Benedicto Kiwanuka
Benedicto Kagimu Mugumba Kiwanuka yazaalibwa nga 8 Ogwokutaano 1922[1] n'afa nga 22 Ogwomwenda 1972 yeyali Ssaabaminisita wa Uganda era omukulembeze w'ekibiina ky'ebyobufuzi ekya Democratic Party, era nga y'omu kw'abo abakulemberamu Eggwanga mu kukyuusa obukulembeze okuva mu bufuzi bwa matwale wansi wa Bangereza n'okufuna amefuga. [2] Yatemulwa ku mulembe gwa Idi Amin mu 1972.
Ebimukwatako
[kyusa | kolera mu edit source]
Ava mu lubu lwa Baganda, Benedicto Kagimu Mugumba Kiwanuka yazalibwa Kisabwa nga taatawe y'e Kaketo-Namugera Omukatoliki.[3]
Oluvannyuma lw'okusoma eby'amateeka mu Lesotho mu 1950-52, yagenda e London okusoma eby'amateeka mu ttendekero lya University College mu London.[4] Yayitibwa Gray's Inn okutuula ku kakiiko akawulira emisango mu kkooti akayitibwa mu Gwokubiri 1956.[3]
Ouvanyuma lwa'olutuula lwa Ssemateeka wa Uganda owa 1961 olwatuuzibwa mu London, olwa "1961 Uganda Constitutional Conference", Uganda yafuna gavumenti y'abakulembeze bannansi nga 1 Ogw'okusatu 1962. Kiwanuka yafuuka omukulembeze w'Olukiiko lw'Eggwanga olukulu. [4]
Okulonda okwaddako kwategekebwa mu Gwokuna 1962 ekibiina kya Kiwanuka kyawangulwa ab'ekibiina kya Milton Obote ekya Uganda People's Congress n'ekibiina ky'abaganda abaali tebakiririza mu Ddiini ngwira ekya Kabaka Yekka.Kiwanuka okubeeera Omukatuliki kyamulemesa okubeera ow'etutumu ne mu Buganda okusingira ddala Abapolotesitanti.[5]Uganda yafuna obwetwazenga 9 Ogwekkumi 1962 ne Obote nga Ssaabaminisita eyasooka owa Uganda ey'etongodde.[6]
Kiwanuka yasibibwa mu 1969 ku mulembe gwa Obote wabula yali omu ku basibe 55 abayimbulwa Idi Amin oluvanyuma ddala nga yakawamba obuyinza.[7] Amin yamulonda ku bwa Ssabalamuzi wa Uganda nga 27 Ogwomukaaga 1971.[8]
Kiwanuka mu bwangu yatandika okusika omuguwa olwa Amin okugaana okutambulira ku nfuga y'amateeka. Oluvanyuma lw'amangu ddala nga Obote yakakola obulumbaganyi ku Uganda mu 1972, Kiwanuka yawambibwa ku mudumu gw'emundu abasajja ba Amin bweyali alina omusango gw'awulira ku kkooti enkulu.[9] Oluvanyuma lw'okusazaamu ebiragiro bya Amini ebikakali, Kiwanuka yali akkiriza okuwagira Obote mu kyama okusobola okudda mu buyinza nga yali asuubiziddwa okubeera ku kakiiko k'abo abanakola ennongosereza mu Ssemateeka.[10]
Okufa kwe
[kyusa | kolera mu edit source]Kiwanuka yattibwa nga 22 Ogwomwenda mu kkomera lya bamnamagye e Makindye. Ebyafaayo by'amawanga g'Ebulaaya gogera ku kuttibwa kwa Kiwanuka ng'okwali okw'okutulugunyizibwa era okw'obulumi ennyo okusinziira ku baabiraba era abawandiisi ab'enjawulo abakola okunonyereza ku nfa ye balaga nti yatulugunyizibwa nga bamulinza okutibwa era okusinzira ku mujulizi ey'elabirako n'agage agamba yasalwako amatu emimwa, emikono,ennyindo ne bitemwatemwa obutundutundu saako n'okulaayibwa nga tannayokebwa.[11] Oludda olulala luwanuuza nti Amin k'ennyini yeyakuba Kiwanuka amasasi.[12] Okufa kwa Kiwanuka tekwatwalibwa ng'okuttibwa, mu kifo ky'ekyo Amin yanenya abawagizi ba Obote era n'alagira poliisi okukola okunonyereza.[13] Okuttibwa kwa Kiwanuka kwekwakulemberamu okwa bakulembeze abokuntiko Abaganda n'Abanankole n'ekigendererwa eky'okubanafuya.[14]
Omukululo gwe
[kyusa | kolera mu edit source]Muzukulu wa Kiwanuka omulenzi, Mathias Kiwanuka, yazannya nga omuzibizi mu ttiimu ya American Football team eya Boston College, era ye yasooka okukyuukira ku kugulu kumu n'asimula omupiira ku tiimi ya New York Giants mu mpaka za 2006 NFL Draft, era n'awangula obwannantamegwa emirundi ebiri.[15]
Mu 2018, Pulezidenti Yoweri Museveni yasalawo bamukolere ekibumbe ky'ekijjukizo.[16]
Ebijuliziddwaamu
[kyusa | kolera mu edit source]- ↑ https://books.google.com/books?id=hOItAQAAIAAJ&q=Benedicto+Kiwanuka+1922
- ↑ https://www.cambridge.org/core/books/contesting-catholics/39AAFC8688B8E270F5302DB5125B92C3
- 1 2 David Martin, General Amin, London: Faber and Faber, 1974, p. 211
- 1 2 https://judiciary.go.ug/files/publications/JudiciaryInsiderIssue11webversion.pdf
- ↑ Martin, General Amin, p. 212
- ↑ Daily Monitor (2013-10-08). "Prime Minister Milton Obote's inaugural Independence speech at Kololo Airstrip on October 9, 1962". Daily Monitor. Retrieved 25 May 2024.
- ↑ Martin, General Amin, p. 140
- ↑ David Martin, General Amin, London: Faber and Faber, 1974, p. 211
- ↑ David Martin, General Amin, London: Faber and Faber, 1974, p. 211
- ↑ Martin, General Amin, p. 212
- ↑ Martin, General Amin, p. 212
- ↑ https://en.wikipedia.org/wiki/Daily_Monitor
- ↑ David Martin, General Amin, London: Faber and Faber, 1974, p. 211
- ↑ Martin, General Amin, p. 213
- ↑ https://www.nytimes.com/2012/01/30/sports/football/mathias-kiwanukas-heart-belongs-to-uganda.html?_r=1&ref=world
- ↑ https://twitter.com/mjilesen/status/1057929449155383296
Template:UgandaPMsLua error: Invalid configuration file.