Jump to content

Dorothy Nyakato

Bisangiddwa ku Wikipedia
Nyakato Dorothy.jpg

Dorothy Nyakato Nzibonera munnabyabufuzi munnayuganda era nga ye mubaka omukyala owa Disitulikiti y’e Kitagwenda mu Uganda mu Palamenti ey’ekkumi n’emu eya Republic of Uganda. Ali mu kibiina ekya National Resistance Movement ekibiina ky’eby'obufuzi ekiri mu buyinza mu Uganda oluvannyuma lw’okulonda okwaliwo mu January, 2021. Era omulimu gwe mubalirizi w’ebitabo era abaddeko ng’omuyambi w’ababalirizi b’ebitabo mu kitongole kya Human Rights Center Uganda.

Mu palamenti ey’ekkumi n’emu, aweereza ku kakiiko k’eby'enjigiriza n’emizannyo.

Gyenvudde n'Okusoma

[kyusa | edit source]

Dorothy Nyakato aviira mu Disitulikiti y’e Kitagwenda mu maserengeta ga Uganda. Wa nzikiriza ey'ekikulisitaayo. Dorothy mufumbo eri Robert Kabandize okutuuka mu March, 2022.

Omulimu gw’eby'obufuzi

[kyusa | edit source]

Ye mukyala akiikirira palamenti ya disitulikiti y’e Kitagwenda Palamenti ya Uganda ey’ekkumi n’emu. Yawangudde Asiimwe Joan owa Forum for Democratic Change, Ninsiima Grace eyali awanguddwa Dorothy mu kalulu ka pulayimale ne Kenyonyonzi Efrance eyavuganya ku bwannamunigina mu kulonda okwaliwo mu January, 2021 okuwangula akalulu n’obululu obusinga obungi. Era abaddeko ng'omuyambi w'eby'okubala mu kitongole ekivunaanyizibwa ku ddembe ly’obuntu ekya Human Rights Center, Uganda omulimu gw’alina n’okutuusa kati.

Laba ne

[kyusa | edit source]

Ebijuliziddwa

[kyusa | edit source]