Esigalyakagolo
Essiga lya Kagolo mu kika ky'ente. Tuli bazzukulu ba Namutale-Kagolo muganda wa Katongole. Jjajjaffe Namutale-Kagolo yava Bunyolo ne jjajjaffe Katongole.
Ennyanjula
[kyusa | edit source]Mbaaniriza nnyo abasomi bange. Mwebale okwagala Obuganda. Mu Buganda tumanyidde ddala ng’ekika kintu kikulu. Era ekika kintu kigazi nnyo. Ng’omusingi okuzimbirwa Obuganda, mu kika namwo mubaamu obuganda obutono. Bugattira ku ntiko nga ke kasolya. Olwo nno ow’akasolya y’abeera omutaka omukulu mu kika ekyo. Y'afuuka omukiise ow’ensonga mu Iukiiko ewa Ssaabasajja. Era ebika byonna bisisinkanira waggulu ku Ssaabasajja Kabaka. Ebika bikola omulimu gwa ttendo nnyo mu kukuŋŋaanya wamu n’okumanyagana. Nga guno gwe musingi ogw’obumu bw’abantu mu Buganda. Buli kika n’obulombolombo bwakyo, okugeza abantu ab’ekika ekimu tebakkirizibwa kufumbiriganwa.
Mu kitabo kino, tujja kutunuulira engeri nnya ebika gye byajjamu mu Buganda. Tujja kwesigama nnyo ku kika ky’ente. Era tujja kulaba ku byafaayo bya bajjajjaffe Kintu ne Kimera olwo naffe kijja kutuyamba okumanya ensibuko yaffe mu Buganda.
Abawandiisi bangi bawandiika ne bagamba nti ffenna tuli bazzukulu ba Kintu. Balowooza nti era ye yatandika Obuganda. Abantu bano siyinza kubawakanya. Mu ngeri endala, abawandiisi abanoonyereza ku mawanga ga Afirika, buli omu avvuddeyo n’okunoonyereza kwa njawulo. Ekintu kino kibaddewo Iwa nsonga nti mu biseera ebyayita, Afirika teyalina nkuuma nnungi ya byafaayo. Twala ekyokulabirako ekya Isirayiri n’amawanga agaliraanyeewo nga Misiri. Mu biseera bya ba Nnabbi ne Yezu Kristu, baawandiisanga bufumu. Baasobola okukuuma ebyafaayo by’ensi zaabwe kati gye myaka ng’enkumi ttaano egiyise. Wano mu Afirika entereka y’ebyafaayo teyali nnuŋŋamu n’akatono. Kaakano tweddaabulula bweddaabuluzi. Olw’obugunjufu obutono, tewaali bya kuwandiisa. Abakulu be baanyumizanga abato. Eyanyumizibwanga, yabikomyanga awo. Oluusi yeesuulirangayo gwa Nnagamba. Eyasobola okubyongerayo, olw’ekinyumo, yakyusanga ebyo ebyamunyumizibwa n’ayongeramu ebibye. OIw’ebinyumizibwa nga tebiteekeddwa mu buwandiike, kyaleetera okuziŋŋamizibwa kw'enkuuma y'ebyafaayo. Engeri ebinyumizibwa gye biri byangu byakunyomoola, bangi bazitwala nti ezo nfumo. N’olwekyo, ne babyesonyiyira ddala nti tebibakwatako.
Kya nnaku nti ebyafaayo ebitonotono bye twali tulina mu buwandiike, byayononebwa olw’okudobonkanyizibwa kw’eby’obufuzi n’eby’enfuna okutakoma buli kiseera na buli mwaka mu mawanga ga Afirika. Omwami Micheal B Nsimbi mu kitabo kye “Amannya Amaganda n'Enono Zaago” atunyumiza n’agamba nti “ebyafaayo singa abantu tebabiwandiika naye ne babisirikira, bafaanana ng'omuntu atimba bendera y'ensi ye emmanju w'ennyumba gy'etayinza kulabikira". Okunoonyereza ebyafaayo mu mawanga ga Afirika, tegunnabeera mulimu mwangu kubanga abantu ababimanyi basigadde ba lubatu. Wabula ng’obwetaavu bukyali bwa maanyi okulaba nga tubizuula. Singa twagala bazzukulu baffe okwagala Obuganda, tuteekwa okuwandiika ebyafaayo byonna bye tuba tufunye oba bye tugwaako. Kirungi okuwandiika kubanga abantu bangi bakkiririza mu biwandiikiddwa okusinga ebintu ebibanyumizibwa. Ebiwandiiko biwangaala nnyo ate nga tebikyukakyuka. Naye ebinyumizibwa biggwaawo kubanga abantu beerabira ate era ne bafa.
Okwebaza
[kyusa | edit source]
Okuva ensi lwe yatandika, ebyafaayo bizze biterekebwa butiribiri, nga byogera ku ntandikwa y’ensi eno. Bw'osoma ekitabo “encyclopedia bosanic l997” ekulaga nti ensi yatandikibwawo wakati w’obuwumbi busatu n’obutaano egy’emyaka egiyise. Ekyokulabirako ekyangu, ye Baibuli ne Kolani. Buli muntu ateekwa okuba ne ky'akkiririzaamu ku bibiri ebyo. Ebitabo ebyo byawandiikibwa dda kakati emyaka nkumi bbiri egiyise. Ekyewuunyisa teri yali avvuddeyo kubiwakanya. Ebitabo ebyo byantanula nange kwe kusalawo okuwandiika.
Omulimu gw'okuwandiika ekitabo kino, mukadde nnyo emabega nga nange sinnazaalibwa. Bajjajjaffe abakulu mu ssiga lyaffe erya Kagolo, Byekwaso Kakulu ne Genatio Kakulu, baakola omulimu ogw'ettendo nga banoonyereza ebyafaayo ebikwatagana n’essiga lyaffe erya Kagolo. Omulimu guno gwateekebwa mu mpapula nga 16th 05 1982, nga byateekebwamu omwami Nasani Bulojje Bakubanja ow'e Kajjwa-Kyannamukaaka, Buddu. Yasobola okukuuna ebiwandiiko bino era ne kinnyamba nti bwe nnamutuukako, yasobola okubimpa. Mubiwandiiko bye yampa, mwalimu n’ebyawandiikibwa abakulu ababiri be njogeddeko waggulu. Neebaza omwami Alozious Kwabufu olw’okunnyamba mu ŋŋendo zange ze nnatambula bwe nnali nga nnoonya bwino eyakola mu kitabo kino.
Nyongera okwebaza katikkiro w'ekika ky’ente omwami Zadok Muwulya olw’olukusa olwampeebwa okunoonya bwino nga mmuggya mu kitabo kye ekiyitibwa "Ebyafaayo by'Ekika ky'Ente". Kuno kw'ossa omukulu w’essiga eyansengekera emituba, ennyiriri, empya n’enju mu ssiga lyaffe. Nneebaza gavumenti ya Ssaabasajja Kabaka wa Buganda eyatuteerawo omukutu gw’eby’empuliziganya oguyitibwa www.buganda.com nga nagweyambisa mu kumanya n'okufuna ensibuko y’ebika mu Buganda.
Okusingira ddala, ka twebaze Kamala Byonna Mukama Katonda eyankuuma, n’annuŋŋamya n’ampisa mu makubo omwali mujjudde enkuba era eryalimu obuseerezi. Akasana ppereketya wamu n’enzikiza. OIwo n’alyoka akusobozesa gwe omusomi wange okufuna bwino ono ne weewaayo omusome ate n'owaako ne ku oyo amwetaaga.
Obubaka bw'Omukulu w'Essiga
[kyusa | edit source]Baganda bange, bannyinaze, abaana ne bazzukulu bange mwenna mu ssiga, mbaaniriza nnyo. Nga tutandika omulimu gw'okuwandiika ekitabo kino, twalowooza nti gujja kuba muyabayaba. Naye kaakano nkikakasizza nti omulimu gwagenda bukwakku. Ng'emisanvu oba emiziziko, twafuna obuzibu mu by'entambula. Si mu bya nsimbi, wabula olw'embeera y'obudde eyakyukakyukanga. Naye wakati mu buvumu, twabivvuunuka. Nga bwe twatwala obudde nga tunoonyereza, kyatuyamba okumanya n'okufuna ebyafaayo ebitakontana. Mu ngeri eno, ne tukakasa nti bye twafuna essiga bye lyali lyetaaga. Oluvannyuma lw'okukuŋŋaanya omulimu guno awamu mu buwandiike nga tweyambisa ebyuma bikalimagezi, kyali kya mugaso nnyo okugusaasaanya. Nga bw'osoma ekitabo kino, jjukiranga okukituusa ku muzzukulu omulala. Okuyita mu kuwandiika ekitabo kino, twakirabamu omulamwa era nga kya mugaso okusinga okutegekanga enkuŋŋaana zokka. Mu nkuŋŋaana, tuba na bingi eby'okwogerako wamu n'okuteesaako. Kale nga ggwe afunye ekitabo kino, nkusaba okukikuuma kigende mu maaso paka ku bazzukulu bo. Mu nkola eno, lwe tujja okusobola okukuuma ebyafaayo... George Kakulu.
Akalowoozo k'Omukuŋŋaanya
[kyusa | edit source]Ng’ensi bw'ejja ekyuka, nnakiraba nga kitugwanidde okuwandiika ebitukwatako ng’ab’essiga lya Kagolo. Wakati nga ntalaaga olw’omulimu guno, nnafuna endowooza bbiri okuva mu bantu. Ng’emu egamba nti bikumalira budde n’endala ng’eŋŋumya, wabula saaterebuka.
Nkizudde ng’abantu bangi ebintu by’okuwandiika babyebalamye. Ekintu kino nnakirabamu obuzibu. Okugeza mu biseera bino, tokyayinza kutuuza baana n’obabuulira ebyafaayo. Abasinga bali mu masomero ga bisulo. Abalala bali ku gwa kupakasa nsimbi. Obudde obutono bwe baba bafunyeewo, babukozesa mu kunyumya birala. Ng’okumanya ani yafa n'ani yazaala. Kyokka singa ebintu by’oba obanyumiza obibawa mu buwandiike, kibabeerera kyangu okubisoma.
Ng’obugunjufu bwe bweyongedde, ebintu ebitawandiikiddwa abantu tebakyabikkiririzaamu, ne bwe biba ebituufu. Kale omusomi wange, fangayo okuwandiika era n’okwagala ekika kyo. Mu nkola eyo, mwe tunaatambuliza Obuganda, ne tubutwala ku ddaala eriggya.
Ssaabasajja Kabaka awangaale.
Rocks Peter Basaaya II
Ensibuko y'Ebika mu Buganda
[kyusa | edit source]Okujja kw'ebika wano mu Buganda buli muwandiisi akumanyi mu ngeri ndala. Naye bangi ku bawandiisi bagamba nti ebika byajja mu ngeri za njawulo wano mu Buganda. Okusookera ddala ensi Buganda yayitibwanga Muwawa. Abantu abaagiberangamu nga bayitibwa 'Balasangeye’. Yatandikibwawo Ssekabaka Tonda. Kwaddako bassekabaka amakumi asatu mu musanvu nga mwe mwali Ssebuko, Buganda, Bemba Sseguku, Buwumpya Bukokooma, Ggulu, Maganda, n'abalala. Obufuzi bwabwe bwali bwesigamiziddwa ku bika. Ebiseera ebyo waaliwo ebika bitaano nga bye bino: emmamba, enjaza, engeye, ennyange, kuno kw'ossa n’olugave. Obufuzi obwo bwakomekkerezebwa n'okuttibwa kwa Bemba e Buddo. Olwo Kintu n’atandika enfuga empya.
Nate waliwo endowooza egamba nti ebika bibiri byajja byokka nga biva mu bitundu eby'enjawulo. Nga y’ente n’omutima. Okugeza, Katongole yajja n’ente okuva e Bunyolo. Bulondwa yava e Mangira n’ayitira ku mugga Mayanja wuuyo mu Bunyoro n’ente ya lubombwe, olwo n’aggukira e Magiri-Kyanamukaaka Buddu. Mugenyi yajja ng'alwana ntalo okuva mu Abysinia wuuyo Mawogola azimbyeyo "bigo bya Mugenyi". N’atolontokera ddala paka mu Rwanda. Nayo n'azimbayo ebigo. Oluvanyuma yakomawo e Buganda n'agundira mu Buddu. N'ennyonyi bw'etyo yajjanga mu busoolesoole paka lwe yagundira mu Buganda.
Kintu ateberezebwa okuba nga yalya Obuganda wakati wa 1314-1344. Yali musaale mukugaziya Buganda mu by'enfuna, eby’obufuzi, n'eby'obuwangwa. Agambibwa okuba nga yali muganda wa Lukidi Mpuuga nga nnyaabwe ye Nyatoolo. Ebifa ku kitaawe tebimanyiddwa. Kyokka ateeberezebwa okuba nga yali mutembeeyi eyo mu ludda Iwa Madi mu nsi eyayitibwanga Abbysinia nga kati ye Ethiopia. Okutuuka mu Buganda, yayitira mu nsozi z'e Masaaba mu Bugisu. Mu Buganda, yatuukira Mangira mu Kyaggwe. Yajja n’ebika kkumi na bisatu omuli engo, envuma, empindi, embogo, enjovu, ekkobe, envubu, empeewo, entalaganya, wamu n’embwa. Kigambibwa nti ng'ali e Mangira, Kakooto Mbaziira yamusigira mutabani we Kabengwa. Kintu n'awa Kabengwa obuvunaanyizibwa obw’okulunda ente ze. Ente zaali nnyingi. Kabengwa n'azikwasa musajja we Kisindewante. Wabula n’asigaza ente ya Kintu enjeru Kanyomu n’omwana gwayo ogwa Lubombwe. Lumu bwe yakama amata ga Kintu, abantu ab’omutima omubi ne bagayiwamu omunyo. N'atya era n’alagira mutabani we Bulondwomu badduke. Ente enjeru n’omwana gwayo tebaabireka. Olw’ente enjeru, baatya nti yandibakwasizza. Kwe kugisiba ku kikoligo. We baagisiba ne bayitawo ‘Ntenjeru’ n’okutuusa kati. Awo ne basomoka omugga Mayanja, ne beesogga Bunyolo. Kaswiga ng'ali e Bunyolo, yatta ne Katongole omukago. Ne bwe baali bajja mu Buganda, bajja bonna. Oluvanyuma Kintu yatta Bemba mu magezi ag’ekitalo e Buddo era n'alya Obuganda. Yateekawo enfuga empya nga ya mirembe era paka na kakano, Obuganda buli ku musingi gwe. Waliwo endowooza eyogera ku bika ebyajja ne Ssekabaka Kimera okuva e Bunyolo. Kimera yali kabaka wa Buganda wa kusatu. Agambibwa okuba nga yafuga Buganda wakati wa I374-1404. ebyafaayo by’obuwanguzi bwe biviira ddala ku Ssekabaka Cwa Nabakka. Bwe lwali olwo, nga Cwa aweereza mutabani we ewa Winyi okufuna olufubanja. Bweyatuukayo, ng’asowagana ne Wanyana muka Winyi. Teyalwa, ng’addukayo wabula n’affiira mu kkubo ng’akomawo era n’aziikibwa e Sirinnya mu Busiro. Ekiseera kyatuuka nga Buganda terina kabaka. Cwa Nabakka yaleka tazadde mwana mulala mulenzi. Awo Walusimbi ne Ssebwana ne bakuuma Namulondo. Kyokka abantu ne batabaagala. Kwe kuwulira nti Kalemeera yaleka azadde omwana e Bunyolo. Tebaalwa nga bamutumya. Mu kutuuka e Buganda, Kimera yatuuka n'ebika asatu mu munaana. Era nga bye bino ebimu kubyo: efumbe, omutima akayozi, ekinyomo, entalaganya, enkerebwe, empologoma, enseenene, ekkobe, ab'obutiko, n'ebirala. Okumanya ebisinga ku bino soma ekitabo "Bassekabaka ba Buganda ". Okuva Kimera lwe yagattaganya Obuganda paka na kati tebukutukanga. Okujjako Iwe bwali buggiddwawo Milton Obote mu 1966. Bwazzibwawo Y.K. Museveni mu 1993. Omulangira Ronald Mutebi n’atuula ku ntebbe era n'afuuka Kabaka mu 1993.
Wabula kigambibwa nti ebika ebyo byonna, buli kimu kyajja kyeyungayunga. Ky’ova olaba nti ente ezeddirwa nnyingi naye nga zirina omufuzi omu. Kino kyatuukikako wakati mu kutta emikago, okukola endagaano, wamu n’okuggataganyizibwa ba Kabaka.
Katongole Ajja e Buganda
[kyusa | edit source]Ebyafaayo by’ekika ky’ente bingi nnyo era nga buli omu abimanyi bubwe. Okusookera ddala ente ezedirwa nnyingi nga zirimu emitendera gya njawulo. Gino gye mitendera okusinziira ku kitabo “Ebyafaayo by’Ekika ky’Ente”. Waliwo ente ey’obusito ng’eno ewaka nga tewannayita nnaku mwenda ng’emaze okuzaala. Tetukkirizibwa kunywa mata gaayo ffe ab’ente. Ente endala y’empuula oba eya katosi ng'ebeera n’eddiba nga liringa ebbumba. Waliwo ente enkuggu nga eno eba terina mukira. Waliwo ente ebeera n’olugongogongo nga lwa kawemba. Eno eyitibwa ente eya kayinda. Waliwo ente eya lubombwe nga yeefaanaanyiriza entulege. Kuno saaako ente e'yekiganja, ng'ebeera n’ekinuulo ng’ekyala ekimu kyeru ate ng’ekirala kiddugavvu. Kuno ssaako ente eya kaasa nga yo ebeera n’ebbala eryeru ku mutwe gwayo. Abantu abamu bagamba nti ekika ky’ente kyajja ne Kintu, ate abalala ne bagamba nti kyava Bunyolo. Ko n’abandi nti kinnansangwa. Waliwo endowooza egamba nti Kintu ng’ajja mu Buganda, ku lugendo lwe ng’ali ne muganda we Lukidi, bwe baatuuka e Mangira mu Kyaggwe, baayawukana era ne bagabana abantu. Lukidi yalondamu ababe nga mw'abo mwe mwali ne Kaswiga. Kaswiga yasenga ku kasozi Kyankere. Yazaalirawo abaana bangi nga mwe mwali ne Lwekana eyamusikira. Nate Lwekana bwe yafa, Wangi n’asika. Wangi n’azaala Katongole, Kagolo, Lwera ne Kalibbala. Abaana bano bonna baawesezanga ku mugga Lusamule ng'ekiseera kino guli mu Ssingo. Katongole ye yasikira kitaawe Wangi.
Katongole ng’afuuka muganzi nnyo eri omukama Kyebamba. Ebbanga bwe lyayitawo, Katongole n’asigira omukama Kyebamba muwala we ayitibwa Nakayijja. Enakku waayita meka? Omuwala nga yetisse ettu lya Mugema. Kino kyasanyusa Kyebamba olwa Nakayijja okufuna olubuto. Ekiseera eky’okuzaala bwe kyatuuka, Nakayijja n’azaala bulungi. Ebyembi omwana gwe yazaala yali namagoye. Okuva edda n’edda nga namagoye tayagalibwa mu nsi. Abamu baamuyitanga musambwa. Era ebiseera ebisinga yattibwanga oba n’akwekebwa okuva mu b’eŋŋanda ze. Oluusi bwe yafanga, ng’ab’eŋŋanda ze bokka nga be bamuziikako ate mu kyama. Eky’okuzaala namagoye, kyatiisa Kyebamba. Era kwe kuyita abalaguzi be bamuwe ku magezi. Bamugamba nti okuba omulamu, ateekwa okutuga omwana. Katongole, Nakayijja wamu n’ab’eŋŋanda ze bonna battibwe. Awo Katongole n’akoona ku baana be, bakazi be wamu n’ab’eŋŋanda ze badduke baviire ekibabu olwo lwe banaawonya obulamu bwabwe. Katongole n’ab’eŋŋanda ze nga badduka, baatambulanga kiro eyo mu matta nsejjere baleme okulabibwa. Kale ŋŋaali bwe zaakaabanga, nga batandika okutambula. Kyokka emmambya bwe yabanga tenaasala, nga beekweka. Bino bye bifo ebikulu bye baasulamu bwe baava e Bunyolo; baasula Kagabo era abamu we baamwawukanirako ne basigala awo. Bwe baava e Kagabo ne bagenda bagwa e Lusiba nga wano Nakaddu we yasigala. Ebiro ebyaddako baabimala Kawula, okuva awo baasula Kisozi mu Gomba. Wano abaana ba Katongole abamu we baamuviirako ne bagenda basenga e Buganga eky'omu Mawokota. Katongole n’abaasigala ku mugendo ne bajja bagwa e Kankobe. Okuva awo baagwa mu Buddu. Wano baamanya nti tekyali muntu n’omu abawondera. Awo kwe kunoonya we banaakuba ensiisira zaabwe. Buddu baamuyitamu, okugenda okwejjukanya nga bali mu kibira Teero. Mu Teero mwalimu omugga nga munene ate nga gulimu ensonzi. Omugga guno gwakaayanirwa enjuyi bbiri; olwa Katongole n’olw’omutaka w'e Ssaango.
Bwe baalemagana, ne basalawo okukuba akalulu. Kwe kutegeka embaga y’omwenge okwali n’abagoma. Buli luuyi lwasimbawo omuwala omu. Era buli luuyi lwasimba amafumu ana. Ne bagamba nti “Anaazina n’amala yeetunga ku mafumu, anaaba awangulidde oludda lwe akagga”. Awo amazina ne gatandika okutyetyebulwa. Lukwanzi muwala wa Nembe yali yeesibye eddiba ly’ennyana mu kiwato kye ng’olubuto wamu n’ekifuba biri bweru. N’azina nnyo, ne yeetooloola amafumu emirundi ena. Awo ku mulundi ogw'okutaano, ne yetunga ku mafumu. Ne gamuyita mu kifuba n’avaamu omusaayi mungi, awo n'afa. Ab’emizira n’eŋŋoma ne bakuba okwo kw'ossa n’amakondeere ne bafuuwa. Olwa Lukwanzi okutuwangulira omugga. Bwe gutyo omugga ne gufuuka gwa ba nte n’okutuusa kaakano. Kyokka ye omuwala ow’e Ssaango yalemwa okugeetungako, kuba yagatya.
Omuwala bwe yayitanga mu Teero nga wa nte, abavubi nga bamuwa ensonzi nnyingi. Ne bwe yabeeranga omuto ng’ali ku mabega ga nnyina, nnyina baazimuwanga okutuusa lwe yagambanga nti “mulekere awo ezo zimala ze nnaayinza okwetikka”. Singa baazimummanga, nga nabo tebakwasa.
Nga bamaze okuvvuunuka byonna, Katongole yalonda ente enkuggu okuba omuziro gwaffe. Ne ŋŋaali okuba akabbiro kaffe. Olwo omubala ne guvuga nti “kigere kya nte mwajja mwelinya. Mbadde ngaleeta omusumba aganywedde”. N’omulala negugamba nti “ekyuma nkiridde, n’omukimba ngulidde. Bwe mbirya, bwe mbiwoza, binsanga mu ssasa”.
Ennono mu Ssiga
[kyusa | edit source]Okukulambululirako akatonotono, tuli bazzukulu ba Namutale-Kagolo muganda wa Katongole. Jjajjaffe Namutale-Kagolo yava Bunyolo ne jjajjaffe Katongole. Olubereberye Katongole nga yaakava e Bunyolo, baali bassa kimu ne Kagolo-Namutale. Obuzibu bwajja bwe buti, nti nga tumaze okuva e Bunyolo, twagwa ku mugga Kuziizi. Era ne tusiisira mu lusenyi lwagwo. Mu kisenyi kino twazaalirawo abawala babiri; omu nga ye Kuzizi nga tujjukira omugga guno we twasooka okusiisira. Ow’okubiri twamuwa erya Namaganda olw'okuba nti twali tumaze okuva e Bunyolo nga tuzze e Buganda. Mu kiseera kino twagwamu ekirwadde ekisonde. Kisonde linnya lya Lunyolo eritegeeza kabotongo. Kabotongo owaabwe yali akubya omuntu amabwa n'afaanana ng’omugenge. Ekirwadde kino ebyembi kyakwata bantu abaali mu lusiisira lwa Namutale. Katongole n’alondamu abantu mu lusiisira lwa Namutale abaali batannalwala kirwadde kino ekisonde. Era nga beekwatira mu lwa ngabi okwewonya ekirwadde ekisonde. Bw'atyo jjajjaffe Katongole bwe yayawukana ku jjajjaffe Kagolo-Namutale. Bw'atyo jjajjaffe Katongole n'adduka muganda we Kagolo-Namutale olw’ekirwadde ekisonde. Mu kugenda, yagenda n’abaana wamu n’abazzukulu ba Namutale-Kagolo era mu mikwesese gyonna Katongole gye yayitamu, yaggukira Bijja. Bijja kati erinnya baalikyusa bayitawo Bikira nga kiriraanye Kyotera mu Buddu. Era we yasiisirira ddala, n’okuziikwa n’aziikibwa awo. Mu lusenyi kumpi n’omugga Kuzizi, Katongole we yaleka Namutale-Kagolo. Katongole bwe yali agenda, yaleka atuumye enju ya Namutale abasonde nga mw’otwalidde abaanab e abaasigala, wamu n’abazzukulu. Olwo enda ya Namutale-Kagolo n’eyitibwa ekika ‘ky’abasonde’. Kale Namutale n’azaawa obutaddamu kuwuliza Katongole muganda we. Olw'okuba nga yali ayabuliddwa Katongole, nga n’ekika ky’ente kimuvuddemu, kwe kwefunira ekika ky’abasonde. Nga wayiseewo ebbanga eggereko, jjajjaffe Namutale n’abantu be bonna, baawona ebisonde. Awo kwe kuva mu lusenyi lw'omu Kuzizi ne batambula nga beeyongerayo. Mu lugendo lwaffe, twaggukira Lwange eky'omu Mawokota ew’omutaka ow’effumbe. Bwe yatulaba, n’atwaniriza era n’atutwala mu maka ge. Oluvannyuma, Namutale yannyonnyola omutaka w’effumbe engeri gye twawonamu omukama Kyebamba ow’e Bunyolo. Yamunnyonnyola olugendo lwonna, n’engeri Katongole gye yamuggyako abaana be n’amuleka ku mugga Kuziizi mu lusenyi oluvannyuma lw’okulwala ekirwadde ky’ebisonde. Namutale n’asaba omutaka w’effumbe batte omukago. Omutaka teyali mubi, nga batta mukago.
Mpozi omukago lwe luganda olugunjibwawo wakati w’abantu babiri beppo n’okusingawo nga ba bika bya njawulo. Mu mukago mubaamu endagaano egamba nti “ebibyo bye byange, n’ebyange bye bibyo, abantu bo baba bange, n’abange baba babo”. Kale gwe gwo omukago mu bumpimpi. Omukago guno Namutale gwe yatta n’omutaka w’effumbe, gwaleetera abamu ku baana n’abazzukulu okusala eddiiro ne badda mu kika ky’effumbe. Wano nga tuli e Lwange, twazaalirawo omwana omuwala ayitibwa Kalima muwala wa Bulojje, omwana we omubereberye.
Bwe waayitawo ekiseera, bakazi ba Namutale, abaana wamu n’abazzukulu b’abaana be ne beegugunga nga baagala Namutale-Kagolo agende anoonye abaana baabwe abaagenda ne Katongole. Namutale kwe kulagira abantu be basibe ebintu byabwe bagende banoonye abantu baabwe abaali bagenze ne Katongole. Awo kwe kusitula. Bwe baali mu lugendo, baagendanga babuuzabuuza oba waliwo eyali alabye ku Katongole. Abantu nga babagamba nti Katongole ali Ssese mu bizinga. Mu kiro ekyo nga bagenda, Namutale-Kagolo mwe yafiira olw’obukulu mu myaka. Ebisigala bye ne biziikwa e Ssentema-Lwanga mu Mawokota. Bulojje ye yasikira kitaawe Namutale-Kagolo era n’akulembera ekibinja ky’abantu ne balamaga olw’e Ssese. Wabula baba bagenda, mukazi wa Bulojje n’alumwa olubuto. Kwe kukutamako ku kasaka, ebyaddirira kwali kuzaala. Omwaana gwe yazaala kwe kumutuuma erinnya Nabisaka. Mu linnya lino mwe muva n’erinnya Nasaka, abaganda be baalikyuusa bwe baali baagala okutereeza olulimi oluganda. Oluvannyuma beeyongerayo n’olugendo lwabwe.
Bwe baatuuka ku nnyanja Lweru/Nalubaale oba giyite (Lake Victoria), ne balinnya obwato ne bagolomola mu bizinga by’e Ssese. Baggukira wa Mukasa ne bamweyanjulira, naye n’abaaniriza era n’abawa omutala. Nga wayiseewo akabanga, Mukasa yawasa muwala wa Bulojje Kalima. Kalima ono yayongerwako erinnya lya ‘Kabulojje’ olwo naaba nga ye Kalima-Kabulojje. Twasiisira ewa mukodomi waffe Mukasa. Ebbanga nga liyiseewo, Kalima-Kabulojje yalima nnyo era ng’okulima kwe kwatiikirivu mu Ssese. Mukasa n’asanyuka nnyo olwa mukazi we okuba nga mulimi bw'atyo era kwe kwogera nti “omukazi ono alimye omusiri ogulinga ennyanja”. Enjogera eno yagendera ddala mu maaso na buli kati naddala mu bitundu by’e Kiziba nga bagamba nti “ kalima kabulojje akalimira obusiri ng'ennyanja”. Ebbanga nga liyiseewo, ne tusiibula mukoddomi waffe Mukasa era ne twabulira obuko nga Katongole tetumulabyeyo. Wano Bulojje yali ne muganda we Basaaya n’abaana babwe wamu n’abalala. Awo kwe kujja e Kiziba, kubanga e Ssese gye baali batulagiridde, Katongole teyaliiyo.
Kiziba ggwanga lya ‘Bantu group’ nga bayitibwa Baziba n’olulimi lwe boogera luyitibwa Luziba. Basangibwa mu maserengeta g’ennyanja Nalubaale/Lweru. Bwe twali tujja twaggukira ku kaalo akayitibwa Buwanga. Bulojje naye ebirwadde byali byamukosa nnyo olwo kw'ossa eŋŋendo ennyingi ze yatambula, tezaamulekera bulamu. Awo n’alwala nnyo era n’afa, Basaaya muganda we n’amusikira. Mu mirembe egiyise, omuntu bwe yafanga nga muganda we y’amusikira. Basaaya kyeyava asikira Bulojje. Basaaya tamanyiddwako byafaayo bingi, wabula amanyiddwa ng’ow’omutuba. Basaaya teyamala bbanga ggwanvu naye n’afa. Ddamulira omwana we n’amusikira. Ekyaleetera Ddamulira okusikira Basaaya, kwe kuba nga baganda ba Basaaya bonna baali bamaze okufa.
Bwe lwali olwo nga wabaawo omulangira mu bwakabaka bw’ekiziba eyali agenzeeko mu bizinga bya Nalubaale. Bw’atuuka ku kizinga Busungwe, ng’asisinkanayo Semawule. Semawule n’amufumbira emmere. Omulangira bwe yalyako, n’awomerwa. Bwe yali ng’agenda, yamusuubiza nti bwe ndiwangula eno gye ŋŋenze ndikunona. Oluvanyuma omulangira ono yawangula era n’amunona. Yamuwa ekyalo Bukwale omwo mwe yavanga n’agenda amufumbira emmere. Semawule yazaala Kayondo ne Wangi. Wangi n’azaala Damulira. Omulangira ono yatuuka n'afa. Ne Ddamulira n’asenguka okuva e Bukwale n’adda e Buwanga.
Abantu ne bategeeza omulangira Kibi Kalanda mutabani wa Bulungu I kabaka w’ekiziba nti e Buwanga wazuuseeyo Abanyolo abamanyi okufumba okusinga abaffe e Kiziba. Kibi Kalanda n’abuuza nti “Bamanyi okufumba akatogo wamu n’emmere ey’eminwe ng’ey'eno e Kiziba?” Kwe kumugamba ng’Abanyolo bwe bateeka eby’okulya okusinga Abawaya b’e Kiziba bonna. Awo kwe kutuma ababaka okujja e Buwanga. Era ne batugamba nti “omulangira n’abagonza” ekitegeeza nti “abaagala”. Jjajjaffe Ddamulira kyeyava agenda ew’omulangira Kibi Kalanda. Kale bwe yatuuka mu maaso g’omulangira, omulangira n’amubuuza ebibuzo naye nga Ddamulira tamanyi Luziba. Ddamulira n’amuddamu nti “mpozzi yogera n’omwana wange ono Kagolo”. Awo Kagolo n’anyumya n’omulangira kubanga yali amanyi Oluziba. Ekyamuyamba, kwe kuba nga yajja mu Buwanga nga muto, kyeyava aluyiga. omulangira kwe kubuuza Kagolo nti “Omanyi okufumba emmere ay’akatogo?” Kagolo n'addamu nti “kitwayitu tukyumba muno okukira n’abawaya bawe”. Omulangira n’aseka n'amubuuza nate nti “n’osinga abaziba?” Kagolo n’amuddamu nti siyinzi kukulimba”. Awo Kibi Kalanda n'amubuuza nti “mwava wa?” Ko ye nti “twava Bunyolo”. Omulangira n’amubuuza nti “nsonga ki eyabaggyayo?” Awo Kagolo n’amunnyonnyola nga bwe byatambula nga bajjajjaffe bava e Bunyolo. Awo Kibi n’abagamba baddeyo e Buwanga, amangu ddala nga wayise ebiro bina, mujja kujja munfumbire. Ennaku nnya tezaalwa ne zituuka. Ddamulira n’abamu ku baana be nga bajja ew’omulangira n’obutamu bwabwe, buli bwe bafumbirangamu obulo bwabwe mu ŋŋendo zaabwe zonna tebaabuleka mabega. Awo omulangira n’abaaniriza era n’abayingiza mu kisaakaate kye. Abaziba abaali bamufumbira baagaana Ddamulira okufumbira mu butamu bwe, nga baagala afumbire mu bwabwe. Kyokka Ddamulira n’abaziyiza ng’alowooza bayinza okumukola obubi. Era n’agamba Kagolo nti “mufumbe mu zaffe”. Awo ng’Abaziba bawakana nnyo. Era nga baagala n’okuteekawo olutalo. Kagolo ye olw’okuba nga yali amanyi olulimi lwabwe, kwe kugenda n’aloopa omusango ew’omulangira. Omulangira n’ayita enjuyi zombi era ne bawoza. Okukkakkana, ng’omusango gusinze Baziba. Kagolo nga yeyanza mulangira olw’okusala obulungi omusango. Awo nga baddayo mu ffumbiro kufumba, era nga baleetera omulangira emmere. Bwe yalyako, ng’akungiriza obuwoomi bw’emmere ng’alangirira nga bw'ajjanga okulya emmere y’Abanyolo. Awo kwe kugoba abaziba bonna abaali bamufumbira.
Abaziba nga bamaze okugobwa mu kisaakaate, baakwatibwa obuggya eri Ddamulira. Kwe kugenda ewa kabaka Bulungu I ne baloopa, nga bamugamba nti “Omwana wo Kibi Kalanda ajja kukutta alye obwakabaka bwo. Kubanga asomoka ennyanja n’ebigere nga tewali lyato”. Kituufu omulangira yateranga okusomoka ennyanja n’ebigere n’atuuka gye yayagalanga. Kabaka Bulungu I eby’abaziba yawuliramu eky’okumuggyako obwakabaka bwe era ne yeeraliikirira. Kwe kutumira Kibi Kalanda ababaka okumugamba ave mu nsi ye. Era ababaka ebigambo ebyabatumwa baabituusa bulungi eri omulangira. Kwe kumugamba nti “Siba ebintu byo byonna ove mu nsi ya kitaawo, ogende gy’oyagala yonna kubanga akugobye”.
Bw'atyo Kibi Kalanda ng’agamba abantu be budduke, bagende gye baligwa. Ng’agamba ne Kagolo nti “Namwe musibemu ebyammwe twabulire Kiziba kubanga kitange angobye mu nsi ye”. Kale Ddamulira n’abantu be ewaabwe e Buwanga baddayo kubasiibula. Bwe batyo bwe baava e Kiziba ng’omulangira abakulembedde. Bwe yagoba ku mwalo e Ddimo mu Buganda n’alaba olusozi nga kuliko ekibira. Bwe yayingira mu kibira, n’alaba nga mulimu ettaka ejjimu nga ddungi n’okusinga ery'ewaabwe e Kiziba, kitaawe gye yamugoba. Awo kwe kugamba basajja be nti “wano we nsiimye era buno bwe butaka bwange wamu n’abazzukulu bange. Kale n’okutuusa kati obutaka bw’essiga lya Kibi Kalanda ow’engabi ennangira ye Kiziba. Abasajja b’omulangira bwe baali basiisira, nga Ddamulira atudde butuuzi, ng’eno Kagolo n’abaana be bali ku mulimu gwabwe ogw’okufumbira omulangira akatogo. Obutakulwisaayo nga simenye kawonvu na kagga, awo ne wayitawo emyaka ng’ebiri oba esatu egy’ekizungu. Ne wajja omuntu n’abanyumiza ennaku gy’ayiseemu. Omusajja ono yali munaku ng’emmese y'omu Kkereziya. Omusajja oyo n’anyumiza Kibi, Ddamulira ne Kagolo mutabani we ebigambo ebyasanyusa Ddamulira bye biibyo ebyabazaawula ye n’eŋŋanda ze bonna. Ddamulira kwe kumubuuza ekyalo gye yali abeera. Mpozzi okukwongera okukubugumya ku bwongo, Buddu yonna yali Bunyolo nga n’abantu baamwo Banyolo. Naye Ssekabaka Jjunju eyafuga obuganda wakati wa 1754-1764, n’aliwangula ng’ayita e Kiganda. Yateekamu omwami we Luzige ow’endiga abe pokino.
Omusajja n’amuddamu nti “mbeera mu Bagabo b’e Mulema abaweesi”. Ko Ddamulira nti “erinnya ly’omuweesi y'ani?” Ko ye nti “ye Lwegaba alina ne baganda be Lukyamuzi ne Nakana”. Ddamulira kwe kuva we yali attudde kuba yali amaze okuzaawuka. Ddamulira n’ategeerera ddala nti bebaabo baganda be ne bajjajjaabe. Ddamulira n’aleka Kagolo ne banne e Ddimo n’agenda n’oli omusajja. Bwe baatuuka e Mulema, ewa Lwegaba, ng’amusanyukira. Awo Lwegaba kwe kuyita Nakana e Birongo. Ddamulira kwe kubabuuza nti “Jjajjafe Katongole ali luuyi wa?” Ko bo nti “yafiira Bijja” (Bijja ekiseera kino ye Bikira) obulwadde bwa kawumpuli. Oluvannyuma Ddamulira n’asiibula n’akomawo e Ddimo ewa Kibi Kalando mukamaawe. Nga wayise emyezi ebiri, n’asiibula Kibi Kalanda. Kwe kujja n’atuuka mu katala nga kaliko akabira n’azimba, era n’abeera awo wamu ne Kagolo n’abaana be abalala. Ng’amaze okuzimba, yagenda e Buwanga gye yali alese bakazi baabwe wamu n’abaana baabwe n’abanonayo. Kyokka abakulu abaali bawasizza baasigalayo. Ddamulira n’abeerera ddala mu kaalo ako.
Abantu abajjanga okumulaba nga bagamba nti tugenda wa Ddamulira. Okuva olwo akaalo nga kafuna erinnya ‘Ddamulira’ nga mukama waako n’okutuusa ku mulembe guno. Ddamulira bwe yalaba nga waali wafunze nga takyalina waalima n’abaana be, kwe kusalawo okugenda anoonye awagazi nga wajimu kuba akaalo Ddamulira kaali kakalu emmere nga tedda bulungi. Ddamulira kwe kulengera omutala Kyamiiru. Bwe yagulambula, nga mulungi akukamala. Ettaka nga jjimu ate nga ddungi. Omutala guno gwali guliraanye ennyanja Lweru oba Nalubaale. Kyamiiru aliraanye obwalo Ddamulira, Nabitaka wamu ne Kiwumulo. Bw'atyo Ddamulira kwe kutandika okulima omutala Kyamiiru. Lumonde bwe yassaako wamu n’ebitooke nga bikuze, kwe kuddayo e Ddamulira n’alagira abantu be basibe ebyabwe. Awo ne bajja e Kyamiiru. Bw'atyo Ddamulira n’abeerera ddala mu Kyamiiru era n’afuuka mutaka waakwo. N’azaawuka era n’agenda alabagane n’oluganda lwe. Yasooka kulaba Lwegaba ne Nakana e Bironge. Awo n’addako Kayabula e misonzi, n’alaba Wangi e Mulema, Kamuli e Kyatokoolo, n’alaba Lukyamuzi e Kabanda. Kwe kubategeeza nti tuzaawuse era tuzze mu kika kyaffe eky’ente. Kati tuzzeeyo mu kika kyaffe eky’ente eteriiko mukira. Ddamulira bw'atyo bwe yamala okuzaawuka, n’adda mu kika kye, n’afuuka ow’ente. Nate n’addamu okuyitibwa omugabo oba omukooza nga bwe yayitibwanga e Bunyolo. Ddamulira n’abeera e Kyamiiru okutuusa lwe yafa. Omulambo gwe ne baguzzaayo e Buwanga mu Kiziba ku butaka bwe obwasooka. Omwaana we Kagolo n’amusikira. Bw'atyo Kagolo n'addukanya omutala Kyamiiru. Awo kwe kutandika okunoonya omukazi. Teyalwa ng’agenda ewa Balukake e Buliro ayogereze omuwala Matwale. Bw'atyo Kagolo n’awasa Matwale omuwala omusiita muwala wa Balukake. Balukake yali mugagga era nga mutaka mulyambidde. Teyalwa ng’abeera lubuto, kwe kuzaala omwana omulenzi n’amutuuma erinnya Bugala. Ddamulra yazaala n’abaana.
Obulombolombo n'Emizizo
[kyusa | edit source]Obulombolombo bye bintu ebigobererwa okuva ku bajjajjaffe paka ku bazzukulu. Ebintu bino ziyinza okuba empisa oba emirimu. Bikuumibwa butiribiri obutasobezebwa nga na buli abisobya aba akoze eky’omuzizo. Obumu ku bulombolombo mu ssiga lyaffe mwe muli;
Okuva edda nga tetulya nte nkuggu wadde okunywa amata gaayo. Omwezi bwe gwabanga gwakagabo, nga tetulya kya ggulo. Singa gonja oba ettooke lyassanga nga telirina mpummumpu, mu ssiga lyaffe tetwabiryanga. N’ettu ly’emmwanyi singa lyasibwanga ne wabulako akaayi akayiseeko, eryo lyalinga muziro.
Nate ku ludda lw’emizizo mu ssiga lyaffe mwe muli;
Abazzukulu bonna mu ssiga lyaffe, tetukkirizibwa kufumbiriganwa. N’omuwala okufunira olubuto ku luggya kya muzizo mu ssiga lyaffe.
Mu ssiga lyaffe tusobola okubbula amannya ag’engero naye ag’essiga n’ag’ekika tetugabbula.
Mu mikolo gy’okwabya ennyimbe, tetukkirizibwa kwabizaawo lumbe ku olwo omuntu lw’afudde oba nga tannaziikwa. Emikolo gy’okumala abalongo, n’ebikwatagana ne lubaale nga mw’otwalidde okusamira, mu ssiga lyaffe bikolebwa bampya oba nnyiriri abo abakwatibwako so si mituba oba essiga lyonna.
Emituba mu Ssiga
[kyusa | edit source]Jjukira ku ntandikwa nga bwe tulabye nti okunoonya ebyafaayo tekinnaba kintu kyangu, kale nange okuzuula emituba egiri mu ssiga lya Kagolo tekyambeerera kyangu olw’ensonga nti abantu abamu bennatuukangako, tebaasobola kumpa bye nnali nnetaaga nga bikwata ku ssiga lyaffe lino erya Kagolo. Kale bw’osanga ng’omutuba mw'ova siguwandiseeko, tokitwala bubi, wabula tegeeza omukulu w’essiga tulongoseemu we tuba twawaba.
Omutuba gwa Bugala
[kyusa | edit source]Bugala mutabani wa Ddamulira nga nnyina ye Matwale.
Bugala ng’akuze, yazaala omukazi ayitibwa Kasangirwa. Yagenda ku muganga n’amuwa eddagala eryaleetera Kasangirwa okukoma ku Nakate omwana gwe yazaala omu. Oluvannyuma bugala yagenda ku mmandwa n’afuna eddagala era n’azaala abaana bangi. Waayitawo ebbanga ddene, Bugala n'afa. Omulambo gwe ne guziikibwa e Kyamiiru. Era ye yasooka okuziikibwa e Kyamiiru. Bw'atyo Ssemwanga mutabani we n’amusikira. Ssemwanga teyayitimuka nnyo engeri gye yali omwavu ate nga yali mulenzi muto. Yafa tazadde mwana kuba yali muwuulu. Ne nnyina yali mukazi munyage. Oluvannyuma Victor Kitungulu ya musikira nga naye nnyina yali munyage. Oluvanyuma twava e Kyamiiru mu 1907 olwa mongoota. Nange e Kyamiiru we twatuukira nnalabawo mu 2008 naye nga tewakyali muntu yenna nga kati bibira by’olaba byokka.
Peter Sulwe, Sayira, Kwabufu. Petero Sulwe yazaala Alfred Damulira, Petero Baligwa
Alfred Ddamulira yazaala Denis Mukungu, Dolothy Nakalima/ Nabakooza (I), Antony Sayira, Matida Kyolaba, Christine Namaganda yaffa 31 Oct 2007.
Abaana ba Alozio Kwabuufu
17 Apr 1951 Semanda Vicent
04 Mar 1967 Sempijja Patrick
00 ….. 1964 Luwerekera Charles
18 Jan 1966 Lukyamuzi Augustine
30 Jun 1961 Lwebuga Gyaviira
09 Jul 1963 Nabuuma Elizabeth
18 Jun 1972 Kizito Sayira
10 Aug 1975 Dolothy Nabakooza (II)
16 Apr 1978 Katongole Peter
06 Sept 1983 Bulojje
27 Jan 1980 Namulema Christine
20 Mar 1983 Lwesabula John Bosco
20 Jun 1977 Ssemanda Francis
16 Dec 1978 Lwasampijja Thomas
15 Sept 1980 Mulema Lawrence
25 Apr 1982 Namanda Vicencia
26 Oct 1983 Ddamulira Damiano
06 Dec 1984 Nakagolo Agnes
23 Jul 1986 Rocks Peter Basaaya II
08 Nov 1987 Naluwugge Cissy
27 Aug 1989 Nabasumba Eva
bano be baana ba Basaaya Rocks Peter
- Joshua Muwuulya
- Joel Kagolo Bugala
- Esther Nansinjo
Omutuba gwa Bisaayo
[kyusa | edit source]Bisaayo bwe yava e Kyamiiru n’asenga e Nkoma nga kati kiri mu ggombolola Kyanamukaka. Bisaayo teyalwa ng’azaala abalongo. Bisaayo agambibwa okuba nga yawangaala nnyo. Oluvannyuma yaffa olw’agalwadde okwo ssaako n’eŋŋendo empanvu ze baatambula tezaamulekera bulamu. Mutabani we Basiga n’amusikira. Basiga yazaala Kipande, Zakalia Bakulumpagi, Kagumira, Ntate I, Lutaaya wamu ne Nsibuka e Kijonjo. Basiga ye yafiira Gulama. Basiga yasikirwa muzzukulu we Vicitoro Mitiabala. Mitiabala yasikirwa mutabani we Yozefu.
Omutuba gwa Kyekuza
[kyusa | edit source]Kyekuza yali mutabani wa Wangi. Kyekuza agambibwa okuba nga yazaala abaana bangi. Ye teyawangaala nnyo wabula naye yafa mangu. Mutabani we ayitibwa Isiŋoma n’amusikira. Isiŋoma mu baana be yazaala mwe mwali ne Muyaza era ye yamusikira. Olwo ye Muyaza ng’amaze okufa, yasikirwa Lutwaala. Lutwaala ng’amaze okufa, waayitawo ebbanga eggereko, ng’olumbe lwe terunnayabizibwa. Wabula oluvannyuma lwayabizibwa era Ssengooba mutabani we n’amusikira. Ssengooba yasikirwa Luka Kayiruki. Oluvannyuma, Luka Kayiruki yasikirwa muzukulu we Kiyimba kuba we yafiira nga batabani be bonna bamaze okufa.
Omutuba gwa Kadoma
[kyusa | edit source]Bino bye nnasobola okuwandiika ku mutuba guno nga byampeebwa omwami Galwoko Julius. Eno y’ensikirano yaagwo. Kadoma ng’amaze okufa, yasikirwa Miyingo. Miyingo n’asikirwa Namunye. Oluvanyuma Namunye yasikirwa Ssempogo. Bano be baana n'abazzukulu abava mu mutuba gwa Kadoma.
Kadoma yazaala
- Muwuulu
- Kasoloolo
- Muyingo
- Kasooli
- Luwugge
Muwuulu yazaala Nkambwe ne Siyombera.
Bano be baana ba Nkambwe:
- Semusambwa
- Galwoko Yakobo
- Ndikolakawuggu
- Yowakimu Bazitya Wanji
- Nalongo Bwayiika
- Veneneka
1:Ssemusambwa yazaala Bagenda, ye n'azaala Zuluzansi, Muwuulu, Yozefiina ne Kasajja.
2:Galuwoko Yakobo yazaala Kasajja Adrian , Mayikya , Kandida , Zabeeti
Kasajja Adrian yazaala abaana bangi nga be bano wammanga;
Lwanga Paul , Kakooza Peregino , Mangadarena Mubiite , Nakate Maria Solomy , Nakagaaju Priska , Butabira Todosia , Nabakooza Anna Maria
Lwanga Paul yazaala bano;
Katongole John , Lukyamuzi Edward , Nakyanzi Rose , Kakooza Mande , Namanda Agnes
Bano be baana ba Katongole John
- Semanda George
- Kakooza Denis
- Kakooza Fred
- Lwasa
- Wasswa
- Kato
- Katongole
- Nabuuma Gorret
- Nakaweesi
- Nabasumba Gatrude
- Kigongo
- Nakyanzi Fraska
- Sempijja Denis
Kakooza Mande omwana wa Kasajja Adrian yazaala bano;
Sempijja, Kakooza Tonny , Mzee Paul Lwanga, Nabakooza Frolance , Namugenyi Debra
Lukyamuzi Edward omwana wa Kasajja Adrian bano be baana be yazaala;
Nanyondo Joan , Nakate Betty , Nakalima Jesca , Nakyanzi Calorine , Namulema Treccy
Kakooza Peregirino naye nga mwana wa Kasajja Adrian yazaala bano;
Semawule John Bosco Kyakuwa , Senyondo Vicent , Namaganda Prossy
Yowakimu Bazitya omwana wa Nkambwe bano be baana be;
Luka Baanabakintu Lwebuga, Siyombera Santo, Valanta, Mariserina Mubiite, Pia
Luka Baanabakintu Lwebuga ye yazaala;
Galuwoko Julius Semanda, Ddamulira Leopoldi, Kakooza Charles, Nalongo Salafiina Nakiyimba Kinsambwe, Nakate Rose Mary, Namaganda Mary Lubega, Namanda Teddy, Banfjisibani Kucia
Galuwoko Julius bano be yazaala;
Lukyamuzi Leonald Salongo, Katongole Julius, Mulema Bosco, Wanji Geofrey, Kaweesi Martin, Senyondo Denis, Nasaazi Grace, Namanda Harriet
Mulema Bosco yazaala;
Nabuuma Gatrude, Nabasumba Farazia, Mugenyi Emmanuel, Namaganda Mauricia, Namuwuulya Victoria
Kakooza Charles yazaala;
Sekyanzi Patrick, Lwesabula Joakim, Namulema Solomy, Lwasa Lorance, Nansasi Scovia, Nalugo Stera
Ennyiriri n'Empya mu Ssiga
[kyusa | edit source]Eno y’entegeka eyakolebwa abagenzi Kakulu Gyagenda ne Genatio Gyagenda abaaliko abakulu b’essiga lya Kagolo. Yawandiikibwa era n'eterekebwa muzzukulu waabwe Bulojje Y ow’e Kajjwa. Ekubiddwa mu kyaapa nga tekyusiddwakyusiddwa Basaaya Rocks peter. Olukiiko luno omulamwa gwa lwo gwali gwa kutereeza nnyiriri mu ssiga.
Nga bwe twalaba engeri gye twajjamu mu Buganda, ka nkulambululire abantu abaava e Bunyolo. Bulojje ne Kiyimba nga Nkonjwe kitaabwe yasigalayo e Bunyolo. Bo mu kujja bajja n’abaana baabwe babiri; Kayondo ne Ssemawule. Mu kujja kwabwe baatuukira Lwanga mu Mawokota. Wano baalwawo. Mu kiseera ekyo, kabaka n’atuma Bulojje e Ssese okunonayo (ddamula) effumu erikuuma Obuganda. Bwe yatuukayo, n’azaayo omusango, era n’akomawo e Buganda. Kabaka kwe kumugoba nate addeyo e Ssese. Bwe yatuuka, Mukasa n’amuwa ekyalo Nkoma olwo ye n’akituuma Bulima. Ekiseera kino yali amaze okuwa Mukasa muwala we Kalima. Muganda we Kiyimba yasigala e Lwanga mu Mawokota we baatuukira. Bulojje n’abeerera ddala e Ssese. Mutabani we Ssemawule n’amulekawo, n’agenda ku kizinga Busungwe okuvuba. Ssemawule yazaala Kayondo wamu ne Wangi. Wangi olwo n’azaala Ddamulira. Ddamulira n’agenda asenga ku mutala Kyamiiru. Ddamulira yazaala Kagolo, Kiwuka ne Bemba. Kagolo yazaala omwana omu Bugala.
AG’ABASAJJA
- Teluma
- Sayira
- Nsibuka
- Mpendeke
- Googwa
- Tegaleka
- Bakubanja
- Bugala
- Mugulwa
- Bulojje
- Maswanku
- Mujwega
- Bisaayo
- Nkumba
- Kakulu
- Ssemawule
- Kadoma
- Ssengomba
- Kiyimba
- Senkumba
- Kyekuza
- Basiga
- Kabiriizi
- Mundu
- Kabugujjo
- Lutemanzi
- Kikulwe
- Sulwe
- Lukunyu
- Ssekisambu
- Makenge
- lutaliruzza
- Kasooli
- Basaaya
- Kirima
- Namunye
- Bakale
- Ssempogo
AG’ABAKAZZI
- Nabugala
- Namugulwa
- Nabulojje
- Namaswanku
- Nabasaaya
- Namujwega
- Nabisaayo
- Nankumba
- Nakakulu
- Namawule
- Kabulojje
- Nangomba
- Nakiyimba
- Nankumba
- Nakyekuza
- Nabasaaya
- Nabasiga
- Nakabiriizi
- Namundu
- Nakabugujjo
- Nalutemanzi
- Nakikulwe
- Nalukunyu
- Nakisambu
- Namakenge
- Nalutaliruzza
- Nakasooli
- Karima
- Namunye
- Nabakale
- Nampogo
- Bakubanja
- Tegaleka
- Nagoogwa
- Nampendeke
- Nansibuka
- Nasayira
Okuwumbawumbako
[kyusa | edit source]Ekitabo kino kiwandiikiddwa Basaaya Rocks Peter, nga kikwatagana n’ensibuko y'essiga lya Kagolo mu kika ky’ente. Alaga engeri ebika gye byajjamu wano mu Buganda; Akunyumiza engeri Katongole gye yagobwa mu Bunyolo, n’okujja kwe mu Buganda. Bwatuuka ku ssiga lya Kagolo, akulambululira engeri Kagolo Namutale gye yayawukanamu ne muganda we Katongole. Engeri gye baagendamu e Kiziba wamu n’e Ssese. Oluvannyuma Kagolo gye yafunamu obutaka e Kyamiiru. Omuwandiisi akunnyonnyola emituba, ebyafaayo byagyo, n’abagikulira. Annyonnyola ensikirano y’essiga okuviira ddala ku Kagolo Namutale. Amaliriza n’amannya agatuumibwa mu ssiga lyokka. Omuwandiisi yasomera mu Kalisizi P/S Lwengo-Masaka. Gye yava n’asomera mu Shimoni Demonstration School . Emisomo egya waggulu yagisomera mu Kako’s High School, Bweyogerere-Wakiso. ne ku Our Lady Consolata sss, Kireka-Kampala. Muyivu nga yasomera mu tendekero ly'eby’obusuubuzi e Nakawa n'afuna diguli mu BaBA. Basaaya (talk) 20:06, 20 Gwakkuminogumu 2016 (UTC)