Charles Peter Mayiga
| Ekikula | musajja |
|---|---|
| Ensi y’obutuuze | Yuganda |
| Erinnya eriweereddwa | Charles |
| Yazaalibwa nga | 1962 |
| Gy'azaalwa | Yuganda |
| Ennimi z'amanyi | Lungereza |
| Omulimu | lawyer, munnabyabufuzi, author |
| Gyeyasomera | Ssettendekero wa Makerere, St. Henry's College Kitovu |
| Gyabeera | Kampala |

Oweekitiibwa Charles Peter Mayiga Yazaalibwa mu mwaka 1962. Mwami Mayiga Munnamateeka mugundivu era omukulembeze mu Bwakabaka bwa Buganda era nga ye Katikkiro ekifo kyabaddemu okuva Ssaabasajja lweyasiima namuwa obuvunanyizibwa obwo mu mwaka 2013. Mwami Mayiga era muwandiisi wa bitabo ebifulumira mu lulimi olungereza era waliwo n'ebikyusiddwa okuzzibwa mu Luganda. Nga tannafuuka Katikkiro Ow'ekitiibwa Mayiga yali aweerezza Obwakabaka okuviira ddala mu biseera ebya Ssaabataka supreme Council. Olukiiko olwakulembera okuzzaawo obwakabaka mu mwaka 1993. Okutuuka mu kifo kino yalondebwa Ssaabasajja Kabaka wa Buganda, aliko,Ronald Muwenda Mutebi II, mu Gwokutaano 2013, era yasikira Ow'ekitiibwa John Baptist Walusimbi[1].[2][3]
Ebimukwatako
[kyusa | kolera mu edit source]Oweekitibwa Charles Peter Mayiga yazaalibwa Katikkiro wa Buganda aliko kati musajja Muganda ey'eddira Omutima omuyanja[4], azaalibwa ku kyalo Kasanje, mu muluka gw'e Kabonera, mu Disitulikiti y'e Masaka,(soma kibuga Masaka) mu Masekkati ga Uganda. Bazadde be ye Ssaalongo Cyprian Mukasa ne nnyina Nnaalongo Rebecca Kyese Mukasa. Yasomera Butale Primary School ne mu Nkoni Primary School. Eddaala lya Siniya erya wansi yalisomera mu St. Henry's College Kitovu. Kyokka oluvannyuma ne yeegatta ku St. Mary's College Kisubi gye yatuulira S6. Alina Diguli mu mateeka eya Bachelor of Laws (LLB), gye yafunira mu Makerere University, Yunivasite ya Uganda esinga obunene n'obukadde mu za Gavumenti. Alina ne Dipuloma mu kukola amateeka eya Diploma in Legal Practice, gye yasomera ku ttendekero ly'ebyamateeka erya Law Development Center, mu Kampala, ekibuga kya Uganda ekikulu.[5]
Emirimu gye
[kyusa | kolera mu edit source]Okuviira ddala mu 1987, Mayiga abadde akolera wamu n'obukulembeze bw'obwakabaka bwa Buganda, era y'omu ku bantu abeebuuzibwako naddala ku nsonga ezikwata ku Bwabakabaka era ng'abuwandiiseeko ne mu bimu ku bitabo bye nga King on the throne [6](2009) mwatebeza ebyo ebyakulembera okuzzibwawo kw'Obwakabaka bwa Buganda
Nga 4 Ogwomusanvu 1991, ng'Obwakabaka bwa Buganda bwetegekera okuzzibwawo, Mayiga yalondebwa okubeera omuwandiisi w'olukiiko lw'abakungu ba Ssaabasajja (oba Ssaabataka nga bweyayitibwanga mu budde obwo) abaalondebwa okuteekateeka n'okuzzaawo ennono z'obuwangwa bw'Abaganda n'Okuzzaawo obukulembeze bw'Obwakabaka. Oluvannyuma ekitiibwa kino kyakyuka n'afuuka omuwandiisi wa ssetteeserezo wa Buganda ayitibwa Lukiiko oluvannyuma lw'okuzzibwawo kw'Obwakabaka. Mwami Mayiga era yakolako nga minisita mu minisitule ez'enjawulo omuli ey'abavubuka n'ey'ebyamawulire okutuuka bwe yalondebwa ku Bwatikkiro wa Buganda mu Gwokutaano, 2013.[7][8]
Nga tannalondebwa nga Katikkiro, Mayiga yali agaanyi ebifo ebisukka mu bibiri (2) ebyali bimuweereddwa mu Gavumenti eya wakati - Gavumenti ya Uganda.[9]
Emirimu gye wabweru w'obuwereza mu bwakabaka bwa Buganda
[kyusa | kolera mu edit source]Oweekitiibwa Mayiga munnamateeka omutendeke era ye ne munywanyi we baatandika kkampuni ya bannamateeka eya Buwule and Mayiga Company Advocates, mu mwaka 1994. Eno esangibwa Kampala Uganda mu ssaza Kyadondo, musajja mulimi era amanyiddwa olwobwagazi bwalina eri ekirime ky'emwanyi, era muwandiisi wabitabo era ng'ebitabo bye ebisinga awandiika ku nsonga z'obwakabaka bwa Buganda (laba ekitabo Kabaka ku Nnamulondo) Mwami Mayiga era awandiika ku byenfuna n'okwekulakulanya.
Laba ne
[kyusa | kolera mu edit source]- Mengo
- Bulange[10]
- Kabaka wa Buganda
- Nnabagereka wa Buganda[11]
Ebijuliziddwa okuva wabweru wa Wikipediya
[kyusa | kolera mu edit source]- "Buganda, Centenary Bank partner in Kasubi tombs drive", New Vision, 21 February 2014
- "Katikiro Mayiga Leadership Style Proves Critics Wrong", New Vision, 12 December 2013
Olukangaga olulaga Bakatikkiro bwe bazze beddiring'ana
[kyusa | kolera mu edit source]Template:S-start Template:S-bef Template:S-ttl Template:S-aft Template:S-end
- ↑ https://www.monitor.co.ug/uganda/lifestyle/reviews-profiles/four-eventful-years-at-the-helm-1504906#google_vignette
- ↑ http://www.newvision.co.ug/news/643006-katikiro-mayiga-chairs-his-first-cabinet-meeting.html
- ↑ http://www.newvision.co.ug/new_vision/news/1333039/-support-buganda-katikiro
- ↑ https://buganda.or.ug/clan/mutima-omuyanja-clan/
- ↑
{{cite web}}: Empty citation (help) - ↑ Mayiga, C.P. (2009). King on the throne: The story of the restoration of the kingdom of Buganda. Prime Time Communications. Retrieved from https://books.google.co.ug/books?id=20ZFYgEACAAJ
- ↑ http://www.newvision.co.ug/new_vision/news/1321669/mayiga-choice-katikkiro
- ↑ "Archive copy". Archived from the original on 2017-09-08. Retrieved 2022-11-25.
{{cite web}}: CS1 maint: archived copy as title (link) - ↑ "Archive copy". Archived from the original on 2022-11-25. Retrieved 2022-11-25.
{{cite web}}: CS1 maint: archived copy as title (link) - ↑ https://www.ugandasafaristours.com/uganda-attractions/bulange-mengo.html
- ↑ https://buganda.or.ug/nnaabagereka/