Jump to content

James Nsaba Buturo

Bisangiddwa ku Wikipedia
Buturo Nsaba

James Nsaba Buturo munnabyabufuzi munnayuganda. Ye minisita omubeezi ow'empisa n'obwesimbu mu woofiisi y'omumyuka wa pulezidenti wa Uganda mu kabneeti ya Uganda okuva nga 1 Ogwomukaaga 2006[1] okutuusa lwe yalekulira nga 15 Ogwokusatu 2011. Mu kukyusakyusa mu baminisita ba Uganda okwaolebwa nga 27 Ogwolutaano 2011, era ekifo kye ne kiweebwa Father Simon Lokodo.[2] Era yaweerezaako ng'omubaka wa paalamenti omulonde akiikiira ekitundu kya "Bufumbira County East",mu disitulikiti y'e Kisoro , okuva mu mwaka gwa 2001 okutuuka mu mwaka gwa 2011. Mu mwaka gwa 2011 mu kulonda kwa bonna, Nsaba Buturo yawanguwa Wagahugu Kwizera ow'ekibiina ky'ebyobufuzi ekya National Resistance Movement mu kamyufu era ng'ono ye yali omubaka wa paalamenti eyali mu kifo kino. Nsaba Buturo yalemerako okuvuganya mu kulonda kwa bonna era yeesimbawo ku bwannamunigina wabula era yawangulwa.[3]

Obuvo n'okusoma

[kyusa | edit source]

Yazaalibwa mu disitulikiti y'e Kisoro , nga munaana (08) Ogwomunaana on 18 1951. Alina diguli mu byobufuzi n'obukulembeze gye yafunira ku ssettendekero ya Makerere University, ssettendekero ya Uganda esinga obukadde mu Uganda, eyatandikibwawo mu mwaka gwa 1922. Era alina depulooma mu Developmental Administration, era gye yafunira e Makerere. Yalina diguli eyookubiri mu Developmental Administration gye yafunira mu yivaasite ya University of Birmingham mu ggwanga lya United Kingdom. Oluvannyuma yafuna diguli eyookusatu eya Doctor of Philosophy era mu kisaawe kye kimu, era mu Birmingham.

Emirimu

[kyusa | edit source]

Okuva mu mwaka gwa 1977 okutuuka mu mwakagwa 1986, yaweerezaako ng'omukungu wa District mu gavumenti ey'ebitundu. Oluvannyuma yasenguka n'agenda mu ggwanga lya United Kingdom, gye yaweerereza ng'omukungu w'ebyenkulaakulana okuva mu mwaka gwa 1989 okutuuka mu mwaka gwa 1995. Mu mwaka gwa 1999 yakomawo mu Uganda era n'alondebwa nga ssenkulu w'okuteekateeka n'okulondoola ekitongole ekirwanyisa akawuka akaleeta obulwadde bwa mukenenya (Uganda AIDS Commission) ekifo kye yaweererezaamu okutuuka mu mwaka gwa 2001.

Mu mwaka gwa 2001, yayingira ebyobufuzi era n'alondebwa ku kifo kifo ky'oubaka wa paalamenti akiikirira ekitundu kya "Bufumbira County East", mu disitulikiti y'e Kisoro . Era yaddamu okulondeba mu kifo kye kimu mumwaka gwa 2006. Okuva mu mwaka gwa 2001 okutuuka mu mwaka gwa 2006, yaweerezaako nga minisita omubeezi ow'ebyamawulire n'ebiweerezebwa ku mpewo.[4] Yazzibwa mu kifo ky'obwaminisita w'amawulire mu kukyusakyusa mu baminisita okwakolebwa nga 13 Gatonnya 2005. Mu kukyusakyusa mu baminisita okwakolebwa mu Gwomukaaga gwa 2006, yalondebwa nga minisita omubeezi ow'empisa mu woofiisi y'omumyuka womukulembeze w'eggwanga Mu Gwokusatu gwa 2011, yawangulwa ku kifo kye eky'obubaka bwa paalamenti era n'alekulira ku ky'okubeera minisita.[5]

Ebimukwatako ng'omuntu

[kyusa | edit source]

James Nsaba Buturo mufumbo[6] ne Edith Buturo. Wa kibiina ky'ebyobufuzi ekya National Resistance Movement. Kigambibwa okubeera nti ayagala nnyo okusoma n'ebyobufuzi..

Laba ne

[kyusa | edit source]

Ebijuliziddwa

[kyusa | edit source]