Jump to content

Essomabiramu

Bisangiddwa ku Wikipedia
  1. REDIRECT Template:Charles Muwanga
Essomabulamu
Biology

Essomabiramu (Biology) ssomo erikwata ku kalonda yenna ow'ebitonde ebiramu. Essomabiramu lirimu ebiti ebikulu bisatu:

  1. Essomabulamu bwa nsolo → (Animal biology). Muno mulimu essomo lya "essomansolo (Zoology)
  2. Essomabulamu bwa bimera → (Plant biology). Muno mulimu "essomabimera"(Botany)
  3. Essomabulamu obusirikitu → (Microbiology)

“Essomabiramu” kitegeeza essomo ly’ebiramu. Essomo lino lyesigama ku butonde bw'obulamu obw'obutaffaali (the cellular basis of living things) , amasoboza agakozesebwa mu mutereezabulamu (the energy metabolism that underlies the activities of life), n’obuzaale obusikirwa buli kiramu okuva mu kizadde oba ebizadde byakyo( the genetic bases for inheritance in organisms).

Essomabiramu(Biology) era kirimu okusoma okweyubula kw’ebikula(the evolution of spieces) n’akakwate k’okweyubula(evolutionary rerationships) akali wakati w’ekiramu ekimu n’ekirala awamu n’ensengeka y’ebiramu eby’enjawulo ku Ensi. Essomo lino linoonyereza ne ku bayologia w’obulamu obusirikitu( microorganisms), ebimera,n’ ensoloplants, era ne kikunganyiriza embeera ya bino eya buli lunaku.

Essomabiramu lyewolako ne mu “essomatomu”(kemisitologia) awamu ne mu “essomabuzimbe”(fizikologia) nga zikozesa amateeka ga sessomo(disciplines) zino ku biramu.

Sessomo lya essomabiramu(biology discipline) lirimu amatabi mangi kategole ez’engezeso(practical) ne eza emigereeso(theoretical). Mu Bayologia ow’engezeso mulimu :

  1. okuzaalisa ebimera (plant breeding),
  2. okutondeka enkola z’okukuuma ebisolo byo mu nsiko (wildlife management),
  3. sayansi w’obujanjabi (medical science),
  4. Ebyamalimiro n'okulima ebirime (Agriculture and crop production).

Ate mu kigereso ky'Essomabiramu (theoretical biology) mulimu sessomo (disciplines) nga :

  1. Okusoma obuzimbe bw’ebiramu (physiology),
  2. Essomabiziba mu biramu (biochemistry),
  3. Ensengekera z’ebiramu (Life taxonomy),
  4. Entababutondene (Ecology)
  5. Essomabulamu obusirikitu (microbiology).