Jump to content

CoRSU Rehabilitation Hospital

Bisangiddwa ku Wikipedia

CoRSU Rehabilitation Hospital, ddwaliro ery'enjawulo erigaba obujjanjabi obwekikugu mu kitundu kya Buganda mu ggwanga Uganda . Eddwaaliro lino essira lisinga kulissa kukujanjaba abalwadde abetaaga okulongoosebwa endwadde ezekuusa ku magumba.Abalwadde abasoba mu bitundu 50 ku buli 100 abajajjabirwa mu ddwaliro lino bajjanjabwa ndwadde ezekuusa ku magumba. Ebitundu nga 45 ku 100 ku abo abajanjabwa, balongoosebwa olw'obuvune n'enkovu eziva ku biwundu eby'omuliro, okujanjabwa Fisitula mu nkola emanyiddwa nga (VVF) , awamu n'abo abalongoosebwa okutekebwako ebitundu by'omubiri ebikolerere (plastic surgery). [1]

Endagiriro

[kyusa | edit source]

Eddwaliro lino lisangibwa Kisubi, mu Disitulikiti y'e Wakiso, mu Buganda era nga lisangibwa ku luguudo oluva e Kampala okudda Entebbe, kiromita nga 33 okuva ku ddwaliro lya Mulago National Referral Hospital, mu kibuga kya Uganda ekikulu Kampala. [2]

Okuva ku kisaawe ky'ennyonyi ekiyitibwa Entebbe International Airport, okutuuka ku ddwaliro lya CORSU waliwo kiromita 18 [3] Endagiriro y'eddwaliro erya CoRSU ku maapu eri 0°07'58.0"N, 32°32'08.0"E (Busimba:0.132778; Bukiika:32.535556). [4]

Ebikwata ku ddwaliro lya CORSU

[kyusa | edit source]

Mu ddwaaliro lino abaana abali wansi w’emyaka 18 bajjanjabwa awatali kusasula. [5] We bwazibidde mu December wa 2017, CoRSU Hospital Uganda ewa obujanjabi obugwa mu matuluba ag'enjawulo wammanga era bino by'ebitongole mu dwaliro lino:

  • Okulongoosa Amagumba
  • Okugatta ebitundu ebikolerere kumubiri (Plastic Surgery)
  • Obujjanjabi obw'okubudabuda abantu
  • Obuweereza obw'obujanjabi (Nursing Services)
  • Obujanjabi obukwatagana n'endya yabantu.
  • Obujanjabi obwamannyo
  • Okujanjaba ekirwadde kya Fisitula ( VVF)
  • Obujanjabi obw'okusasulira.
  • Ekitongole kutuusa obujanjabi mu bantu.
  • Ekitongole ekivunaanyizibwa ku bakozi
  • Ekitongole ky’amawulire(Department of Strategic Information).

Ebyafaayo

[kyusa | edit source]

Eddwaaliro lino lyatandikibwawo mu mwaka 2006 era lyawandiisibwa nga ekitongole eky'obwannakyewa ekigaba obuweereza obutagenderera kukola magoba. Eddwaliro lino lyatandikibwa ebitongole ebyenjawulo nga Christian Blind Mission (CBM) nga bano ekigendererwa kyabwe ekikulu kwe kutuusa empeereza n'bujanjabi obulunji eri abantu abaliko obulemu mu Uganda. Eddwaliro lino liriko ekiwayi ekyabalwadde abayina obusobozi obusasula era nga ensimbi zebasasula zeeyambisibwa mu kuwanirira emirimu gy'eddwaliro. Eddwaliro lya CORSU obujanjabi bwerigaba edda banna Uganda babufunanga Kenya, Buyindi, South Africa, Bulaaya ne North America, okufuna obuweereza obw’enjawulo obw’okulongoosa.

Endwadde ezijanjabwa

[kyusa | edit source]

Alipoota ey'omwaka 2017 yalaga nti abalwadde 5312 be bajjanjabirwa ku ddwaliro lya CORSU:

Ebyensimbi

[kyusa | edit source]

Okusinziira ku alipoota y’eddwaliro lino ey’omwaka 2017, eddwaaliro lino lyafuna ensimbi okuva mu bayambi ab’enjawulo okwetoolola ensi kwossa ne banna Uganda era nga zino zaali Siringi za Uganda Obuwumbi 12,907,338,000. Kuzino ekitongole kya CBM ekyatandika eddwaliro lino kyawaako ebitundu 43 ku 100 era kyekyasinga okusaamu ensimbi. Ku nsimbi zino ebitundu 37 ku 100 zasaasanyizibwa mu kusasula emisaala nensako zabakozi b'eddwaliro olwo ebitundu 25% nebikozesebwa mu kuddukanya emirimu gyeddwaliro lino.

Laba ne

[kyusa | edit source]

Ebiwandiiko ebijuliziddwa

[kyusa | edit source]
  1. https://corsuhospital.org/index.php
  2. Template:Google mapshttps://www.google.com/maps/dir/CoRSU+Rehabilitation+Hospital/Mulago+Hospital,+Kampala/@0.2412932,32.478395,12z/data=!3m1!4b1!4m14!4m13!1m5!1m1!1s0x177d9aa848caa18b:0xc24d260ec5e8d83e!2m2!1d32.5355114!2d0.1323871!1m5!1m1!1s0x177dbb0f51509de1:0xea12334542674d8c!2m2!1d32.5761312!2d0.3380637!3e0
  3. https://www.google.com/maps/dir/CoRSU+Rehabilitation+Hospital/Entebbe+aircargo+transporter,+14+Kitaasa+Rd,+Entebbe/@0.0846702,32.4187857,12z/data=!3m1!4b1!4m14!4m13!1m5!1m1!1s0x177d9aa848caa18b:0xc24d260ec5e8d83e!2m2!1d32.5355114!2d0.1323871!1m5!1m1!1s0x177d86cd37ba81af:0x9daba139d6433d1f!2m2!1d32.4417945!2d0.0435913!3e0
  4. Template:Google mapshttps://www.google.com/maps/place/0%C2%B007'58.0%22N+32%C2%B032'08.0%22E/@0.1695452,32.5311756,19126m/data=!3m1!1e3!4m5!3m4!1s0x0:0x0!8m2!3d0.1327778!4d32.5355556
  5. https://www.newvision.co.ug/new_vision/news/1332207/modern-services-disabled