Jump to content

Benna Namugwanya

Bisangiddwa ku Wikipedia

Benna Namugwanya Bugembe (yazaalibwa Benna Namugwanya) munnabyabufuzi wa Uganda. Ye minisita omubeezi owa Kampala Capital City Authority mu Kabineeti ya Uganda. Yalondebwa ku kifo ekyo nga 6 Ogwomukaaga 2016. Mu kiseera kye kimu akola nga Omubaka omukyala owa disitulikiti eye Mubende mu Palamenti ey'omulundi ogw'ekkumi (2016-2021).

Ebyafaayo n'okusoma

[kyusa | edit source]

Yazaalibwa nga 21 Ogwomwenda 1967, mu disitulikiti eye Mubende. Yasomera mu Saint Edwards College, mu Bukuumi, kati eyitibwa disitulikiti ye Kakumiro, ku mutendera gwa O-Level. Yakyusibwa n'adda mu ssomero lya Saint Kizito High School Bethany, mu Ngugulo, kati eyitibwa disitulikiti eye Mityana okufuna obuyigirize obw'omutendera ogwa A level. Mu 1989, yaweebwa ekifo mu Yunivasite ya Makerere, mu Kampala, ekibuga ekisinga obunene era ekibuga ekikulu mu Uganda. Yattikirwa diguli esooka mu by'enjigiriza mu 1992. Oluvannyuma mu 2006, Yunivasite y'emu yamuwa diguli ey'okubiri mu byenjigiriza. Benna Namugwaya era alina dipulooma mu Human Resource Management, gye yafuna okuva mu Uganda Management Institute mu 2007 ne Certificate in Administrative Law, eweebwa Law Development Centre mu 2009.[1]

Omulimu gwe

[kyusa | edit source]

Omulimu gwe ogwasooka gwali gwa busomesa ku Alliance High School,gyeyaweereza okutuuka mu 1995. Yakyuusibwa n'adda ku Saint Augustine College, e Wakiso, gyeyasomeseza okuva mu 1996 okutuuka mu 1998.

Mu 1998, Benna Namugwanya yatwalibwa gavumenti y'ekitundu kya disitulikiti eya Mubende, ng'omukkesi w'amasomero, okumala emyaka mukaaga. Mu 2004, yakuzibwa ku kifo eky'amyuuka akulira eby'enjigiriza mu disitulikiti eye Mubende, n'aweereza mu kifo ekyo okumala omwaka mulamba. Mu 2005, yaddamu n'akuzibwa n'afuuka akolanga akulira eby'enjigiriza ku disitulikiti okumala emyaaka ebiri. Yafuuka akulira eby'enjigiriza mu disitulikiti eyo mu 2007 okutuusa mu 2010.

Mu 2011 yayingira eby'obufuzi bya Uganda, n'avuganya ku kifo ky'abakyala mu ditulikiti eye Mubende ku tiketi y'ekibiina ekifuga ekya National Resistance Movement. Yawangula era n'addamu okulondebwa mu 2016. Ku lukalala lwa kabineeti, olwafulumizibwa nga 6 Ogwomukaaga 2016, Namugwanya yalondebwa nga Minisita omubeezi ow'ensonga z'ekitongole ekya Kampala Capital City, ng'amyuukibwa Beti Olive Namisango Kamya-Turomwe, minisita omujuvu.

Laba era

[kyusa | edit source]

Ebyawandiikibwa

[kyusa | edit source]
  1. Cite error: Invalid <ref> tag; no text was provided for refs named Profile

Enkolagana ez'ebweru

[kyusa | edit source]