Jump to content

John Wilson Nattubu Tsekooko

Bisangiddwa ku Wikipedia

John Wilson Nattubu Tsekooko (30 omwezi ogusooka 1943 – 14 mu mwezi ogwekkumi 2019), yali munnamateeka era omulamuzi munnayuganda, era nga yaliko omulamuzi wa kkooti enkulu mu Uganda, okuva mu 1994 okutuuka mu 2015.

Ensibuko n’obuyigirize

[kyusa | edit source]

Yazaalibwa mu Bugisu sub-region mu Eastern Region, Uganda, mu 1943. Yatikkirwa mu yunivasite y’e Makerere, yunivasite ya gavumenti esinga obukadde mu Uganda era esinga obunene, n’afuna diguli mu mateeka . Yafuna ne Dipuloma mu by’amateeka okuva mu kifo ekikulaakulanya amateeka , mu Kampala. [1]

Omulimu

[kyusa | edit source]

Tsekooko yaweereza nga munnamateeka w’eggwanga mu kitongole ekivunaanyizibwa ku kuwaaba gavumenti okuva mu 1968 okutuuka mu 1974. Oluvannyuma yalekulira n’agenda mu mulimu gw’amateeka ag’obwannannyini okutuusa mu 1977. Yagenda mu buwanganguse wakati wa 1977 ne 1979. [2] [3] .

Mu 1990, yalondebwa okuweereza ng’Omulamuzi ku kkooti enkulu mu Uganda . Mu 1994, ekifo kyaggulwawo ku kkooti ensukkulumu ya Uganda. Erinnya lye lyalondeddwa ekitongole ekilonda akakiiko akavunaanyizibwa ku mirimu gy’ekitongole ekiramuzi. Pulezidenti Yoweri Museveni yamulonze mu kkooti enkulu Uganda. [2] Yaweereza mu kifo ekyo okutuusa mu 2013 lwe yaweza emyaka 70 egy’obukulu. Yapangisibwa ku ndagaano okumala emyaka emirala ena, okutuusa lwe yawummula mu 2017. [3]

Nga munnamateeka ow’obwannannyini

[kyusa | edit source]

Mu 1980, Tsekooko yaweereza nga munnamateeka wa Milton Obote, mu musango gw’okutyoboola erinnya lye ogwamuggulwako Yoweri Museveni eyali yeesimbyewo ku bwapulezidenti mu kiseera ekyo. [2]

Ng’Omulamuzi wa Kkooti Enkulu

[kyusa | edit source]

Emirundi ebiri, mu 2001 ne 2006, omulamuzi wa kkooti ey’oku ntikko, John Wilson Tsekooko yasalawo ng’awagira Kiiza Besigye eyeesimbyewo ku bwapulezidenti mu kuvuganya ku bwapulezidenti bw’eggwanga mu buli emu ku myaka egyo. Mu mitendera gyombi, omulamuzi Tsekooko yali mu kibiina ekitono abaali bawakanya ensonga eno [2]

Ng’ebula wiiki bbiri afe, yaweebwa ekitanda mu ddwaaliro lya Norvik, eddwaaliro ly’obwannannyini erisangibwa mu Kampala, ekibuga ekikulu ekya Uganda. Yafiirayo akawungeezi ka 14 ogwe kkumi 2019. Yaziikiddwa mu maka ga bajjajjaabe ku kyalo Bunakhaima, mu ggombolola lye Butiru , mu Disitulikiti y’e Manafwa, ku Lwomukaaga nga 19 ogwe kkumi 2019, ku ssaawa nnya . [4]

Ebiwandiiko ebikozesebwa

[kyusa | edit source]
  1. https://www.monitor.co.ug/News/National/Retired-Supreme-Court-Justice-George-Wilson-Tsekoko-dead/688334-5310902-nisyaiz/index.html
  2. 2.0 2.1 2.2 2.3 https://lg.wikipedia.org/wiki/Special:ContentTranslation?title=Special:ContentTranslation&campaign=contributionsmenu&to=lg&from=en&page=John+Wilson+Nattubu+Tsekooko#:~:text=View-,Paul%20Ampurire%20(14%20October%202019).%20%22Retired%20Supreme%20Court%20Justice%2C%20John%20Wilson%20Tsekooko%20Dies%22.%20Kampala%3A%20SoftPower%20Uganda.%20Retrieved%2017%20October%202019.,-This%20reference%20is Cite error: Invalid <ref> tag; name "1R" defined multiple times with different content
  3. 3.0 3.1 https://lg.wikipedia.org/wiki/Special:ContentTranslation?title=Special:ContentTranslation&campaign=contributionsmenu&to=lg&from=en&page=John+Wilson+Nattubu+Tsekooko#:~:text=Reference,17%20October%202019
  4. https://lg.wikipedia.org/wiki/Special:ContentTranslation?title=Special:ContentTranslation&campaign=contributionsmenu&to=lg&from=en&page=John+Wilson+Nattubu+Tsekooko#:~:text=Reference,Kampala.%20Retrieved