Jump to content

Isaac Musumba

Bisangiddwa ku Wikipedia


 

Musumba Isaac Isanga Munnayuganda Munnamateeka era Munnabyabufuzi. Yaweerezaako nga Minisita Omubeezi ow'ensonga z'ebitundu by'ebweru, okuva mugwomukaaga 2006 okutuusa mugwokutaano 2011.[1] [2] Mu nkyukakyuka za kabineeti nga 27 Ogwokutaano 2011, yasuulibwa okuva ku Kabineeti era Asuman Kiyingi nadda mu kifo kye.[3] Yakolako nga Omubaka wa Paalamenti (MP) omulonde, akiikirira "Buzaaya County", Disitulikiti ye Kamuli, okuva mu 1996 okutuusa mu 2011. Mu kulonda kwa 2011, Muzaale Martin Kisule Mugabi yamuwaangula, mu kulonda kwekibiina ki National Resistance Movement (NRM).[4][5] Mu 2016, yakomawo mu Paalamenti ey'ekkumi (2016 - 2021), okukiikirira Buzaaya County, mu Disitulikiti ye Kamuli , ku kaadi ya NRM.[6] Mu kalulu ka 2021, Martin Muzaale yamuwangula mu kalulu k'ekibiina ki NRM naasalawo okwesimbawo nga tali mu kibiina kyonna era naawangulwa eyali akwatidde NRM bendera, Muzaale Martin Kisule Mugabi[7][8]

Obuto bwe n'okusoma kwe

[kyusa | edit source]

Musumba yazaalibwa mu Kamuli District, nga 16 ogwekkumi n'ebiri 1961. O-Level yagisomera ku Jinja College. Naagenda ku Namasagali College gye yasomera A-Level, naatikkirwa ne High School Dipulooma mu 1980.[9]

Alina diguli ya Bachelor of Laws (LLB), okuva e Makerere University, Yunivaasite esinga obukulu n'obunene mu Uganda. Yagenda okufuna Diploma mu Legal Practice, okuva ku Law Development Center, mu Kampala, ekibuga ekikulu ekya Uganda. Diguli ye eya Master of Laws (LLM), nga akuguka mu mateeka ag'ebyemisolo, nayo yamuwebwa Makerere University, mu 1992.

Emirimu gye

[kyusa | edit source]

Okuva mu 1985 okutuusa mu 1991, Isaac Musumba yakola nga principal legal officer mu Minisitule y'ebyensiimbi. Oluvannyuma yakola nga Administrative Commissioner, mu Kitoongole ekiwooza ky'emisolo mu Uganda (URA) okuva mu 1991 okutuusa 1993.

Mu 1994, yalondebwa ku Constituent Assembly eyabaga Ssemateeka wa Uganda, owa 1995 ekifo kyeyalimu okutuusa 1995. Yalondebwa nga omubaka wa Paalamenti ya Uganda mu 1996, okukiikirira "Buzaaya County", Disitulikiti ye Kamuli. Yaddamu nalondebwa mu 2001 ne mu 2006. Mu 2011, yawangulwa Martin Muzaale kati ali mu ntebe nga Omubaka wa Paalamenti.

Mu 2001, yalondebwa nga Minisita omubeezi ow'enteekateeka. Ekifo ekyo yakisigalamu n'oluvannyuma lw'enkyukyuka mu kkabineeti nga 14 Ogwoluberyeberye 2005.[10] Mu gwomukaaga 2006, Isaac Musumba yalondebwa nga Minisita omubeezi ow'ensonga z'ebweru (Regional Affairs), ekifo kyeyaweererezaamu okutuusa Ogwokutaano 2011, bwe yasuulibwa okuva ku kkabineeti oluvannyuma lw'enkyukakyuka.

Salaamu Musumba.jpg

Laba nabino

[kyusa | edit source]

Ebijuliziddwamu

[kyusa | edit source]
  1. https://www.parliament.go.ug/mp_database/profile.php?mid=309
  2. https://web.archive.org/web/20141211112501/http://www.newvision.co.ug/D/8/12/501695 https://en.wikipedia.org/wiki/New_Vision
  3. https://www.facebook.com/note.php?note_id=10150208384704078&comments
  4. https://web.archive.org/web/20150402124312/http://www.newvision.co.ug/D/8/13/731269
  5. "Archive copy". Archived from the original on 2016-03-04. Retrieved 2024-09-14.{{cite web}}: CS1 maint: archived copy as title (link)
  6. https://ugandaradionetwork.com/story/kamuli-returns-isaac-musumba-kizige-to-parliament
  7. https://chimpreports.com/minister-musumba-defeated-in-buzaaya-by-kadaga-ally/
  8. https://www.monitor.co.ug/uganda/special-reports/elections/voters-speak-on-why-they-kicked-out-24-ministers-vp-3262462
  9. https://www.parliament.go.ug/mp_database/profile.php?mid=309 https://en.wikipedia.org/wiki/Parliament_of_Uganda
  10. https://web.archive.org/web/20150402131338/http://www.newvision.co.ug/D/8/12/411869 https://en.wikipedia.org/wiki/New_Vision

Ewalala w'osobola okubijja

[kyusa | edit source]