Jump to content

Jolly Kaguhangire

Bisangiddwa ku Wikipedia

Jolly Kamugira Kaguhangire munayuganda omukyala omusuubuzi era avunaanyizibwa ku nsonga z'ekikungu. Okuva mu Ogw'okuna 2017 okutuuka mu Ogwekkumi 2018, yeyali Senkulu era avunaanyizibwa akukuuma erinnya lya kampuni mu kitongole ekya Uganda Investment Authority (UIA), ekitongole kya gavumenti ekivunaanyizibwa ku kutumbula, okusikiriza n'okusiga ensimbi mu byenfuna by'eggwanga lya Uganda.

Ebyafaayo n'okusoma

[kyusa | edit source]

Yazaalibwa mu kitundu ky'obugwanjuba bwa Uganda, awo nga mu 1966. Yasomera mu masomero ga Uganda ag'omu kitundu ekyo ku mitendera gyona egya pulayimale ne Sekendule. Mu mwaka gwa 2000, yafuna diguli esooka mu Business Administration (BBA) okuva mu Makerere University, yunivasite y'eggwanga esinga obunene mu Uganda. Oluvannyuma, yafuna postgraduate mu Public Administration and Management, okuva mu Uganda Management Institute (UMI) mu Kampala, ekibuga ekisinga obunene mu ggwanga. Alina ne diguli ya Master of Arts mu Organizational Leadership and Management, eyamuweebwa Uganda Christian University (UCU), e Mukono. Okwongereza kw'ekyo, mu myaka 15 egyasooka mu kyaasa ekya 21, afunye satifikeeti nyingi okuva mu masomo agenjawulo ge yatendekebwa mu kitundu n'ebitundu eby'ensi yonna omuli ensasula y'emisolo gy'amafuta, obukulembeze obw'ekikungu, obukulembeze obukulu, okugaba obuweereza bw'abantu n'obukulembeze bw'emisolo.[1]

Okumala emyaka mwenda, okuva mu Ogwokusatu 2008 okutuuka mu Ogwokuna 2017 Jolly Kaguhangire yakola ng'omuyambi wa kaminsona avunaanyizibwa ku kuteekerateekera obuweereza bw'emirimu mu Uganda Revenue Authority (URA), ekitongole ky'emisolo ekikulu mu ggwanga. Ng'ali eyo, ye n'ekibinja kyeyakulemberamu, baakola enkyukakyuka m'obukodyo munkola,ekyaviirako okwongera ku kusolooza emisolo, okuva ku bukadde bwa doola US$41 mu 2008 okutuuka ku bukadde bwa US$1,683 mu 2015, ng'ab'asasula emisolo beeyongera okuva ku 17,479 okutuuka ku 836,830 mu kiseera kye kimu. Mu kiseera we yaviira mu URA, yali avunaanyizibwa ku bantu abasoba mu 700 mu muwendo.

Mu Ogwokuna 2017, oluvannyuma lw'okunoonya okumala emyezi ebiri, Kaguhangire yakwasibwa akakiiko, ng'omukulembeze asinga obulungi, nga basinziirira ku bumanyirivu bwe yalina ng'omukulu w'ekitongole. Ekimu ku bigendererwa by'asoosowaza ku UIA, kwe kukulaakulanya ebifo by'amakolero n'eby'obusuubuzi mu bibuga ebikulu okwetooloola ekitundu, omuli Arua, Luzira, Masaka, Mbale, Mbarara, Namanve ne Soroti. Ekintu ekirala ky'asoosowaza kwe kukwanaganya ne Uganda Export Promotion Board ne Uganda Tourism Board, mu kukola ebintu ebikubiriza n'okutunda n'okukola ebivvulu n'okutambula, mu ngeri eyo okukendeeza ku bbeeyi n'okusindika obubaka obw'enkalakkalira eri abayinza okuteeka ssente. Ekintu ekyokusatu ekikulu kwe kutondawo ekifo ekimu (One-stop-center, OSC), ng'omusiga nsimbi asobola okuwandiisa bizinensi era n'asobola okufuna olukusa n'emisoso gyonna egyetaagisa okutandika okukola mu kiseera ekitono ddala.

Laba era

[kyusa | edit source]

Ebyawandiikibwa

[kyusa | edit source]
  1. Cite error: Invalid <ref> tag; no text was provided for refs named Bio

Enkolagana ez'ebweru

[kyusa | edit source]