Jump to content

Ekkumiro ly'ebisolo erya Kibale Forest National Park

Bisangiddwa ku Wikipedia

 

Scarlet-chested sunbird at Kibale forest National Park
Scarlet-chested sunbird at Kibale forest National Park

Kibale Forest National Park Kkuumiri ly'ebisolo erikuumibwa nga lisangibwa mu Bukiikaddyobwobugwanjuba bwa Western Uganda.[1] Ekifo kino kivunanyizibwa ebitongole bya Gavumenti eby'enjawulo omuli: ekitongole ekivunaanyizibwa ku nsol z'omunsiko ekyaUganda Wildlife Authority (UWA) Ministry of Water and Environment (MWE), National Forest Authority (NFA), National Environment Management Authority ne Minisitule y'ebyobulambuzi ensolo z'omunsiko n'ebintu eby'edda.[2][3][4][5][6] Kibale Forest National Park kifo ky'abalambuzi ekirimu eby'ewunyisa n'addala eri abalambuzi.[1] Ekkumiro ly'ebisolo lino litudde ku bugazi bw'ettaka lya kilomita 766.[7]

Obutonde n'ebisolo ebisangibwayo[kyusa | edit source]

Ekkuumiro ly'ebisolo lino erya Kibale Forest National Park lijjudde ebimera eby'enjawulo saako n'ebisolo eby'enjawulo okutandikira ddala ku bika by'emiti eby'enjawulo egisoba mu 351, ebinyonyi eby'enjawulo saako n'ebisolo ebisoba mu 120.[8][9]

Ebisolo by'omunsiko[kyusa | edit source]

Ebimu ku bisolo ebisangibwa mu kuumiro lya Kibale Forest National Park mulimu: , Engeyo enjeru n'enzirugavu, Enjovu, Embbizi z'omunsiko, Engo, Embogo n'ebisolo ebirala bingi.[10][11]

Laba na bino[kyusa | edit source]

Ebijuliziddwamu[kyusa | edit source]