James Zikusoka
James Mbuzi Nyonyintono Zikusoka (11 November 1926 – 29 January 2012), yali yinginiya eyakuguka mu by'okuzimba.Ono era yaliko Minisita wa ow'emirimu n'entambula okuva mu 1971 okutuuka mu 1972.
Ensibuko n’obuyigirize
[kyusa | edit source]Zikusoka yazaalibwa nga 11 Ogwekkuminogumu 1926, mu Disitulikiti y’e Iganga , e Busoga, mu Buvanjuba bwa Uganda. Zikusooka emisomo gya siniya yajisomera ku Busoga College Mwiri, era nga yaliyo okutuusa mu 1947. Zikusooka ku ssomero yali omu ku bakulembeze b'abayizi mu lungereza abayiyitibwa prefect .Oluvannyuma yatendekebwa nga yinginiya w’okuzimba.
Emirimu gye nga yinginiya
[kyusa | edit source]Oluvannyuma lw’okutendekebwa nga yinginiya, Zikusoka yaweebwa omulimu gwobwa yinginiya w’ekibuga Jinja era wano yakola ekyafaayo kuba ye muddugavu eyasooka okuweereza mu kifo ekyo. Zikusooka era yali omu ku bantu abakola dizayini n'entekateeka y’enguudo mu kibuga Jinja. Mu kusiima obuweereza bwe eri ekibuga, Zikusooka olukiiko oluddukanya emirimu mu kibuga Jinja olwa Jinja Municipal Council lwayisa ekiteeso okumubbulamu oluguudo era nelutuumibwa Engineer Zikusoka Road. [1] Omwaka 1969 wegwatuukira, Zikusooka yeyali omuteesiteesi omukulu mu lungereza ayitibwa Permanent Secretary minisitule y’emirimu mu gavumenti ya Uganda .
Obuweereza bwe mu byobufuzi
[kyusa | edit source]Zikusooka atandika okumanyibwa ennyo mu byobufuzi mu mwaka 1971. Kino kiri bwekiti kubanga Idi Amin bwamaliriza okuwamba gavumenti ya Uganda eyali ekulemberwa Milton Obote, yalonda ba minisita abenjawulo okumuyamba okuddukanya gavumenti ye era nga James Zikusoka yamuwa ekifo kya Minisita w’emirimu, ebyempuliziganya n’amayumba. Yadde nga Zikusooka yali alondeddwa nga minisita, obukulu buno teyabuwangaalirako era nga kino kyava ku bamu ku bannamaje abaali bakkiririza mu Milton Obote okugezaako okuwamba gavumenti ya Idi Amin mu mwaka 1972. Ekikolwa kino kyawaliriza Idi Amin mu ngeri ey'okwenywereza mu buyinza okugoba baminisita ba kabineti bonna be yali teyesiga, nga ne Zikusoka mw’ali. [2] Zikusoka yasaba obubudamu mu ggwanga lya Kenya, era eno gyeva okutandika okukolera ekibiina kya mawanga amagatte mu nteekateeka y’okukulakulanya abantu gyeyakolanga nga omuwi w’amagezi era eyebuuzibwako ensonga mu kibuga New York mu America wamu ne mu ggwanga lya Saudi Arabia, Bweyava mu kibiina kyamawanga amagatte Zikusooka yakolera ekitebe kyamawanga agali mu luse olumu ne Bungereza ekya Commonwealth Secretariat mu ggwanga lya Barbados okutuusa gavumenti ya Idi Amin lwe yagwa mu mwaka 1979. Godfrey Binaisa nga Pulezidenti wa Uganda yalonda Zikusooka okubeera Omubaka wa Uganda atuula e Bungereza. [3] Oluvannyuma wakati w'omwaka 1993 ne 1997, Zikusoka yakomawo e Uganda era nalondebwa okuba ssentebe w’akakiiko akavunaanyizibwa ku bakozi ba gavumenti.
Obuweereza bwe mu Kanisa
[kyusa | edit source]Mu 1988, Zikisoka yatuuzibwa ku budyankoni mu Kanisa Lutikko eyabbulwa mu Kristo Kabaka eya Christ the King Cathedral e Bugembe . Omwaka ogwaddako, yakuzibwa okufuuka nga Levulandi, n'oluvannyuma nafuuka kanoni era diini wa lutikko. Zikusooka yakozesa obukugu bwe mu by'okuzimba nayamba mu kuddaabiriza ekizimbe kya lutikko kwossa n’okugulira lutikko ebyuma byamaloboozi ebyeyambisibwa mu kusinza n'okutendereza. [3]
Enfa ye
[kyusa | edit source]Zikusoka yafa nga 29 Ogwolubereberye 2012, mu ddwaliro e Nakasero, mu kibuga ekikulu Kampala . Oluvannyuma ono yaziikibwa ku bijja bya ba bajjajjaabwe e Namungalwe, mu Disitulikiti y’e Iganga . Era nga yaleka nnamwandu n’abaana mukaaga. [4]
Laba ne
[kyusa | edit source]Ebiwandiiko ebijuliziddwa
[kyusa | edit source]- ↑ https://www.google.com/maps/place/0%C2%B026'07.4%22N+33%C2%B012'48.1%22E/@0.4353889,33.2111778,17z/data=!3m1!4b1!4m14!1m7!3m6!1s0x177e7b82a76f34ad:0x6d4934b71130168f!2sEng.+Zikusoka+Rd,+Jinja,+Uganda!3b1!8m2!3d0.4329081!4d33.2148397!3m5!1s0x0:0x0!7e2!8m2!3d0.4353877!4d33.2133602
- ↑ https://www.monitor.co.ug/uganda/magazines/people-power/ex-minister-ojera-taken-prisoner-after-obote-forces-are-ambushed-1630694
- ↑ 3.0 3.1
{{cite web}}
: Empty citation (help)Nabwiso, Frank (1 February 2017). "The Sad Demise of Reverend Canon Engineer Zikusoka". Google Groups: Mwiri Alumni. Retrieved 18 December 2017. - ↑
{{cite web}}
: Empty citation (help)Joomlasupport (27 February 2012). "Obituary: Zikusoka – A life well lived". The Observer (Uganda). Kampala. Retrieved 18 December 2017.