Betty Nakibuuka

Bisangiddwa ku Wikipedia

Betty Nakibuuka era amanyiddwa nga Betty Nakibuuka Senyonjo (yazaalibwa mu 1975) muyimbi w'enyimba ez'ediini Munnayuganda, muwandiisi w'ennyimba, era omusinza . Ye maama w’omuyimbi w’enyimba ez'ediini Gloria Mulungi amanyiddwa nga Baby Gloria . Ezimu ku nnyimba ze yasinga okweyoleka kuliko ‘Baddu ba Yesu’, ‘Tukutendereza’, ‘Luyimba lwange’, ne ‘Munene Munene’, n’endala. Ng’omulimu guno guwezezza emyaka egisukka mu makumi abiri, yeenyweza ng’omuntu ow’amaanyi mu nsiike y’okuyimba enjiri mu Uganda.

Gyenvudde n’emirimu[kyusa | edit source]

Betty Nakibuuka yazaalibwa nga mwana ow’ekkumi n’omu ku baganda be kkumi na babiri. Ku myaka emito egy’obukulu 14, yatandika okukola. Nakibuuka ng’ali wamu ne nnyina, Rose Nakato, yeenyigira mu kutunda engoye enkadde buli luvannyuma lw'okusoma okusobola okufuna okufuna ssente z’okusoma n’ebyetaago. Maama we bwe yatandika okufuna obulumi mu nyingo n'okuzimba,Nakibuuka amaanyi yagateeka mu kukola yekka. Mu 1991, Nakibuuka bwe yali akola emirimu gye egy'obusuubuzi nga bweyateranga okukola, yasanga ababuulizi abamatiza omuvubuka ono "okukwasa Yesu Kristo omulokozi emigugu gye gyonna." Nakibuuka yalina obwagazi eri abaana okuva mu buto, ekyamuleetera okwenyigira mu ssomero lya Ssande erya Klezia eryaweebwayo eri abavubuka. Yatandika okuyiiya n’okukwata ennyimba n’abato. Olwo n’asanga okusembezebwa n’okusiimibwa olw’ekitone kye eky’okuyimba ekyaggulawo ekkubo ly’okukwata ebisale by’olutambi lwe olusooka. Yayingira mu kuwagira ennyimba mu bitongole eby’ekitiibwa nga House of Manji, Silky Pads, ne Britania.

Ennyimba ze enkakafu[kyusa | edit source]

Ezimu ku nnyimba ze:  

Obulamu bwe[kyusa | edit source]

Nakibuuka mufumbo ne John Senyonjo era abafumbo bano baagattibwa nga 3rd November 1999 mu kkanisa ya Full Gospel Church e Makerere. Abaagalana bano balina abaana basatu okuli n’omuyimbi Gloria Mulungi amanyiddwa nga Baby Gloria . [1]

Okusunsulwa ne Awaadi[kyusa | edit source]

  • Mu 2004, Betty yalondebwa ng’omuyimbi omukyala asinga mu mpaka za TOP Radio National Music Awards ezaali mu kisaawe e Namboole nga October 8th 2004.
  • Mu 2010, yawangula engule ya Tumaini Musical Award, ng’alaga ebituukiddwaako mu kuyimba mu kusooka.
  • Mu 2011, yasiimibwa n’ekirabo kya The Olive Musical Award, ekyayongera okunyweza ekifo kye mu kisaawe ky’okuyimba. [1]

Laba ne[kyusa | edit source]

Ebijuliziddwa[kyusa | edit source]

  1. 1.0 1.1 Cite error: Invalid <ref> tag; no text was provided for refs named :1