakyala ekya Uganda women parliamentary association (UWOPA), mu Paalamenti ey’ekkumi (2016 - 2021).[7]

Anna Ebaju Adeke

Emirimu emirala

[kyusa | kolera mu edit source]

Adeke yalabikira mu lupapula lwa Vogue Italia mu Gwomwenda 2017.[11] Mu Gwokusatu 2017, The Ugandan Magazine yamuwandiikako mu "bakyala 10 abasinga amaanyi mu by'obufuzi bya Uganda mu 2017.[12] Mukatoliki.[11] Era ayagala nnyo ensonga z'ekikula ky'abantu n'abakyala[13][14] era avumirira okukabasanya[15][14][16] era abilwanisa nnyo,era akubiriza abakyala n'abantu bonna okwogera ku bibi ebiri mu kutulugunyizibwa,okutulugunyizibwa n'okukirwanyisa.[17] Ono era yavaayo n'ayogera oluvannyuma lwa mubaka munne mu Paalamenti bwe yagezaako okumukabasanya ng'ali mu lugendo lwe ebweru w’eggwanga.[18][19][20]

Ebiwandiiko ebikozesebwa

[kyusa | kolera mu edit source]
  1. https://kampalapost.com/news/anna-adeke-battle-osegge-soroti-woman-seat-heated-2021-race
  2. 1 2 David Mujuni (20 January 2021). "Former Makerere Guild President Adeke Anna Ebaju Wins Soroti Woman MP Seat". Campusbee Uganda. Kampala, Uganda. Retrieved 7 August 2021.
  3. 1 2 3 http://www.monitor.co.ug/News/National/Adeke-wins-National-Female-Youth-MP-elections/688334-3107114-1ldpe1/index.html
  4. IYLA (March 2016). "Hon. Anna Adeke Ebaju, National Female Youth Member of Parliament". International Young Leaders Assembly (IYLA). Washington, DC. Archived from the original on 20 November 2018. Retrieved 8 November 2017.
  5. Patricia Lindrio (1 February 2017). "Ugandan Women Often Avoid Political Posts, But One 25-Year-Old Arises as a Superstar". Global Press Journal. Retrieved 7 August 2021.
  6. Segawa, Nixon (13 September 2021). "Lukwago, Adeke Swear in to Serve as FDC Deputy Presidents". softpower.ug. Retrieved 13 September 2021.
  7. 1 2 3 4 POUG (7 November 2017). "Parliament of Uganda Members Of The 10th Parliament: Adeke Anna Ebaju". Parliament of Uganda (POUG). Kampala. Archived from the original on 20 November 2018. Retrieved 7 November 2017.
  8. https://www.monitor.co.ug/uganda/news/national/double-win-for-sworn-in-mp-adeke-as-she-graduates-with-master-s-degree-in-law-3403480
  9. https://www.redpepper.co.ug/why-mak-picked-adeke-for-president/
  10. Dickens H Okello (2 January 2019). "Anna Adeke Elected Chairperson Parliament Youth Forum". ChimpReports.com. Kampala, Uganda. Retrieved 7 August 2021.
  11. 1 2 "Archive copy". Archived from the original on 2025-01-23. Retrieved 2025-10-30.{{cite web}}: CS1 maint: archived copy as title (link)
  12. http://theugandan.com.ug/list-of-the-10-most-powerful-women-in-ugandan-politics-today/
  13. africanfeminism (2018-07-11). "WOMEN AND TAX- By Hon. Adeke Anna Ebaju". African Feminism (AF) (in American English). Retrieved 2021-04-01.
  14. 1 2 murami (2020-01-16). "MPs endorse campaign against sexual harassment". www.parliament.go.ug (in Lungereza). Retrieved 2021-04-01.
  15. Ssali, Godfrey (2018-04-14). "Uganda Parliament to probe sexual abuse in schools". The Independent Uganda (in American English). Retrieved 2021-04-01.
  16. "UPFYA chairperson leads group of women activists to petition Rt. Hon. Speaker Rebecca Kadaga on sexual harassment at the workplace". UPFYA (in American English). 2019-05-23. Retrieved 2021-04-01.
  17. Nakatudde, Olive. "Parliament Committee to Investigate Sexual Abuse in Schools". Uganda Radio Network (in Lungereza). Retrieved 2021-04-01.
  18. "MP Anna Adeke Accuses Male Colleague of Sexual Harassment on Trip". Vanguard News (in British English). 2021-03-10. Retrieved 2021-04-01.
  19. "MP Adeke claims colleague sexually harassed her on trip". Daily Monitor (in Lungereza). 10 March 2021. Archived from the original on 2021-03-18. Retrieved 2021-04-01.
  20. "Soroti MP Adeke Raises Claims of Sexual Harassment from Fellow MP". Daily Express News (in American English). 2021-03-10. Retrieved 2021-04-01.

Ebijuliziddwamu w'abweru wa Wikipedia

[kyusa | kolera mu edit source]