Jump to content

Bart Magunda Katureebe

Bisangiddwa ku Wikipedia
Bart Katureebe.jpg

 

Bart] Magunda Katureebe Munnayuganda, mulamuzi era yaweerezaako nga Ssabalamuzi wa Uganda.[1] Yalondebwa ku kifo ekyo nga 5 Ogwokutaano 2015.[2] Ekyo nga tekinnatuuka, yali mulamuzi wa kkooti ensukkulumu mu Uganda.[3]

Obuto bwe n'emisomo gye

[kyusa | kolera mu edit source]

Yazaalibwa nga 20 Ogwomukaaga 1950, ku kyalo Rugazi, mu Disitulikiti y’e Rubirizi mu Bugwanjuba bwa Uganda, eri Yowana Magunda ne Virginia Ngonzi.[4] Pulayimale ye yagisomera ku Rugazi Primary School mu by'emisomo gye egitandikirwako okuva mu 1957 okutuuka 1962. Oluvannyuma yagenda mu St. Joseph Junior Secondary School e Mbarara okuva 1963 okutuuka 1964, ne Kitunga High School mu Disitulikiti y’e Ntungamo okusoma siniya okuva mu 1965 okutuuka 1968. Yagenda mu Namilyango College ng'essomero lino ly’abalenzi bokka mu Disitulikiti y’e Mukono, okusoma siniya ey'omukaaga okuva 1969 okutuuka 1970. Nga wayise emyaka ena, yatikkirwa diguli mu mateeka okuva mu Ssettendekero y’e Makerere eya Bachelor of Law.[5] Yagenda mu maaso n’afuna Dipulooma mu by’amateeka okuva mu ttendekero ly'amateeka erya Law Development Centre mu Kampala, ekibuga ekikulu ekya Uganda ekisinga obunene.[6][7]

Okuva 1975 okutuuka 1983, Katureebe yakola nga munnamateeka w’eggwanga mu minisitule y’ebyamateeka. Okuva mu 1983 okutuuka 1988, yakola mu by’amateeka mu kifo eky’obwannannyini. Okuva 1988 okutuuka 1991, yaweereza nga omumyuuka wa minisita ow’enkolagana mu bitundu, oluvannyuma ng'omumyuuka wa minisita omubeezi ow’amakolero ne tekinologiya (1991 okutuuka 1992), ne Minisita omubeezi ow’ebyobulamu era mmemba w’olukiiko lwa National Resistance Council, akakiiko akakola amateeka mu kiseera ekyo okuva mu 1992 okutuuka 1996. Okuva mu 1994 okutuuka 1995, yalondebwa nga mmemba mu lukiiko lwa Ssemateeka olukiikirira Essaza lye Bunyaruguru mu Disitulikiti y'e Rubirizi . Okuva mu 1996 okutuuka 2001, yaliko minisita w’ebyamateeka, ensonga za ssemateeka ne ssaabawolereza wa gavumenti.[8] Yaddayo mu by’obwannannyini mu 2001, n’afuuka omu ku baatandikawo kampuni y'abannamateeka eya Kampala Associated Advocates.[9] Chambers Global yamulonda ng'omu ku bannamateeka abasinga mu Uganda mu 2004 era yaliko ne Ssentebe w’olukiiko olufuzi olwa Vision Group kampuni y’amawulire era n’aweereza ku lukiiko olufuzi olwa Standard Chartered Bank Ltd.[10] Yalondebwa okuba omulamuzi wa kkooti ey’oku ntikko mu 2005. Nga 5 Ogwokusatu 2015, yalondebwa nga ssabalamuzi. Nga 20 Ogwomukaaga 2020, yalekulira ofiisi y'obwa Ssaabalamuzi wa Uganda era n’akwasa omumyuka we Alfonse OWiny-Dollo okukola nga Ssaabalamuzi.[11] Nga 8 Ogwekkuminebiri, 2020 yalondebwa nga mmemba w’akakiiko k’ensi yonna ak’abakugu mu by’obusuubuzi mu kkooti ey’oku ntikko mu China (International Commercial Expert Committe of the Supreme Court of the People's Republic of China) ku ndagaano ey’emyaka ena, etambula okutuuka nga 8 Ogwekkuminebiri, 2024.[12]

Ebirala ebikulu

[kyusa | kolera mu edit source]

Katureebe mufumbo era taata w’abaana mukaaga. Ono mmemba ku kakiiko akavunaanyizibwa ku kitongole ekiramuzi.

Ebijuliziddwamu

[kyusa | kolera mu edit source]

Ebijuliziddwamu w'abweru wa Wikipedia

[kyusa | kolera mu edit source]